Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 2

2
Okuzaalibwa kwa Musa
1Awo omusajja ow'omu Kika kya Leevi, n'agenda n'awasa omukazi ow'omu lulyo lwa Leevi. 2Omukazi n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Bwe yalaba ng'omwana mulungi, n'amukwekera emyezi esatu.#Laba ne Bik 7:20; Beb 11:23 3Yalaba takyayinza kwongera kumukweka, n'aleeta ekibaya eky'ebitoogo, n'akisiiga ettosi n'envumbo, n'ateekamu omwana, n'akiteeka mu kitoogo, ku lubalama lw'omugga. 4Mwannyina w'omwana n'ayimirira walako, alabe ekinaamutuukako.
5Awo muwala wa kabaka n'aserengeta ku mugga okunaaba. Abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga. N'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta. 6Muwala wa kabaka n'akisaanukula, n'alaba omwana. Omwana n'akaaba. N'amusaasira, n'agamba nti: “Ono y'omu ku baana Abeebureeyi!”
7Mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa kabaka nti: “Ŋŋende nkuyitire omukazi Omwebureeyi akuyonseze omwana oyo?” 8Muwala wa kabaka n'amugamba nti: “Kale genda.” Omuwala n'agenda n'ayita nnyina w'omwana. 9Muwala wa kabaka n'agamba omukazi nti: “Twala omwana ono omunnyonseze, ndikuwa empeera.” Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa. 10Omwana bwe yakula, n'amuleetera muwala wa kabaka. Muwala wa kabaka n'amufuula mutabani we, n'amutuuma erinnya Musa#2:10 Musa: Mu Lwebureeyi “Mossheh,” livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Okuggya mu mazzi.”, ng'agamba nti: “Kubanga namuggya mu mazzi.”#Laba ne Bik 7:21
Musa addukira e Midiyaani
11Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda okukyalira baganda be Abeebureeyi, n'alaba nga bwe batuntuzibwa. N'alaba n'Omumisiri ng'akuba Omwebureeyi, omu ku b'eggwanga lya Musa.#Laba ne Beb 11:24#Laba ne Bik 7:23-28 12Musa n'amagamaga eruuyi n'eruuyi, n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka atta Omumisiri, n'amukweka mu musenyu. 13Ku lunaku olwaddirira, n'addayo n'alaba abasajja Abeebureeyi babiri nga balwanagana, n'agamba oyo omusobya nti: “Kiki ekikukubizza munno?” 14Omusajja n'addamu nti: “Ani yakufuula omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?” Musa n'atya, n'agamba mu mutima gwe nti: “Abantu baategedde kye nakoze!” 15Kabaka bwe yawulira ebibaddewo, n'ayagala okutta Musa. Naye Musa n'adduka kabaka, n'agenda n'abeera mu nsi ya Midiyaani.
Lwali lumu, Musa bwe yali ng'atudde okumpi n'oluzzi,#Laba ne Bik 7:29; Beb 11:27 16abawala musanvu aba kabona w'e Midiyaani, ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero okunywesa endiga n'embuzi za kitaabwe. 17Abasumba ne bajja ne babagoba. Naye Musa n'asituka n'abayamba, n'anywesa eggana lyabwe. 18Bwe baddayo eri Reweli kitaabwe, n'agamba nti: “Nga mukomyewo mangu olwa leero!”
19Ne baddamu nti: “Omumisiri ye atudduukiridde n'atuwonya abasumba, era n'atusenera amazzi, n'anywesa eggana.”
20N'agamba bawala be nti: “Ali ludda wa? Lwaki mumuleseeyo? Mugende mumuyite, alye emmere.”
21Musa n'akkiriza okubeera n'omuntu oyo, Reweli n'awa Musa muwala we Zippora. 22Zippora n'azaala omwana ow'obulenzi, Musa n'amutuuma erinnya Gerusoomu#2:22 Gerusoomu: Mu Lwebureeyi “Gershom,” liva mu kigambo “Ger” ekitegeeza “Omugenyi, omugwira.”, kubanga yagamba nti: “Mbadde mugwira mu nsi eteri yange.”
23Nga wayiseewo emyaka, kabaka w'e Misiri n'afa. Naye Abayisirayeli ne basigala nga bakyasinda olw'obuddu bwabwe. Ne bakaaba, era okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. 24Katonda n'awulira okusinda kwabwe, n'ajjukira endagaano ye gye yakola ne Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo.#Laba ne Nta 15:13-14 25Katonda n'alaba okubonaabona kw'Abayisirayeli, n'abalumirwa#2:25 N'abalumirwa: Oba “N'amanya” oba “N'abalabikira.”.

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 2: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión