Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 1

1
Abayisirayeli babonyaabonyezebwa mu Misiri
1Gano ge mannya g'abaana ba Yisirayeli, abaayingira mu Misiri awamu naye, n'ab'omu maka gaabwe:#Laba ne Nta 46:8-27 2Rewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda; 3Yissakaari, Zebbulooni, ne Benyamiini; 4Daani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri. 5Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu. Yosefu yali yabeera dda mu Misiri. 6Ekiseera nga kiyiseewo, Yosefu ne baganda be, n'abalala bonna ab'omu mulembe ogwo, ne bafa. 7Naye abazzukulu ba Yisirayeli ne bazaala, ne beeyongera nnyo obungi, ne baba ba maanyi, ne bajjula mu nsi ey'e Misiri.#Laba ne Bik 7:17
8Awo kabaka omuggya ataamanya Yosefu, n'alya obwakabaka mu Misiri.#Laba ne Bik 7:18 9N'agamba abantu be nti: “Mulabe, Abayisirayeli bangi nnyo, era ba maanyi okutusinga. 10Kale tubasalire amagezi, baleme kweyongera bungi, era singa wabaawo olutalo, baleme kwegatta na balabe baffe okutulwanyisa n'okutoloka mu nsi.”#1:10 okutoloka mu nsi: Oba “Okwefuga ensi.”#Laba ne Bik 7:19 11Kyebaava babateekako abakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emikakali, ne bazimbira kabaka ebibuga Pitomu ne Rameseesi, eby'okuterekangamu ebintu. 12Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya Abayisirayeli, n'Abayisirayeli gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne bakyawa Abayisirayeli, 13ne babatuntuza nnyo, 14ne bakalubya obulamu bwabwe nga babakozesa emirimu emikakali egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga mu nnimiro. Ne babakozesa byonna nga tebabasaasira.
15Kabaka w'e Misiri n'agamba abazaalisa Abeebureeyi, omu erinnya lye Sifura n'omulala Puwa nti: 16“Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abeebureeyi, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga. Naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.” 17Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga kabaka w'e Misiri bwe yabalagira, naye ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu. 18Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti: “Lwaki mukola ekyo, ne muleka abaana ab'obulenzi nga balamu?”
19Abazaalisa ne bagamba kabaka nti: “Abakazi Abeebureeyi tebali nga bakazi Abamisiri, kubanga bo tebakaluubirirwa mu kuzaala: abazaalisa we babatuukirako, nga baamaze dda okuzaala.” 20Katonda n'awa abazaalisa abo omukisa. Abayisirayeli ne beeyongera obungi, ne baba ba maanyi nnyo. 21Era kubanga abazaalisa baatya Katonda, Katonda n'abawa amaka.
22Awo kabaka n'alagira abantu be bonna nti: “Buli mwana Omwebureeyi ow'obulenzi alizaalibwa, mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.”#Laba ne Bik 7:19

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 1: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión