Mar 8
8
1 #
Mat 15,32-39. Mu nnaku ezo, era ekibiina ekinene kyali kikuŋŋaanye ng'abantu tebalina kye balya; n'ayita abayigirizwa be w'ali n'abagamba nti: 2“Ekibiina kino kinkwasa ekisa, kubanga babadde nange kati ennaku ssatu, ate nga tebalina kye balya. 3Bwe mbasiibula bamala badda eka nga bayala, bajja kugwa ku kkubo; kubanga abamu mu bo bavudde wala.” 4Abayigirizwa be ne bamuddamu nti: “Ani anaasobola okubaliisa n'emigaati mu ddungu muno?” 5N'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti: “Musanvu.” 6N'alagira abantu okukkalira wansi; n'akwata emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'agimenyamu, n'akwasa abayigirizwa be; ne bagabira ekibiina. 7Baali balina n'obwennyanja butono, n'abuwa omukisa, nabwo n'alagira okubugaba. 8Ne balya, ne bakkuta; ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalema, ne buwera ebisero musanvu ebijjuvu. 9Abaali balidde baali bawera abasajja enkumi nnya. 10N'abasiibula; amangu ago n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'agenda mu kitundu ky'e Dalumanuta.
Abafarisaayo basaba akabonero okuva mu ggulu
11 #
Mat 12,38; Luk 9,23-27. Abafarisaayo #Mat 16,1-4.ne bajja, ne basooka okumuwakanya; ne bamwagaza akabonero okuva mu ggulu nga bamukema. 12#Mat 12,39; Luk 11,29.N'assa ekikkowe ekiva ddala ku mutima, n'abagamba nti: “Ezzadde lino ekiryagaza akabonero kiki? Mazima mbagamba nti tewali kabonero kajja kuweebwa zzadde lino.” 13N'abavaako, n'asaabala ate mu lyato, n'alaga emitala.
Ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo
14 #
Mat 16,5-12. Kati nno baali beerabidde okuleeta emigaati; mu lyato baalinamu omugaati gumu gwokka. 15#Luk 12,1.N'abakuutira nti: “Mwegendereze, mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'ekizimbulukusa kya Erode.” 16Ne beebuuzaganya kubanga tebaalina migaati. 17Yezu n'ategeera, n'abagamba nti: “Lwaki mwebuuzaganya nti temulina migaati? Temunnaba kumanya na kutegeera? Omutima gwammwe gukyagugubye? 18#Yer 5,21; Ez 12,2; Mat 4,12.Mulina amaaso ne mutalaba? Mulina amatu ne mutawulira? Temujjukira? 19Kale emigaati etaano bwe nagimenyera abantu enkumi ettaano mwaggyawo ebisero bimeka ebijjudde obutundutundu?” Ne bamugamba nti: “Kkumi na bibiri” 20Era n'abagamba nti: “Ate emigaati omusanvu, bwe nagimenyera abantu enkumi ennya, mwaggyawo ebibbo bimeka eby'obutundutundu?” Ne bamugamba nti: “Musanvu.” 21Kwe kubagamba nti: “Era temunnaba kutegeera?”
Muzibe w'e Betisayida awonyezebwa
22Awo ne bajja e Betisayida; ne bamuleetera muzibe, ne bamwegayirira amukwateko. 23N'akwata muzibe ku mukono, n'amuggya mu kyalo, n'amufujjira amalusu ku maaso, n'amussaako emikono, n'amubuuza nti: “Oliko ky'osobola okulaba?” 24Ye n'atunula waggulu n'agamba nti: “Ndaba abantu batambulatambula, naye bali ng'emiti.” 25Ate n'ayongera okumussaako emikono ku maaso, n'atunuulira ddala, n'addawo ng'edda, n'alabira ddala bulungi byonna. 26N'amusindika ewaabwe n'amugamba nti: “Ne mu kyalo toyingiramu.”
B. OKUGENDA E YERUZAALEMU
Okwatula kwa Petero
27 #
Mat 16,13-20; Luk 9,18-22. Yezu n'avaayo n'abayigirizwa be, n'alaga mu byalo eby'e Kayisariya-Filippo; mu kkubo n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bagamba nze ani?” 28#6,14-15; Luk 9,7-8.Ne bamuddamu nti: “Bagamba nti Yowanna Batista, abalala nti Eliya, ate abandi nti omu ku balanzi.” 29#Yow 6,68-69.Awo n'ababuuza nti: “Naye nga mmwe mugamba nze ani?” 30Petero n'ayanukula nti: “Ggwe Kristu.” N'abakuutira obutabuulirako muntu ku ye.
Yezu asooka okulanga okubonaabona kwe
31 #
Mat 16,21-23; Luk 9,22. N'asooka okubayigiriza ng'Omwana w'Omuntu bw'alina okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuzuukira nga wayiseewo ennaku ssatu. 32Ekigambo ekyo n'akyogerera ddala kyere. Petero n'amuddira, n'atandika okumukomako. 33Naye ye n'akyuka, bwe yalaba abayigirizwa be, n'akabukira Petero, n'agamba nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Kubanga by'olowooza si bya Katonda, wabula bya bantu.”
Okugoberera Yezu
34 #
Mat 10,38; Luk 14,27. Awo n'ayita gy'ali ekibiina #Mat 16,24-28; Luk 9,23-27.wamu n'abayigirizwa be n'abagamba nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe, angoberere. 35#Mat 10,39; Luk 17,33; Yow 12,25.Kubanga buli alyagala okuwonya obulamu bwe, alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe okubeera nze n'okubeera Evangili, alibuwonya. 36Kale omuntu kimugasa ki okulya ensi yonna, sso n'afiirwa obulamu bwe? 37#Zab 48,7-8.Ye omuntu ayinza kuwa ki okununula obulamu bwe? 38Kubanga buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi mu zzadde lino esseegu era eryonoonyi, oyo Omwana w'Omuntu naye alimukwatirwa ensonyi lw'alijja mu kitiibwa kya Kitaawe wamu ne bamalayika abatuukirivu.”
Currently Selected:
Mar 8: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.