Mar 7
7
1 #
Mat 15,1-20. Awo Abafarisaayo wamu n'abawandiisi abamu abaava e Yeruzaalemu ne bajja w'ali; 2bwe baalaba abamu ku bayigirizwa be nga balya emmere n'engalo ezitali nnongoofu, kwe kugamba, ezitali nnaabe, ne bamunenya. 3Kubanga Abafarisaayo n'Abayudaaya bonna tebalya wabula nga bamaze kunaaba ngalo okutuukiriza empisa z'abakadde. 4Era bwe bava mu katale, tebalya wabula nga bamaze kunaaba. Waaliwo n'ebirala bingi bye balagirwa okukwata: ng'okunaaza ebikopo n'ensumbi n'ebibya eby'ekikomo. 5Awo Abafarisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti: “Abayigirizwa bo lwaki tebayisa mpisa z'abakadde, ne balya emmere n'engalo ezitali nnongoofu?” 6#Yis 29,13.N'abagamba nti: “Yisaaya yalanga bulungi ku mmwe abakuusa, nga bwe kyawandiikibwa nti:
“ ‘Abantu bano bampa ekitiibwa kya ku mumwa bumwa;
emitima gyabwe gindi wala.
7Okusinza kwe bansinzaamu temuli kantu;
enjigiriza gye bayigiriza mateeka g'abantu.’
8Kale muleka ekiragiro kya Katonda, ne mukwata empisa z'abantu.” 9Era n'abagamba nti: “Nga mugaana bulungi ekiragiro kya Katonda mukwate empisa yammwe! 10#Okuv 20,12; 21,17; Abal 20,9; Et 5,16.Kale Musa yabagamba nti: ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ Ate nti: ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, wa kuttibwanga.’ 11Sso mmwe mugamba nti: ‘Oli bw'agambanga kitaawe oba nnyina nti: Kye wandifunyeeko kati korubani’ - kwe kugamba nti ‘kitone’, 12olwo nga temukyamuganya kukolera kantu kitaawe oba nnyina. 13Ne mudibya mutyo ekigambo kya Katonda olw'empisa yammwe gye mugenda muyigiriza; n'ebirala bingi eby'engeri eyo bye mukola.”
14Awo n'ayita nate ekibiina w'ali n'agamba abantu nti: “Mumpulire mwenna, era mutegeere. 15Teri kiva bweru ne kiyingira mu muntu kiyinza kumwonoona; wabula ebifuluma mu muntu bye byonoona omuntu.”#7,15 Ez'edda zongerako: 16 Alina amatu agawulira awulire. 17Bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu kibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza ku lugero olwo. 18N'abagamba nti: “Nammwe, bwe mutyo, temunnategeera? Temumanyi nga buli kintu ekiyingira munda nga kiva ebweru tekiyinza kumwonoona, 19kubanga tekiyingira mu mutima gwe, wabula kigenda mu lubuto, ate ne kifulumira mu kiyigo?” Awo n'akakasa nti emmere yonna nnungi. 20N'agamba nti: “Ebifuluma mu muntu bye byonoona omuntu. 21Kubanga mu mitima gy'abantu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu, 22obwenzi, omululu gw'ebintu, omutima omubi, obulimba, obugwenyufu, eriiso ebbi, okukonjera, olunkulu n'obusirusiru. 23Ebibi ebyo byonna bifuluma munda ne byonoona omuntu.”
III. EŊŊENDO EBWERU WA GALILAAYA
A. MU TIIRO
Awonya muwala w'omukazi Omusirofenisiya
24 #
Mat 15,21-28. Bwe yava awo, n'alaga mu bitundu by'e Tiiro,#7,24 Ezimu zongerako: ne Sidoni. n'ayingira mu nnyumba nga tayagala wabeerewo amumanya; naye n'atasobola kwekisa. 25Amangu ago omukazi ayalina omwana eyaliko omwoyo omugwagwa n'amuwulirako, n'ayingira, n'avunnama ku bigere bye. 26Yali mukazi Mugereeki, nga muzaaliranwa wa mu Sirofenisiya; n'amusaba agobe mu kawala ke omwoyo omubi. 27N'amugamba nti: “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi kuddira mmere y'abaana n'ogikasukira embwa.” 28Omukazi n'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama, naye era n'embwa eziri wansi w'emmeeza zirya obukunkumuka bw'abaana.” 29Yezu n'amugamba nti: “Olw'ekigambo ekyo, genda; omwana wo omwoyo omubi gumuvuddemu.” 30Bwe yaddayo eka, yasanga muwala we agalamidde ku kitanda, n'omwoyo omubi nga gumuvuddemu.
Kasiru awonyezebwa
31 #
Mat 15,29-31. Ate n'ava mu bitundu by'e Tiiro n'akutulira mu Sidoni okujja ku nnyanja y'e Galilaaya ng'ayitira mu Dekapoli wakati. 32Ne bamuleetera omuggavu w'amatu ng'alina n'obuzibu mu kwogera. Ne bamwegayirira amusseeko omukono. 33Ye n'amuggya mu kibiina, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awandula eddusu, n'amukwata ku lulimi, 34n'atunula ku ggulu, n'assa ekikkowe, n'agamba nti: “Effatta,” kwe kugamba nti: “Zibuka” 35Amangu ago amatu ne gagguka, enkolo y'olulimi n'esumulukuka, n'ayogera bulungi. 36N'abakuutira obutabuulirako muntu; naye gye yakomya okubakuutira, bo gye baakomya okukiralaasa. 37Ne bawuniikirira ebitayogerekeka, ne bagamba nti: “Byonna abikoze bulungi; abaggavu b'amatu abawuliza, ne bakasiru aboogeza.”
Yezu aliisa abantu enkumi ennya
Currently Selected:
Mar 7: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.