Mar 6
6
1 #
Mat 13,54-58. Ate n'ava awo n'agenda mu nsi yaboobwe; abayigiriza be ne bamugoberera. 2Ku lunaku lwa Sabbaato n'atandika okuyigiriza mu sinaagooga; bangi bwe baawulira, ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye, ne bagamba nti: “Omuntu ono yaggya wa ebintu bino? Magezi ki agaamuweebwa? Bikolwa bya maanyi ki bino ebikolebwa n'emikono gye? 3Ono si ye mubazzi, mutabani wa Mariya, era muganda wa Yakobo ne Yoze ne Yuda ne Simoni? Bannyina bonna tebali kwaffe?” Ne bamwesittalako. 4#Yow 4,44.Yezu n'abagamba nti: “Omulanzi tabulwa kitiibwa wabula mu kyalo kyaboobwe, mu b'oluganda lwe ne mu nnyumba y'ewaabwe.” 5Teyasobola kukolerayo bikolwa bya maanyi; wabula yassa emikono ku balwadde abatonotono n'abawonya. 6#Mat 9,35; 10,1.5-14; Luk 9,1-6.Ne yeewuunya obutakkiriza bwabwe. Ne yeetooloola mu byalo ng'ayigiriza.
Yezu atuma Ekkumi n'Ababiri
7Awo n'ayita Ekkumi n'Ababiri, n'atandika okubatuma kinnababirye, n'abawa obuyinza ku myoyo emigwagwa. 8#Luk 10,4-11.N'abalagira obutatwala kantu mu kkubo, wabula omuggo gwokka; si nsawo, newandibadde omugaati, newandibadde ffeeza mu misipi gyabwe; 9wabula bambale musaasaane, era baleme kwambala kkanzu bbiri. 10Ate n'abagamba nti: “We muyingiranga mu nnyumba, mubeeranga omwo okutuusa lwe muvaayo. 11#Ebik 13,51.Ekifo kyonna we banaagaananga okubaaniriza, ne bagaana okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo, mukunkumulanga enfuufu eri ku bigere byammwe ng'obujulizi obubalumiriza.” 12Ne bagenda ne balangirira abantu beenenye. 13#Yak 5,14.Ne bagoba emyoyo emibi, abalwadde bangi ne babasiiga omuzigo ne babawonya.
Okuttibwa kwa Yowanna Batista
14 #
Mat 14,1lud; 16,14; Mar 8,28; Luk 9,7-9.19. Awo Erode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lya Yezu lyali lyatiikiridde. Abamu baali bagamba nti “Yowanna eyabatizanga azuukiziddwa mu bafu; amaanyi g'okukola ebikolwa eby'amaanyi kyegava gakola mu ye.” 15Abalala ne bagamba nti: “Ye Eliya” Ko abalala nti: “Ye mulanzi, ng'omu ku balanzi.” 16Ye Erode bwe yawulira ebyo, n'agamba nti: “Yowanna gwe natemako omutwe azuukidde.” 17#Luk 3,19-20.Kubanga Erode #Mat 14,3-12; Luk 3,19lud.yali atumye bakwate Yowanna, n'amussa mu kkomera olw'okubeera Erodiya muka Filippo muganda we gwe yali awasizza. 18Kubanga Yowanna yagambanga Erode nti: “Tokkirizibwa kwezza muka muganda wo.” 19Erodiya yamulinako ekkonda ng'ayagala okumutta, naye n'atasobola, 20Kubanga Erode yali atya Yowanna, ng'amumanyi bw'ali omuntu omutuufu era omutuukirivu; n'amukuumanga. Bwe yamuwuliranga, ng'asoberwa nnyo, kyokka ng'asanyuka okumuwulira.
21Naye olunaku olw'akakisa ne lutuuka: Erode ku mazaalibwa ge n'afumbira abakungu be embaga, n'abakulu b'eggye lye n'abaami mu Galilaaya. 22Muwala wa Erodiya n'ayingira n'azina, n'asanyusa Erode n'abaali batudde naye. Kabaka n'agamba omuwala nti: “Nsaba kyonna ky'oyagala, nzija kukikuwa.” 23N'amulayirira n'okumulayirira nti: “Kyonna ky'onoosaba nnaakikuwa, yadde ekitundu ky'obwakabaka bwange.” 24Omuwala n'afuluma, n'agamba nnyina nti: “Nsabe ki?” Nnyina n'amugamba nti: “Omutwe gwa Yowanna eyabatizanga.” 25Amangu ago n'ayanguwako okudda eri kabaka, n'asaba ng'agamba nti: “Njagala ompe kati wano ku ssowaani omutwe gwa Yowanna Batista.” 26Kabaka n'anakuwala nnyo; naye okubeera ebirayiro bye, n'okubeera abagenyi be, n'atayagala kumenyawo kye yamusuubiza. 27Amangu ago n'atumya omumbowa, n'amulagira okuleeta omutwe gwa Yowanna. Omusajja n'agenda n'amutemako omutwe mu kkomera, 28n'aleeta omutwe gwe ku ssowaani, n'aguwa omuwala, omuwala ye n'aguwa nnyina. 29Abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne bagussa mu ntaana.
Yezu alaga mu kafo ak'ebbaliko
30 #
Luk 9,10; 10,17. Abatume ne badda awali Yezu, ne bamunyumiza byonna bye baakola ne bye baayigiriza. 31Ye n'abagamba nti: “Mujje ku mabbali, mu kifo ekyesudde, muwummuleko katono.” Kubanga bangi baali bajja nga bwe bagenda, nga tebalina na bbanga lya kulya. 32#Mat 14,13-21; Luk 9,10-17; Yow 6,1-13.Ne basaabala mu lyato, ne bagenda mu kifo ekyesuddeko ebbali bokka. 33Abantu ne babalaba nga bagenda, bangi ne bamanya; ne bava mu byalo byonna, be baddukira ku bigere, ne babeesookayo.
Akkusa abantu enkumi ettaano
34 #
Emiw 27,17; 1 Bak 22,17; 2 Ebyaf 18,16; Ez 34,5; Mat 9,36. Yezu bwe yagoba ku mwalo, n'alaba ekibiina kinene; ne bamukwasa ekisa, kubanga baali ng'endiga ezitaliiko musumba; n'atandika okubayigiriza ebintu bingi. 35Obudde bwe bwagenda bweyerawo, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bagamba nti: “Ekifo kino kyesudde, n'obudde buyise; 36basiibule bagende mu nnimiro ezitwetoolodde ne mu byalo beegulireyo kye banaalya.” 37Ye n'abaddamu nti: “Mmwe mubawe kye banaalya.” Ne bamugamba nti: “Tugende tugule emigaati egiweza dinaari ebibiri tugibawe balye?” 38Ye n'abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baazuula, ne bamugamba nti: “Etaano, ko n'ebyennyanja bibiri.” 39N'abalagira babatuuze bonna mu bibinja ku muddo. 40Ne batuula mu bibinja bya kikumi kikumi n'ataano ataano. 41Awo n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, emigaati n'agimenyamu, n'agikwasa abayigirizwa be bagigabire abantu; n'ebyennyanja n'abigabira bonna. 42Bonna ne balya ne bakkuta. 43Ne baggyawo ebisero kkumi na bibiri ebijjudde obutundutundu n'ebyennyanja. 44Abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano.
Yezu atambula ku mazzi
45 #
Mat 14,22-33; Yow 6,16-21. Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato, bakulemberemu, balage emitala w'eri e Betisayida, ye nga bw'asiibula ekibiina. 46Bwe yamala okubasiibula, n'ayambuka ku lusozi okwegayirira. 47Obudde bwe bwawungeera, eryato lyali likyali mu buziba, ye ng'ali yekka ku ttale. 48N'alaba nga bategana okuvuga, kubanga empewo yali ebafuluma mu maaso. Mu kisisimuka ekyokuna, n'ajja gye bali ng'atambula ku nnyanja; n'aba ng'ayagala okubayitako. 49Naye bo bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne balowooza nti muzimu, ne bawowoggana, 50Kubanga bonna baamulaba, ne batya. Amangu ago n'ayogera gye bali, n'abagamba nti: “Mugume; ye Nze. Temutya.” 51N'asaabala mu lyato mwe baali; empewo n'ekoma; ne bongera nnyo okuwuniikirira, 52Kubanga n'eky'emigaati baali tebakitegedde; emitima gyabwe gyali gigubye.
Awonya abantu e Gennesareti
53 #
Mat 14,34-36. Bwe baawunguka, ne batuuka mu nsi y'e Gennesareti, ne bagoba. 54Bwe baava mu lyato, abantu ne bamutegeera mangu. 55Ne bayitaayita mangu mu nsi eyo yonna, ne batandika okusombera abalwadde ku nnyinyo wonna we baamuwuliranga. 56Buli we yalaganga, mu mayumba oba mu byalo, oba mu bibuga, nga bateeka abalwadde mu mbuga ne bamwegayirira yadde bakome ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaalukomako ne bawona.
Yezu ayatuukiriza abafarisaayo
Currently Selected:
Mar 6: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.