YouVersion Logo
Search Icon

Mar 5

5
1 # Mat 8,28-34; Luk 8,26-39. Ne bagenda emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasa.#5,1 Oba Abagadara, oba: Abagerigesa. 2Bwe yava mu lyato, amangu ago omuntu aliko omwoyo omugwagwa, n'ajja okumusisinkana ng'ava mu biggya. 3Yali asula mu biggya, nga tewali akyayinza kumusiba, newandibadde n'enjegere; 4emirundi mingi yateekebwako mu masamba ne mu njegere, enjegere n'azikutulakutula, n'amasamba n'agamenyaamenya; tewaali ayinza kumusobola. 5Bulijjo emisana n'ekiro yabeeranga mu biggya ne mu nsozi ng'awowoggana, ne yeesalaasala n'amayinja. 6Olwalengera Yezu eri, n'addukanako n'amusinza, 7n'awowoggana n'eddoboozi ddene nti: “Onjagaza ki ggwe Yezu Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ddala? Nkulabidde Katonda, tombonyaabonya.” 8Kubanga yali amugamba nti: “Mwoyo ggwe omugwagwa, vva mu muntu ono.” 9N'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” N'amugamba nti: “Ggye, lye linnya lyange, kubanga tuli nkumu.” 10N'amwegayirira nnyo aleme kumugoba mu nsi eyo.
11Awo okumpi n'olusozi waaliwo eggana ly'embizzi nga lirya; 12emyoyo ne gimusaba nti: “Tusindike mu ggana ly'embizzi, tuleke tudde omwo.” 13N'agikkiriza. Awo emyoyo emigwagwa ne givaamu, ne giyingira mu mbizzi; eggana eriweza embizzi ng'enkumi bbiri ne lifubutuka okuva waggulu ku bbanga, ne lyesolessa mu nnyanja, ne lisaanawo mu mazzi. 14Abaali bazirunda ne badduka, ne bagenda babuulira ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Ne bavaayo ne bagenda okulaba kiki ekyali kiguddewo. 15Ne bajja awali Yezu, ne balaba omuntu oyo eyali akwatiddwa emyoyo emibi ng'atudde, ayambadde era ng'ategeera bulungi, oyo omusajja eyalimu eggye; ne batya. 16Abaali balabye ne babanyumiza ebyali bigudde ku yali akwatiddwa emyoyo emibi ne ku mbizzi. 17Ne batandika okumwegayirira ave mu kitundu kyabwe. 18Bwe yali asaabala mu lyato, eyali akwatiddwa emyoyo emibi n'amwegayirira abeerenga naye. 19Naye ye n'atamukkiriza, wabula n'amugamba nti: “Genda ewammwe eri ababo obanyumize Omukama by'akukoledde, nga bw'akusaasidde.” 20N'agenda, n'atandika okulangirira eri ab'e Dekapoli ebyo Yezu bye yali amukoledde. Bonna ne beewuunya.
Omukazi ow'eggerenge; muwala wa Yayiro
21 # Mat 9,18-26; Luk 8,40-56. Yezu bwe yawunguka nate mu lyato, n'ajja emitala, ekibiina ekinene ne kikuŋŋaanira w'ali era ng'ali ku lubalama lw'ennyanja. 22Awo ne wajjawo omu ku bakulu ba sinaagooga, erinnya lye Yayiro, bwe yamulaba, n'agwa ku bigere bye, 23n'amwegayirira ng'agamba nti: “Kawala kange kaliko kateetera; jjangu okasseeko emikono gyo kawone, kalamuke.” 24N'agenda naye. Ekibiina ekinene ne kimugoberera, nga bagenda bamunyigiriza. 25Waaliwo omukazi eyali alwadde endwadde eya ggerenge emyaka kkumi n'ebiri, 26ng'abonyaabonyezeddwa nnyo abasawo bangi; yali awaddeyo ebibye byonna, naye nga talungiwako, wabula nga yeeyongera kubeera bubi. 27Bwe yawulira ebyogerwa ku Yezu, n'ajjira mu kibiina emabega, n'akomako ku kyambalo kye. 28Kubanga yali agamba nti: “Ne bwe nnaakoma obukomi ku byambalo bye, nzija kuwona.” 29Amangu ago omusaayi ogwajjanga ne gukalira, n'awulira muli mu mubiri gwe ng'awonye endwadde. 30Ne Yezu n'awulira nga waliwo amaanyi agamuvuddemu, n'akyukira ekibiina, n'abagamba nti: “Ani akomye ku byambalo byange?” 31Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Naawe olaba ekibiina kikusindiikiriza, n'ogamba nti: ‘Ani ankomyeko?’ ” 32N'amagamaga alabe ani eyali akikoze. 33Omukazi bwe yategeera ekikoleddwa mu ye, n'ajja ng'atidde, ng'akankana, n'avunnama ku bigere bye n'amutegeeza amazima gonna. 34Awo Yezu n'amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe, owonere ddala endwadde yo.”
35Yali akyayogera, ne wabaawo abajja okuva ew'omukulu wa sinaagooga, ne bagamba nti: “Muwala wo afudde; omuyigiriza okyamuteganyiza ki ate?” 36Naye Yezu bwe yawulira ekigambo kye boogedde, n'agamba omukulu wa sinaagooga nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.” 37N'ataganya muntu mulala yenna kumugoberera, okuggyako Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda wa Yakobo. 38Bwe baatuuka ku nnyumba y'omukulu wa sinaagooga, n'alaba oluyoogaano n'abantu abakaaba n'abakuba ebiwoobe ebinene. 39N'ayingira, n'abagamba nti: “Muyoogaanira ki? Mukaabira ki? Omuwala tafudde, yeebase bwebasi.” Ne bamusekerera. 40N'abagobera bonna ebweru, awo n'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina na bali abaali naye, n'ayingira omuwala mwe yali. 41N'akwata omukono gw'omuwala n'amugamba nti: “Talita, kumi,” kwe kugamba nti: “Kawala, nkugamba golokoka.” 42Amangu ago omuwala n'asituka n'atambula, kubanga yali wa myaka nga kkumi n'ebiri. Amangu ago ne bawuniikirira nnyo. 43N'abakuutira nnyo wabulewo omuntu akimanyaako; n'abagamba okumuwa ekyokulya.
Yezu anyoomebwa ab'ewaabwe

Currently Selected:

Mar 5: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in