Mar 4
4
1 #
Luk 5,1-3. N'atandika ate #Mat 13,1-9; Luk 8,4-8.okuyigiriza ku mabbali g'ennyanja; ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako, ye kwe kusaabala mu lyato n'atuula omwo ku nnyanja, ekibiina kyonna ne kibeera emitala ku lubalama. 2N'abayigiriza bingi mu ngero; mu kubayigiriza n'abagamba nti: 3“Muwulirize; omusizi yafuluma okusiga ensigo. 4Yali asiga, ensigo emu n'egwa ku kkubo, ebinyonyi ne bijja ne bigirya. 5Endala n'egwa ku luyinjayinja w'etaalina ttaka lingi; amangu ago n'emeruka, olw'obutaba na ttaka ggwanvu; 6enjuba bwe yavaayo, n'ewotoka; olw'obutaba na mirandira, n'ekala. 7Endala n'egwa mu maggwa, amaggwa ne gaduuma, ne gagifuuwa, n'etabala. 8Endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zireeta ebibala; zaameruka, ne zikula, ne zibala, emu n'ebalamu asatu, endala nkaaga n'endala kikumi.” 9N'agamba nti: “Alina amatu okuwulira, awulire.”
10 #
Mat 13,10-17; Luk 8,9lud. Bwe yali asigadde yekka, ekkumi n'ababiri abaali naye ne bamubuuza ku ngero. 11Ye n'abagamba nti: “Mmwe mwaweebwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda; naye bali abali ebweru byonna bibabuulirwa mu ngero;
12 #
Yis 6,9-10. “okutunula batunule naye nga tebalaba,
okuwulira bawulire naye nga tebategeera;
baleme kudda nate basonyiyibwe.”
13 #
Mat 13,18-23; Luk 8,11-15. N'abagamba nti: “Olugero olwo temulutegedde? Kale engero endala zonna munaazitegeera mutya? 14Omusizi asiga ekigambo. 15Bano be bali ku kkubo, ekigambo kwe kisigibwa, beebo bwe bawulira, naye mangu ago Sitaani ajja n'akwakkula ekigambo ekibasigiddwamu. 16Mu ngeri ye emu abaasigibwa mu ttaka ery'oluyinjayinja beebo bwe bawulira ekigambo, bakikkiriza mangu n'essanyu, 17naye kubanga tebalina mirandira mu bo, bagumiikiriza akabanga, naye bwe wagwawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, beesittala mangu. 18Abalala beebo abasigibwa mu maggwa: beebo abawulira ekigambo, 19naye okweraliikirira okw'ensi n'okuguya okw'obugagga, n'okwegomba ebirala, bwe bibayingiramu, bituga ekigambo ne kitabala. 20Abaasigibwa mu ttaka eddungi beebo abawulira ekigambo ne bakikkiriza, ne baleeta ebibala: ekimu ne kibala asatu, ekirala nkaaga, n'ekirala kikumi.”
Olugero lw'ettawaaza
21 #
Mat 5,15; Luk 11,33. Era n'abagamba #Luk 8,16-18.nti: “Ettawaaza ereetebwa mu nnyumba kussibwa mu kibbo, yadde wansi mu kitanda, oba ku kikondo? 22#Mat 10,26; Luk 12,2.Kubanga mpaawo kyakisibwa, wabula nga lwa kwolesebwa; wadde kyakwekebwa, wabula nga lwa kujja mu kitangaala. 23Oba oli alina amatu okuwulira, awulire.”
24 #
Mat 7,2; Luk 6,38. Era n'abagamba nti: “Mwekkaanye bye muwulira. Ekipimo kye mugera nammwe kye kiribagererwa, n'okwongerwa ne mwongerwa. 25#Mat 13,12; 25,29; Luk 19,26.Kubanga alina alyongerwako; ate buli atalina, ne ky'alina kirimuggyibwako.”
Olugero lw'ensigo
26Era n'abagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda buli ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka, 27ne yeebaka, n'agolokoka ekiro n'emisana; yo ensigo n'emeruka, n'ekula, ye nga tamanyi bw'ekikola. 28Kubanga ettaka libaza ku bwalyo; okusooka lireeta olusubi, ne kuddako ekirimba, oluvannyuma empeke mu kirimba. 29#Yowel 4,13.Ate ekibala bwe kituuka, amangu ago n'assaako ekiwabyo, anti ng'okukungula kutuuse.”
Empeke ya kaladaali
30 #
Mat 13,31; Luk 13,18lud. Era n'abagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeranya ku ki? Lugero ki lwe tunaabuleetera? 31Tunaabugeza ku mpeke ya kaladaali; bw'esigibwa mu ttaka, y'eba esingayo obutono mu nsigo eziri ku nsi; 32naye bw'esigibwa, ekula n'egejja okusinga emiddo gyonna; esuula amatabi amanene, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bisobola okusula mu kisiikirize kyayo.”
Okufundikira engero
33 #
Mat 13,34. N'abayigiriza era ekigambo mu ngero nnyingi ezifaananako ng'ezo, nga bwe baayinzanga okukiwulira. 34Teyabagambanga kintu wabula mu ngero; kyokka bwe yabanga n'abayigirizwa be, ng'abannyonnyola byonna bokka.
Akkakkanya omuyaga
35 #
Mat 8,18.23-27; Luk 8,22-25. Ate ku lunaku olwo, obudde bwe bwawungeera, Yezu n'abagamba nti: “Tusomoke, tulage emitala.” 36Bwe baaleka ekibiina, ne bamutwala mu lyato nga bwe yali, n'amaato amalala gaali naye. 37Awo omuyaga gw'empewo mungi ne gusituka, amayengo nga gayiika mu lyato, eryato ne libula okujjula amazzi. 38Ye yali yeebase mu kiwenda ku kigugu; ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, ggwe tofaayo oba tusaanawo?” 39N'agolokoka, empewo n'agikomako, n'ennyanja n'agiragira nti: “Sirika, towuuna.” Empewo n'ekoma, ne guba mulaala nnyo. 40N'abagamba nti: “Mutidde ki? Temulina kukkiriza?” 41Entiisa n'ebakwata, ne bagambagana nti: “Ono ye ani, okuba nti empewo n'ennyanja bimuwulira?”
Abakwatiddwa emyoyo emibi ab'e Gerasa bawonyezebwa
Currently Selected:
Mar 4: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.