Mar 3
3
1 #
Mat 12,9-14; Luk 6,6-11. Era n'ayingira mu sinaagooga; omwo mwalimu omuntu ow'omukono ogwakala. 2Ne bamwekaliriza balabe oba anaamuwonya ku Sabbaato balyoke bamuwawaabire. 3Ye n'agamba oli eyalina omukono omukalu nti: “Situka ojje wakati.” 4Awo n'abagamba nti: “Kisaanye kukolera obulungi ku Sabbaato nandiki kukolera bubi, kuwonya bulamu oba kutta?” Bo ne basirika busirisi. 5N'abeebunguluza amaaso ng'akaladde n'obunakuwavu nga munakuwavu olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe; n'agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N'agugolola; omukono gwe ne guddirawo ddala. 6Abafarisaayo ne bafuluma, amangu ago ne bamuteesaako n'ab'ekibiina kya Erode nga bwe banaamuzikiriza.
Nkumu bagoberera Yezu
7 #
Mat 4,23-25; 2,15zid; Luk 6,17-19. Yezu n'avaayo n'abayigirizwa be n'adda ku nnyanja. Ekibiina kinene ne kimugoberera okuva mu Galilaaya era n'okuva mu Buyudaaya, 8n'okuva mu Yeruzaalemu ne mu Yidumeya n'emitala wa Yorudani, ne mu miriraano gya Tiiro ne Sidoni; bwe baawulira bye yali akola, ne bajja gy'ali, ekibiina ekinene obulala! 9#4,1; Luk 5,1-3.N'alagira abayigirizwa be okumulabira akaato olw'okubeera ekibiina, baleme kumunyigiriza. 10Kubanga yawonyanga bangi, abalina endwadde, kyebaavanga bamwesuulako bamukwateko. 11N'emyoyo emigwagwa bwe gyamulabanga nga gimuvunnamira nga giwowoggana nti: “Ggwe oli Mwana wa Katonda,” 12naye ye ng'agikomako n'amaanyi obutamwatuukiriza.
Abatume balondebwa
13 #
Mat 10,1-4; Luk 6,12-16. Awo n'alinnya ku lusozi, n'ayita w'ali be yayagala, ne bajja w'ali. 14N'alonda kkumi na babiri#3,14 Ez'edda z'ongerako: be yayita Abatume. babeerenga naye, abatumenga okuyigiriza, 15nga balina n'obuyinza obw'okugoba emyoyo emibi: 16Simoni gwe yayongerako erinnya erya Petero; 17Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda wa Yakobo, be yayongerako erinnya erya 'Bowanerige', kwe kugamba nti: 'Abaana b'enjota'; 18ne Andureya ne Filippo, ne Barutolomaawo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufayo, ne Taddewo, ne Simoni Omukanaani, 19ne Yuda Yisikariyoti eyamulyamu olukwe.
Baganda be baagala okumukwata
20Ne bagenda mu nnyumba, ekibiina ne kikuŋŋaana nate, nga tebakyayinza newandibadde okulya ku mmere. 21Ababe bwe baawulira, ne bajja okumukwata; baali bagamba nti: “Agudde eddalu.”
Yezu ne Beelizebuli
22 #
Mat 9,34; 10,25. Abawandiisi abaali bavudde#Mat 12,24-29; Luk 11,15-22. e Yeruzaalemu ne bagamba nti: “Alimu Beelizebuli, n'emyoyo emibi agigoba ku bwa mukulu w'emyoyo emibi.” 23Awo n'abayita w'ali, n'abagamba mu ngero nti: “Kale Sitaani ayinza atya okugoba Sitaani? 24Obanga obwakabaka bwetemyemu, obwakabaka obwo tebusobola kunywera. 25Ennyumba bwe yeetemamu, eyo nga tekyanywedde. 26Obanga Sitaani yeerwanyisa bw'atyo, aba yeetemyemu, talisobola kunywera; atuuse ku nkomerero. 27Tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya w'amaanyi n'anyaga ebibye, wabula ng'asoose okusiba ow'amaanyi, olwo anaasobola okunyagulula ennyumba ye. 28Mazima mbagamba nti ebibi byonna birisonyiyibwa, na buli bivumo bye bavumamu Katonda; 29#Luk 12,10.naye buli alivuma Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa emirembe gyonna; wabula aliko omusango gw'ekibi eky'emirembe gyonna.” 30Anti baali bagamba nti: “Alimu omwoyo omugwagwa.”
Baganda ba Yezu abannamaddala
31 #
Mat 12,46-50; Luk 8,19-21. Awo nnyina ne baganda be ne bajja ne bayimirira ebweru, ne bamutumira nga bamuyita. 32Ekibiina kyali kitudde nga kimwetoolodde, abantu ne bamugamba nti: “Nnyoko ne baganda bo baabano wabweru bakunoonya.” 33Ye n'abagamba nti: “Mmange ye ani ne baganda bange be baani?” 34Awo ne yeebunguluza amaaso abaali batudde awo nga bamwetoolodde, n'abagamba nti: “Bano ye mmange, be baganda bange. 35Kubanga buli akola Katonda ky'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.”
Olugero lw'omusizi
Currently Selected:
Mar 3: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.