YouVersion Logo
Search Icon

Mar 2

2
1 # Mat 9,1-8; Luk 5,17-26. Oluvannyuma lw'ennaku nga ziizo bwe yakomawo mu Kafarunawumu, ne bawulira ng'ali waka, 2ne bakuŋŋaana bangi nga tewakyali na kafo wadde mu mulyango; yali abayigiriza ekigambo.
3Awo ne wajjawo abaaleeta omulwadde akonzibye, ng'asituddwa abantu bana. 4Bwe baalemwa okumusembeza w'ali olw'ekibiina, ne basereekulula ku kasolya waggulu ne Yezu we yali; bwe baafunawo omwagaanya, ne bakkiririzaawo olunnyo omulwadde kwe yali agalamidde. 5Yezu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba akonzibye nti: “Mwana wange, ebibi byo bisonyiyiddwa.” 6Naye waali watuddewo abamu ku bawandiisi; ne beebuuza mu mitima gyabwe nti: 7“Ono ekimwogeza atyo kiki? Avuma Katonda. Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?” 8Amangu ago, Yezu mu mwoyo gwe bwe yategeera bye beebuuza munda yaabwe, n'abagamba nti: “Lwaki mwebuuza mutyo mu mitima gyammwe? 9Ekisinga obwangu okugamba akonzibye kiruwa: okugamba nti: ‘Ebibi byo bisonyiyiddwa?’ nandiki okugamba nti: ‘Situka, otwale olunnyo lwo, otambule?’ 10Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba akonzibye nti: 11“Nkugamba: situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.” 12Ye n'asituka amangu ago, n'akwata olunnyo lwe, n'afuluma ebweru bonna nga balaba. Bonna ne bawuniikirira, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Tetulabanga kiringa kino!”
Okuyitibwa kwa Leevi
13 # Mat 9,9-13; Luk 5,27-32. N'afuluma ate n'agenda ku nnyanja; ekibiina kyonna ne kijja gy'ali, n'abayigiriza. 14Naye yali ayita, n'alaba Leevi, mutabani wa Alufayo; yali atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti: “Ngoberera.” N'asituka n'amugoberera. 15#1 Sam 21,1-6.Bwe yali atudde mu nnyumba y'oyo okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi nabo ne batuula ne Yezu n'abayigirizwa be, kubanga bangi mu bo baali bamugoberera. 16Abawandiisi b'Abafarisaayo#2,16 Oba: Abawandiisi n'Abafarisaayo. bwe baalaba ng'alya n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Lwaki alya n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?” 17Yezu bwe yawulira, n'abagamba nti: “Abalamu si be beetaaga omusawo, wabula abalwadde. Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Empaka ku kusiiba
18 # Mat 9,14-17; Luk 5,33-38. Kale nno abayigirizwa ba Yowanna n'Abafarisaayo baasiibanga; awo abantu abamu ne bajja, ne bamugamba nti: “Abayigirizwa ba Yowanna Baptista n'abayigirizwa b'Abafarisaayo basiiba, naye lwaki abayigirizwa bo tebasiiba?” 19Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole ng'awasizza akyali nabo bayinza okusiiba? Ng'awasizza akyali nabo tebasobola kusiiba. 20Ennaku zirituuka, awasizza n'abaggyibwako, olwo ku lunaku olwo balisiiba. 21Tewali muntu atunga kiwero kiggya ku kyambalo kikadde; bw'akola atyo, ekiraka kyeyuza ku kyambalo, ekiggya ne kiva ku kikadde, okuyulika ne kweyongera bweyongezi. 22Era tewali afuka vviini nsu mu nsawo nkadde; bw'akola atyo, evviini eyabya ensawo, evviini n'efiira bwereere, n'ensawo ne zifa. Naye evviini ensu eteekebwa mu nsawo mpya.”
Omwana w'Omuntu ye mukama wa Sabbaato
23 # Et 23,25. Awo ku Sabbaato#Mat 12,1-8; Luk 6,1-5. emu bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋano, abayigirizwa be ne batandika okunuula ebirimba by'eŋŋano. 24Abafarisaayo ne bamugamba nti: “Laba, lwaki bakola ekitakkirizibwa ku Sabbaato?” 25N'abagamba nti: “Temusomanga Dawudi kye yakola lwe yali mu bwetaavu ng'enjala emuluma, ye n'abaali naye, 26#Abal 24,9.nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu mirembe gya Abiyatari kabona omukulu, n'alya Emigaati gy'Okwolesebwa egyaziranga okuliibwa omuntu omulala yenna, wabula bakabona bokka, n'awaako n'abo abaali naye?” 27Era n'abagamba nti: “Sabbaato yassibwawo kubeera muntu; sso si muntu kubeera Sabbaato; 28bw'atyo Omwana w'Omuntu ye mukama era n'owa Sabbaato.”
Ow'omukono ogukaze awonyezebwa

Currently Selected:

Mar 2: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in