YouVersion Logo
Search Icon

Mar 1

1
I. EBYAKULEMBERA OKUYIGIRIZA KWA YEZU
Okuyigiriza kwa Yowanna Batista
1 # Mat 3,1–6,11; Luk 3,3–6,15. Amatandika g'Evangili ya Yezu Kristu, Omwana wa Katonda. 2#Mal 3,1.Nga bwe kyawandiikibwa mu Yisaaya omulanzi nti:
“Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go,
anaakutegekera ekkubo lyo;
3 # Yis 40,3. eddoboozi ery'oyo aleekaana mu ddungu nti:
‘Mutegeke ekkubo ly'Omukama,
muluŋŋamye obukubo bwe.’ ”
4Yowanna yalinga abatiza mu ddungu ng'ayigiriza batismu ey'okubonerera olw'okusonyiyibwa ebibi. 5Ensi yonna eya Buyudaaya n'abantu bonna ab'omu Yeruzaalemu ne bagendanga gy'ali n'ababatiza mu mugga Yorudani nga baatula ebibi byabwe. 6#2 Bak 1,8.Yowanna yayambalanga ekyambalo eky'ebyoya by'eŋŋamiya, n'omusipi ogw'olukoba mu kiwato kye; yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ogw'oku ttale. 7Yayigirizanga ng'agamba nti: “Emabega wange wajjayo ansinga amaanyi, gwe sisaanira na kufukamira kusumulula lukoba lwa ngatto ze. 8Nze mbabatizza na mazzi, naye oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.”
Yezu abatizibwa
9 # Mat 3,13-17; Luk 3,21lud. Mu nnaku ezo, Yezu n'ava e Nazareti eky'omu Galilaaya, n'abatizibwa Yowanna mu Yorudani. 10Amangu ago, olwava bw'ati mu mazzi, n'alaba eggulu nga libikkuse ne Mwoyo ng'akka ku ye ng'enjiibwa. 11#Amas 22,2; Zab 2,7; Yis 42,1; Mat 3,17; 12,18; Mar 9,7; Luk 3,22.Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti: “Ggwe mwana wange omwagalwa; nkwesiimiramu.”
Yezu akemebwa mu ddungu
12 # Mat 4,1-2.11; Luk 4,1lud. Amangu ago Mwoyo n'amusindika mu ddungu; 13n'abeera mu ddungu ennaku amakumi ana, n'akemebwa Sitaani; yabeeranga wamu n'ebisolo by'oku ttale, bamalayika nga bamuweereza.
II. YEZU AYIGIRIZA MU GALILAAYA
Yezu atandika okuyigiriza
14 # Mat 4,12.17; Luk 4,14lud. Yowanna bwe yamala okusibibwa, Yezu n'ajja mu Galilaaya n'alangirira Evangili ya Katonda, 15#Mat 3,2.ng'agamba nti: “Obudde butuukiridde; obwakabaka bwa Katonda busembedde; mubonerere, mukkirize Evangili.”
Abayigirizwa abana abaasooka bayitibwa
16 # Mat 4,18-22. Bwe yali atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba Simoni ne Andureya muganda we nga basuula akatimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 17Yezu n'abagamba nti: “Mungoberere; nzija kubafuula mubeere abavubi b'abantu.” 18Amangu ago, ne baleka obutimba bwabwe, ne bamugoberera. 19Bwe yatambulako akabanga, n'alaba Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we nga basanirira obutimba mu lyato; 20nabo n'abayita amangu ago. Ne baleka kitaabwe Zebedaayo mu lyato wamu n'abakozi be, ne bamugoberera.
Yezu mu sinaagooga e Kafarunawumu
21 # Luk 4,31-37. Awo ne bajja mu Kafarunawumu, amangu ago n'ayingira mu sinaagooga ku lwa Sabbaato n'ayigiriza. 22Ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye; kubanga yali abayigiriza ng'alina obuyinza, sso si ng'abawandiisi.
23Mu sinaagooga yaabwe mwalimu omuntu aliko omwoyo omugwagwa, amangu ago n'aleekaana nti: 24“Otwagaza ki ggwe Yezu ow'e Nazareti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi ggwe ani, Omutuukirivu wa Katonda.” 25Yezu n'agukabukira nti: “Sirika ate muveemu.” 26Omwoyo omugwagwa ne gumusikaasikanya, ne gumuvaamu nga guwowoggana mu ddoboozi ddene. 27Bonna ne bawuniikirira, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kino kiki? Enjigiriza eno empya ate ey'obuyinza! Kubanga newandibadde emyoyo emigwagwa agiragira ne gimuwulira.” 28Amangu ago ettutumu lye ne libuna mu nsi yonna eyetooloddewo ey'omu Galilaaya.
Nnyina wa muka Simoni Petero awonyezebwa
29 # Mat 8,14lud; Luk 4,38lud. Amangu ago n'ava mu sinaagooga, n'agenda#1,29 Ez'edda zigamba: Amangu ago ne bava mu sinaagooga, ne bagenda. mu nnyumba ya Simoni ne Andureya, ng'ali wamu ne Yakobo ne Yowanna. 30Nnyina wa muka Simoni yali ku ndiri ng'alina omusujja; amangu ago ne bamubuulira. 31Ye n'asembera, n'amukwata ku mukono, n'amugolokosa; omusujja ne gumuta, n'abaweereza.
Abalwadde abatali bamu bawonyezebwa
32 # 8,16; Luk 4,40. Obudde bwe bwawungeera, enjuba ng'egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna n'abakwatiddwa emyoyo emibi. 33Ekibuga kyonna kyali kikuŋŋaanidde awo ku mulyango. 34N'awonya bangi abaali bakwatiddwa endwadde ezitali zimu, era n'agoba n'emyoyo emibi mingi, naye nga taganya myoyo mibi kwogera, kubanga gyali gimumanyi.
Ayitaayita mu Galilaaya
35 # Luk 4,42-44. Ku makya mu matulutulu n'agolokoka, n'afuluma n'agenda mu kifo ekyesudde n'abeera eyo nga yeegayirira. 36Simoni n'amugoberera ne banne bwe baali. 37Bwe baamuggukako, ne bamugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya.” 38Ye n'abagamba nti: “Tugende n'awalala mu bibuga ebituliraanye, namwo njigirizeemu, anti ekyo kye najjirira.” 39#Mat 4,23; 9,35.N'agenda ng'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe mu Galilaaya yonna, ng'agoba n'emyoyo emibi.
Omugenge awonyezebwa
40 # 8,2-4; Luk 5,12-16. Awo omugenge n'ajja gy'ali n'amwegayirira, n'amufukaamirira, n'agamba nti: “Bw'oyagala, osobola okunnongoosa.” 41Yezu ekisaasaazi ne kimukwata, n'agolola omukono gwe n'amukwatako, n'amugamba nti: “Njagala, longooka.” 42Amangu ago ebigenge ne bimuta, n'alongooka. 43N'amukuutira, n'amusiibula amangu ago nga bw'amugamba nti: 44#Abal 14,1-32.“Laba nti tobaako gw'obuulira, wabula genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone olw'okulongoosebwa kwo Musa kye yalagira ng'obukakafu gye bali.” 45Naye ye olwafuluma, ekigambo n'atandika okukyogerako kyere n'okukiralaasa, Yezu nga takyayinza kuyingira mu lwatu mu kibuga, wabula yabeeranga bbali mu bifo ebyesudde. Abantu baagendanga gy'ali nga bava mu buli nsonda.
Omulwadde ow'olukonvuba awonyezebwa

Currently Selected:

Mar 1: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in