Mar OKWANJULA EKITABO
OKWANJULA EKITABO
Ebyafaayo by'Ekitabo: Evangili ya Mariko ye vangili eyasooka okuwandiikibwa; yawandiikibwa Yowanna Mariko mu matandika g'ekyasa ekyokubiri AD. Yali kizibwe wa Barunaba omukulembeze omututumufu mu Ekleziya eyasooka (Kol 4,10), era nga ye yawerekera Barunaba ne Pawulo mu lugendo lwabwe olwasooka olw'obuminsane (Ebik 12,25; 13,5; 15,36-39). Okusinziira ku byafaayo, evangili eno Mariko yagiwandiikira Abakristu abataali Bayudaaya, oluusi kyava afaayo okubannyonnyola obulombolombo bw'Abayudaaya (7,3-4).
Entereeza y'ekitabo: Evangili ya Mariko eyinza okwawulwamu ebitundu ebikulu bina: I. Ebisooka nga Yezu tannayigiriza (1,1-12); II. Ebyewuunyo bya Yezu mw'ayolekera obuyinza bwe ng'ayigiriza mu Galilaaya (1,14–7,23). III. Yezu ng'ali ebweru wa Galilaaya ne mu Yeruzaalemu (7,24–13,37); ne IV. Okubonaabona n'okuzuukira kwa Yezu (14-16).
Enjigiriza y'ekitabo: Evangili eno yeesigamye ku kunnyonnyola lwaki Yezu eyakolera abantu ebirungi (1-8) ate abantu ba Yisirayeli ne bamugaana (9-15), ne bamutta. Mariko akkaatiriza nti ekkubo Yezu lye yakwata lya kubonaabona era Omukristu eyeetegese okumugoberera alina okubonaabona. Yezu ng'alangirira obwakabaka bwa Katonda (1,14-15), ye n'ebigambo bye abakulembeze ba Bayisirayeli baabigaana (2,3-6). Abagoberezi be baasooka ne bamutegeera ng'omulanzi (8,27-30) naye ate bwe yayogera ku kubonaabona kwe, ne batamutegeera (8,31; 9,31; 10,33-34), okumaliriza ng'omu ku bo amuliddemu olukwe (14,10-11). Mariko atulaga ng'obununuzi bwa Yezu tebwali bwangu bwa kutegeera. Mu Vangili ya Mariko Yezu teyeeyatuukiriza nga Messiya (Kristu) era takkiriza muntu yenna kukyogerako, wadde n'emyoyo emibi agikugira, kubanga kyandireetedde abamu okutabulatabula omulimu gwe. Mariko atulaga nti okubonaabona kwa Yezu n'okufa kwe tebyalemesa mulimu gwamuleeta. Okugoba n'okuwangula Sitaani bitulaga nti obwakabaka bwa Katonda buli mu ye (3,23-27). Okwagala kwa Katonda n'obusaasizi bwe tubirabira mu Yezu afaayo ku boonoonyi (2,5.16-17). Mariko atulaga abagoberezi ba Yezu abaafuuka abatume n'obunafu bwabwe obw'omuntu bwe baalina (14,66-72). Mariko ng'atuwa eky'okulabirako ky'Abatume atulaga nti ebizibu bisoboka okuwangulibwa. Yezu yabonaabona olw'okubeera aboonoonyi, abasolooza b'omusolo, abaana, abalwadde ate n'abatafiibwako.
Omugaso gw'Ekitabo mu nsangi zino: Ng'oggyeeko enjigiriza eyo, Evangili ya Mariko ya mugaso mu bukadde bwayo. Mariko ye yasooka okusengeka enjigiriza ya Yezu n'ebikolwa bye ng'ekitabo. Ekitabo kye yakigguzzaawo ebigambo “Amatandika g'Evangili ya Yezu Kristu Omwana wa Katonda.” Okuva olwo ebitabo ebiringa ekikye ne bikazibwako erya 'Evangili'. Matayo ne Luka baazimbira evangili zaabwe ku Mariko. Abakugu abamu batugamba nti evangili ya Mariko yagifunza agiggya mu njigiriza za Petero Omutume.
MARIKO
Currently Selected:
Mar OKWANJULA EKITABO: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.