YouVersion Logo
Search Icon

Mat 28

28
1 # Mar 16,1-8; Luk 24,1-12; Yow 20,1-13. Sabbaato bwe yaggwa, mu matulutulu ku lusooka mu wiiki, Mariya Magudalena ne Mariya omulala ne bajja okulaba entaana. 2Ne wasituka musisi ow'amaanyi, kubanga malayika w'Omukama yakka n'ava mu ggulu n'ajja n'ayiringisaawo ejjinja, n'alituulako. 3Yali afaanana ng'ekimyanso, n'ekyambalo kye nga kyeru ng'omuzira. 4Abakuumi ne batekemuka olw'okumutya, ne baba ng'abafudde.
5Malayika n'agamba abakazi nti: “Muleke kutya; mmanyi nga munoonya Yezu eyakomererwa ku musaalaba. 6Muno taliimu; anti azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo mwe yabadde agalamidde. 7Mugende mangu mubuulire abayigirizwa be nti azuukidde, abeesooseeyo mu Galilaaya; eyo gye mulimulabira. Kale mbabuulidde.” 8Ne bafuluma mangu mu ntaana n'ensisi ate n'essanyu lingi, ne baddukanako okubuulira abayigirizwa be. 9#Yow 20,14-18.Yezu n'abasisinkana, n'agamba nti: “Mirembe!” Bo ne bajja ne bavumbagira ebigere bye ne bamusinza. 10Awo Yezu n'abagamba nti: “Temutya mugende mubuulire baganda bange, bagende e Galilaaya, eyo gye balindabira.”
Obulimba bwa bakabona abakulu
11Abakazi baba bakyagenda, abamu ku bakuumi ne bagenda mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebyali bifuddeyo. 12Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa, ne bawa abaserikale omuwendo gw'ensimbi, 13#27,64.ne babagamba nti: “Mugambe nti: ‘Abayigirizwa be bazze ekiro ne bamubbamu ffe nga twebase.’ 14Ekyo bwe kinaatuuka ku wessaza, ffe tujja kumumatiza, mmwe tubawonye emitawaana.” 15Bo ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabalagira. Olugambo olwo ne lulaalaasibwa mu Bayudaaya n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Yezu alabikira abayigirizwa mu Galilaaya n'abatuma
16 # 26,32; Mar 14,28. Awo abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Galilaaya, ku lusozi Yezu lwe yabalagira. 17Bwe baamulaba ne bamusinza; naye abamu ne babuusabuusa. 18Yezu n'abasemberera, n'abagamba nti: “Obuyinza bwonna mu ggulu ne mu nsi bwampeebwa. 19#24,14; Ebik 1,8.Kale nno mugende muyigirize amawanga gonna, nga mubabatiza mu linnya lya Taata n'erya Mwana n'erya Mwoyo Mutuukirivu. 20Mubayigirize okukwata byonna bye nabalagira. Nange ndi nammwe ennaku zonna okutuusa ku nkomerero y'emirembe.”

Currently Selected:

Mat 28: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in