YouVersion Logo
Search Icon

Mat 27

27
1 # Mar 15,1; Luk 23,1; Yow 18,28. Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n'abakadde b'abantu ne bateesa batte Yezu. 2Ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamukwasa Pilato owessaza.
Enfa ya Yuda
3 # Ebik 1,18-19. Yuda eyamuwaayo, bwe yalaba nga Yezu asaliddwa ogw'okufa, ne yejjusa; ebitundu bya ffeeza amakumi asatu n'abikomyawo ewa bakabona abakulu n'abakadde 4ng'agamba nti: “Nnyonoonye okuwaayo omusaayi gw'ataliiko musango.” Bo ne bamugamba nti: “Ekyo ffe kitukwatako? Ggwe onoolaba.” 5Ye n'asuula ebitundu bya ffeeza mu Kiggwa, n'avaawo, n'agenda ne yeetuga. 6Bakabona abakulu ne batwala ebitundu bya ffeeza, ne bagamba nti: “Tekisaanira kubiteeka mu ggwanika lya Kiggwa, kubanga zino nsimbi za musaayi.” 7Ne bateesa, ne babigulamu ennimiro y'omubumbi, balyoke baziikengamu abagwira. 8Ennimiro eyo kwe kuyitibwa 'Ennimiro y'Omusaayi' n'okutuusa ku lunaku lwa leero. 9#Yer 19,1-9; Zak 11,12-13.Awo omulanzi Yeremiya kye yalanga ne kituukirira nti: “Ne batoola ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, omuwendo gw'oyo abaana ba Yisirayeli abamu gwe baali bagereseeko omuwendo, 10ne babiwaayo okugula ennimiro y'omubumbi, nga Katonda bwe yantegeeza.”
Yezu atwalibwa ewa Pilato
11 # Mar 15,2-15; Luk 23,2-5.13-25; Yow 18,29–19,1. Awo Yezu n'ayimirira mu maaso g'owessaza. Owessaza n'amubuuza nti: “Ggwe kabaka w'Abayudaaya?” Yezu n'amuddamu nti: “Oyogedde.” 12Naye bwe yawawaabirwa bakabona abakulu n'abakadde, teyaliiko ky'addamu, 13Pilato kwe kumugamba nti: “Bye bakulumiriza ebingi bityo tobiwulira?” 14Ye n'atamwanukula ku byonna ebyali bimuvunaanibwa; owessaza kwe kwewuunya.
15Ku mbaga enkulu owessaza yateeranga ekibiina omusibe gwe kyayagalanga. 16Mu budde obwo yalina omusibe amanyiddwa, erinnya lye Barabba. 17Abantu bwe baamala okukuŋŋaana, Pilato n'ababuuza nti: “Mwagala mbateere ani, Barabba nandiki Yezu ayitibwa Kristu?” 18Kubanga yali amanyi nga baali bamuleesezza buggya.
19Bwe yali atudde ku ntebe ey'obulamuzi, mukazi we n'amutumira ng'agamba nti: “Omutuukirivu oyo tobaako ky'omukolako, kubanga olwa leero nabonyeebonye bingi mu kirooto olw'okubeera ye.” 20Naye bakabona abakulu n'abakadde ne bafukuutirira ekibiina, basabe Barabba, Yezu bamuzikirize. 21Owessaza n'addamu okubagamba nti: “Ku babiri mwagala mbateere ani?” Ne bamuddamu nti: “Barabba,” 22Pilato n'abagamba nti: “Yezu ayitibwa Kristu mmukole ntya?” Bonna ne bagamba nti: “Akomererwe ku musaalaba.” 23N'abagamba nti: “Ddala yakola kibi ki?” Bo ne beeyongera okukaalaama nga bagamba nti: “Akomererwe ku musaalaba.”
24 # Et 21,6-9. Pilato yalaba talina ky'atuukako, wabula ng'akeegugungo ke katandiikiriza, n'akwata amazzi, n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina, n'agamba nti: “Nze sirina kye nvunaanibwa ku musaayi gw'omuntu ono;#27,24 Ezimu zigamba: omusaayi gw'omutuukirivu ono, oba: omusaayi guno omutuukirivu. mmwe munaalaba.” 25Abantu bonna ne bagamba nti: “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe.” 26Awo n'abateera Barabba; Yezu bwe yamala okumukuba enkoba n'amuwaayo akomererwe ku musaalaba.
Yezu ajolongebwa abaserikale
27 # Mar 15,20; Yow 19,2-3. Awo abaserikale b'owessaza ne bakwata Yezu ne bamutwala mu Purayitoriyo, ne bamukuŋŋaanyirizaako ekibinja ky'abaserikale kyonna. 28Ne bamwambula, ne bamussaako omunagiro omumyufu, 29ne bazinga omuge ogw'amaggwa, ne bagumussa ku mutwe, ne bamukwasa olumuli mu mukono ogwa ddyo, ne bamufukaamirira nga bamuduulira, nga bagamba nti: “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” 30Ne bamufujjira amalusu mu maaso, ne bakwata olumuli, ne balumukuba mu mutwe. 31#Mar 15,20b-32; Luk 23,26.33-43; Yow 19,16b-27.Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu omunagiro, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba.
Yezu akomererwa ku musaalaba
32Bwe baali bafuluma, ne basanga omusajja ow'e Kureni, erinnya lye Simoni; ono ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwe. 33Ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Golugota, kwe kugamba, 'ekifo ky'akawanga', 34#Zab 69,22.ne bamuwa evviini entabulemu endulwe; naye bwe yakombako, n'atayagala kunywa.
35 # Zab 22,19. Bwe baamala okumukomerera, ebyambalo bye ne babigabanyaamu nga babikubako akalulu; 36ne batuula, ne basigala awo nga bamukuuma. 37Ne bassa waggulu w'omutwe gwe omusango gwe, nti: ONO YE YEZU, KABAKA W'ABAYUDAAYA. 38Abanyazi babiri baakomererwa wamu naye, omu ku ddyo n'omulala ku kkono.
Ebyaliwo nga Yezu alengejja ku musaalaba
39 # Zab 22,8; 109,25. Abayise ne bamusekerera, ne bamunyeenyeza omutwe 40#26,61; Yow 2,19.nga bagamba nti: “Ggwe amenya Ekiggwa kya Katonda n'okizimba mu nnaku ssatu? Weewonye! Obanga ggwe Mwana wa Katonda, kka ove ku musaalaba.” 41Ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'abakadde ne bamuduulira nga bagamba nti: 42“Yawonyanga balala, ye tayinza kwewonya. Anti ye kabaka wa Yisirayeli, kaakano nno akke ave ku musaalaba, tujja kumukkiriza. 43#Zab 22,9.Anti yeesiga Katonda, kaakano Katonda amuwonye obanga amwetaaga, anti yagamba nti: ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ” 44N'abanyazi abaali bakomereddwa naye, ne bamuvuma.
Yezu atondoka
45 # Mar 15,33-41; Luk 23,44-49; Yow 19,28-30. Okuva ku ssaawa eyoomukaga ekizikiza ne kibikka ensi yonna okutuusa ku ssaawa eyoomwenda. 46#Zab 22,2.Nga ku ssaawa eyoomwenda Yezu n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Eli, Eli, lama sabakitani?” kwe kugamba nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” 47Abamu ku baali bayimiridde awo ne bamuwulira, ne bagamba nti: “Ono ayita Eliya.” 48#Zab 69,22.Awo omu ku bo n'ayanguwa mangu n'addira ekyangwe n'akinnyika mu nkaatu, n'akitunga ku lumuli, n'amuwa anywe. 49Abalala ne bagamba nti: “Leka, ka tulabe oba Eliya anajja okumuwonya.” 50Ate Yezu n'addamu okukoowoola n'eddoboozi eddene, n'awaayo omwoyo gwe.
51 # Okuv 26,31-33. Awo olutimbe lw'omu Kiggwa ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana, enjazi ne ziryeryebuka, 52n'entaana ne zaasama, n'emibiri mingi egy'abatuukirivu abaali bafudde ne gizuukira. 53Bwe yamala okuzuukira, baava mu ntaana ne bagenda mu kibuga ekitukuvu, ne balabikira bangi.
54Senturiyo n'abaali naye nga bakuuma Yezu, bwe baalaba ensi ng'ekankana n'ebyo byonna ebyabaawo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Ggwe wamma ono abadde Mwana wa Katonda.” 55#Luk 8,2-3.N'abakazi bangi abaali bagoberedde Yezu okuva mu Galilaaya nga bamuweereza baali balengera nga bayima walako. 56Mu bo mwalimu Mariya Magudalena ne Mariya nnyina Yakobo ne Yozefu, ne nnyina w'abatabani ba Zebedaayo.
Yezu aziikibwa
57 # Mar 15,42-47; Luk 23,50-56; Yow 19,38-42. Awo obudde bwe bwawungeera, ne wajjawo omusajja naggagga ow'e Arimateya, erinnya lye Yozefu; naye yali muyigirizwa wa Yezu. 58N'agenda eri Pilato n'amusaba omubiri gwa Yezu. Pilato n'alagira okugumuwa. 59Awo Yozefu n'addira omubiri n'aguzinga mu ssuuka ennyonjo, 60n'aguteeka mu ntaana ye empya gye yali asimye mu lwazi; n'ayiringisiza ejjinja eddene ku mulyango gw'entaana, n'agenda. 61Mariya Magudalena ne Mariya omulala baali awo nga batudde mu maaso g'entaana.
Abakuumi bassibwa ku ntaana
62Ku lunaku olwaddako, oluvannyuma lw'Olunaku olw'Okuteekateeka,#27,62 Lwe lunaku Olwookutaano, olutegekerwako Sabbaato. bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Pilato, 63#16,21; 17,23; 20,19; Mar 8,31; 9,31; 10,33-34; Luk 9,22; 18,31-33.ne bagamba nti: “Ssebo, tujjukidde ng'omulimba oyo, bwe yali akyali mulamu, yagamba nti: ‘Nga wayise ennaku ssatu ndizuukira;’ 64kale nno lagira bakuume entaana okutuusa olw'essatu; abayigirizwa sikulwa nga bajja ne bamubbamu, ne bagamba abantu nti: ‘Azuukidde mu bafu.’ Olwo obulimba obw'oluvannyuma bujja kubeera bubi okusinga obw'olubereberye.” 65Pilato n'abagamba nti: “Mufune abakuumi, mugende mukuumire ddala bulungi nga bwe musobola.” 66Ne bagenda ne banyweza entaana, ejjinja ne balissaako envumbo, ne bassaawo n'abakuumi.
Abakazi bajja ku ntaana

Currently Selected:

Mat 27: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in