Mat 26
26
1Yezu bwe yasirissa ebigambo ebyo byonna n'agamba abayigirizwa be nti: 2#Okuv 12,1-27.“Mumanyi nga Pasika ejja mu nnaku bbiri, n'Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo okukomererwa ku musaalaba.” 3Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana mu nnyumba ya kabona omukulu eyali ayitibwa Kayafa, 4ne bateesa amagezi ag'okukwata Yezu nga bamusoonookereza, bamutte. 5Kyokka ne bagamba nti: “Si ku mbaga enkulu, sikulwa ng'akeegugungo kagwawo mu kibiina.”
Yezu asiigibwa omuzigo e Betaniya
6Yezu bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simoni omugenge, 7#Luk 7,37-38.omukazi n'ajja w'ali n'akasumbi k'alabasiteri ak'omuzigo ogw'akawoowo ogw'omuwendo, n'agumufuka ku mutwe ng'atudde alya. 8Abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga, ne bagamba nti: “Gufudde ki guno? 9Kubanga guno gubadde guyinza okutundibwa omuwendo omunene ensimbi ne zigabirwa abaavu.” 10Yezu n'ategeera, n'abagamba nti: “Omukazi ono mumutawaanyiza ki? Ankoledde ekintu kirungi; 11#Et 15,11.abaavu muli nabo bulijjo; sso nze temujja kubeeranga nange bulijjo. 12Bw'afuse omuzigo ogw'akawoowo ku mubiri gwange, akikoze kuntegekera maziika. 13Mazima mbagamba nti: wonna Evangili eno gy'eribuulirwa mu nsi yonna, ky'akoze kiryogerwangako okumujjukira.”
Olukwe lwa Yuda
14Awo omu #Mar 14,10.ku Kkumi n'Ababiri eyali ayitibwa Yuda Yisikariyoti, n'agenda eri bakabona abakulu, 15#Zak 11,12.n'abagamba nti: “Mwagala kumpa ki nze bwe nnaabamukwasa?” Bo ne bamusasula ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16Okuva mu kaseera ako n'anoonya akakisa amuweeyo.
Embaga eteekebwateekebwa
17Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez'Emigaati Egitazimbulukuse abayigirizwa ne basembera awali Yezu, ne bagamba nti: “Oyagala tugende tukutegekere wa gy'onooliira Pasika?” 18Yezu n'agamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: Obudde bwange buli kumpi; ewuwo gye nnaakolera Pasika wamu n'abayigirizwa bange.’ ” 19Abayigirizwa ne bakola nga Yezu bwe yali abalagidde, ne bateekateeka Pasika.
Ekyeggulo ekisembayo
20 #
Mar 14,17-25; Luk 22,14-23. Obudde bwe bwawungeera, n'atuula ku mmeeza wamu n'Ekkumi n'Ababiri. 21Bwe baali balya, n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti munnammwe omu ajja kumpaayo.” 22Bo ne banakuwala nnyo; ne basooka okumubuuza kinnoomu nti: “Mukama, ye nze?” 23#Zab 41,10.Ye n'addamu nti: “Akoza nange mu kibya y'anampaayo. 24Weewaawo Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, kyokka zimusanze oyo anaawaayo Omwana w'Omuntu! Singa omuntu oyo teyazaalibwa, kyandibadde kirungi gy'ali.” 25Ne Yuda eyamuwaayo n'agamba nti: “Rabbi, ye nze?” Ye n'agamba nti: “Oyogedde.”
26 #
1 Kor 11,23-25. Bwe baali balya, Yezu n'akwata omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu, n'awa abayigirizwa be ng'agamba nti: “Mukwate, mulye; kino mubiri gwange.” 27Ate n'akwata ekikompe, ne yeebaza n'akibawa, n'agamba nti: “Munywe ku kino mwenna; 28#Okuv 24,8; Yer 31,31-34.Kubanga kino musaayi gwange ogw'endagaano,#26,28 Ezimu yongerako: empya. oguyiibwa ku lw'abangi, olw'okusonyiyisa ebibi. 29Ka mbabuulire, okuva kati siriddamu kunywa ku kibala kino eky'omuzabbibu, okutuusa olunaku olwo lwe ndikinywa obuggya wamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.”
Alanga Petero bw'ajja okumwegaana
30 #
Mar 14,26-31. Bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma, ne bagenda ku Lusozi olw'Oliva. 31#Zak 13,7.Yezu n'abagamba nti: “Mmwe mwenna mujja kunneesittalako ekiro kino, kubanga baawandiika nti: ‘Ndikuba omusumba, endiga ze ggana ne zibuna emiwabo.’ 32#28,16.Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibeesooka mu Galilaaya.” 33Petero n'amuddamu nti: “Abalala bonna ne bwe banaakwesittalako, nze sijja kwesittala n'akatono.” 34Yezu n'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti mu kiro kino enkoko eneeba tennakookolima, onooba onneegaanyi emirundi esatu.” 35Petero n'amugamba nti: “Ne bwe nnaaba ndi wa kufa wamu naawe, sijja kukwegaana.” Na bonna abayigirizwa ne boogera bwe batyo.
Mu Getisemani
36 #
Mar 14,32-42; Luk 22,39-46. Awo Yezu n'agenda nabo mu kafo akayitibwa Getisemani, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano ngira ŋŋenda eri neegayirire.” 37N'atoolako Petero ne batabani ba Zebedaayo bombi, n'asooka okuwulira ennaku n'okukabirirwa. 38N'abagamba nti: “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi ezaagala n'okunzita; mubeere wano, mutunule wamu nange.” 39N'abaawukanako katono, n'agwa wansi ku maaso ge, ne yeegayirira ng'agamba nti: “Kitange, obanga kiyinzika, ekikompe kino kimpiteko; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.” 40N'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase; n'agamba Petero nti: “Abaffe, temuyinza kutunula nange wadde essaawa emu eti? 41Mutunule, mwegayirire, muleme kutwalibwa mu kukemebwa; kubanga omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.” 42Era omulundi ogwokubiri ne yeegayirira n'agamba nti: “Kitange, oba ekikompe kino tekiyinza kuyitawo, wabula nga nkinywedde, kikolebwe nga bw'oyagala.” 43N'adda ogwokubiri, era n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaali gabakambagga. 44N'abaleka, era n'agenda, ne yeegayirira ogwokusatu ng'ayogera ebigambo bye bimu. 45Awo n'ajja eri abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummuddeko? Kaakano akadde katuuse, Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi. 46Musituke tugende, kubanga anampaayo ali kumpi.”
Yezu akwatibwa
47 #
Mar 14,43-50; Luk 22,47-53; Yow 18,3-12. Yali akyayogera, Yuda, omu ku Kkumi n'Ababiri, n'atuuka ng'ali n'ekibiina kinene eky'abakutte ebitala n'emiggo okuva mu bakabona abakulu n'abakadde b'abantu. 48Eyamuwaayo yali abawadde akabonero, ng'agambye nti: “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate.” 49Amangu ago n'asemberera Yezu, n'amugamba nti: “Mirembe, Rabbi.” N'amunywegera. 50Yezu n'amugamba nti: “Munnange, ogukuleese wano?”#26,50 Oba: “Munnange, kola ogukuleese.” Awo bali ne basembera, ne bamussaako engalo, ne bamukwata. 51Naye omu ku abo abaali ne Yezu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona omukulu, n'amusalako okutu. 52Yezu n'amugamba nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga bonna abakwata ekitala, balizikirira na kitala. 53Nandiki olowooza nga siyinza kusaba Kitange amangu ago n'ampeereza ebitongole by'eggye lya bamalayika kkumi na bibiri n'okusoba? 54Ebiwandiiko ebitukuvu binaatuukirizibwa bitya nti bwe bityo bwe birina okuba?”
55 #
Luk 19,47; 21,37. Mu kaseera ako, Yezu n'agamba ekibiina nti: “Muvuddeyo n'ebitala n'emiggo okunkwata ng'abajjirira omunyazi? Buli lunaku natuulanga nga njigiriza mu Kiggwa naye temwankwata. 56Bino byonna biguddewo ebiwandiiko by'abalanzi bituukirire.” Awo abayigirizwa bonna ne bamwabulira, ne badduka.
57 #
Mar 14,53-65; Luk 22,55.66-71; Yow 18,12-24. Naye abo bwe baakwata Yezu, ne bamutwala ewa Kayafa kabona omukulu, abawandiisi n'abakadde gye baali bakuŋŋaanidde. 58Ye Petero n'amugoberera ng'ayima walako okutuukira ddala ku luggya lwa kabona omukulu, n'ayingira n'atuula n'abakuumi, alabe enkomerero yaabyo. 59Bakabona abakulu n'Olukiiko lwonna ne banoonya obujulizi obw'obulimba obulumiriza Yezu kwe banaasinziira okumutta, 60naye ne batabuzuula newandibadde ng'abajulizi ab'obulimba bajja bangi. Oluvannyuma ne wajjawo babiri, ne bagamba nti: 61#Yow 2,19.“Ono yagamba nti: ‘Nnyinza okumenya Ekiggwa kya Katonda, ate ne nkizzaawo mu nnaku ssatu.’ ” 62Awo kabona omukulu n'ayimirira, n'abuuza nti: “Tolina ky'oyanukula? Kiki kino abantu bano kye bakulumiriza?” 63Naye Yezu n'asirika busirisi. Kabona omukulu n'amugamba nti: “Nkulayiza Katonda omulamu, tutegeeze obanga ggwe Kristu Omwana wa Katonda.” 64#Dan 7,13.Yezu n'amugamba nti: “Oyogedde; era nkugamba nti n'okuva kati Omwana w'Omuntu mulimulaba ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'Obuyinza era ng'ajjira mu bire eby'omu ggulu.” 65#Abal 24,16.Awo kabona omukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti: “Avumye Katonda. Tukyetaagira ki abajulizi, anti mwewuliridde ekivumo kye. 66Mmwe mulowooza ki?” Ne bamuddamu nti: “Agwanidde kufa.” 67#Yis 50,6.Ne bamufujjira amalusu mu maaso, ne bamukuba, ate abamu ne bamukuba empi 68nga bagamba nti: “Tulagule, Kristu, ani akukubye?”
Petero yeegaana Yezu
69 #
Mar 14,66-72; Luk 22,56-62; Yow 18,15-18.25-27. Petero ye yali atudde bweru mu luggya. Omuzaana omu n'asembera w'ali n'agamba nti: “Naawe wali ne Yezu Omugalilaaya.” 70Ye ne yeegaana mu maaso ga bonna, n'agamba nti: “Simanyi ky'ogamba.” 71Aba afuluma ati ku kifugi, omuzaana omulala n'amulaba, n'agamba abaali awo nti: “N'ono yali ne Yezu ow'e Nazareti.” 72Era ne yeegaana ogwokubiri nga bw'alayira nti: “Omusajja simumanyi.” 73Nga wayiseewo akabanga, abaali bayimiridde awo ne basembera, ne bagamba Petero nti: “Kya mazima naawe oli omu ku bo, kubanga n'enjogera yo ekuloopa.” 74Ye n'asooka okuvumirira n'okulayira nga bw'agamba nti: “Omuntu oyo simumanyi.” Amangu ago enkoko n'ekookolima. 75Petero n'ajjukira ekigambo Yezu kye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima, onooba onneegaanye emirundi esatu.” N'afuluma ebweru, n'akaaba n'okunyolwa kungi.
Yezu atwalibwa ewa Pilato
Currently Selected:
Mat 26: BIBU1
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.