Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa, ne bawa abaserikale omuwendo gw'ensimbi, ne babagamba nti: “Mugambe nti: ‘Abayigirizwa be bazze ekiro ne bamubbamu ffe nga twebase.’ Ekyo bwe kinaatuuka ku wessaza, ffe tujja kumumatiza, mmwe tubawonye emitawaana.” Bo ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabalagira. Olugambo olwo ne lulaalaasibwa mu Bayudaaya n'okutuusa ku lunaku lwa leero.