1
Mar 2:17
BIBULIYA ENTUKUVU
Yezu bwe yawulira, n'abagamba nti: “Abalamu si be beetaaga omusawo, wabula abalwadde. Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Compare
Explore Mar 2:17
2
Mar 2:5
Yezu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba akonzibye nti: “Mwana wange, ebibi byo bisonyiyiddwa.”
Explore Mar 2:5
3
Mar 2:27
Era n'abagamba nti: “Sabbaato yassibwawo kubeera muntu; sso si muntu kubeera Sabbaato
Explore Mar 2:27
4
Mar 2:4
Bwe baalemwa okumusembeza w'ali olw'ekibiina, ne basereekulula ku kasolya waggulu ne Yezu we yali; bwe baafunawo omwagaanya, ne bakkiririzaawo olunnyo omulwadde kwe yali agalamidde.
Explore Mar 2:4
5
Mar 2:10-11
Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba akonzibye nti: “Nkugamba: situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.”
Explore Mar 2:10-11
6
Mar 2:9
Ekisinga obwangu okugamba akonzibye kiruwa: okugamba nti: ‘Ebibi byo bisonyiyiddwa?’ nandiki okugamba nti: ‘Situka, otwale olunnyo lwo, otambule?’
Explore Mar 2:9
7
Mar 2:12
Ye n'asituka amangu ago, n'akwata olunnyo lwe, n'afuluma ebweru bonna nga balaba. Bonna ne bawuniikirira, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Tetulabanga kiringa kino!”
Explore Mar 2:12
Home
Bible
Plans
Videos