1
Mar 5:34
BIBULIYA ENTUKUVU
Awo Yezu n'amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe, owonere ddala endwadde yo.”
Compare
Explore Mar 5:34
2
Mar 5:25-26
Waaliwo omukazi eyali alwadde endwadde eya ggerenge emyaka kkumi n'ebiri, ng'abonyaabonyezeddwa nnyo abasawo bangi; yali awaddeyo ebibye byonna, naye nga talungiwako, wabula nga yeeyongera kubeera bubi.
Explore Mar 5:25-26
3
Mar 5:29
Amangu ago omusaayi ogwajjanga ne gukalira, n'awulira muli mu mubiri gwe ng'awonye endwadde.
Explore Mar 5:29
4
Mar 5:41
N'akwata omukono gw'omuwala n'amugamba nti: “Talita, kumi,” kwe kugamba nti: “Kawala, nkugamba golokoka.”
Explore Mar 5:41
5
Mar 5:35-36
Yali akyayogera, ne wabaawo abajja okuva ew'omukulu wa sinaagooga, ne bagamba nti: “Muwala wo afudde; omuyigiriza okyamuteganyiza ki ate?” Naye Yezu bwe yawulira ekigambo kye boogedde, n'agamba omukulu wa sinaagooga nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.”
Explore Mar 5:35-36
6
Mar 5:8-9
Kubanga yali amugamba nti: “Mwoyo ggwe omugwagwa, vva mu muntu ono.” N'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” N'amugamba nti: “Ggye, lye linnya lyange, kubanga tuli nkumu.”
Explore Mar 5:8-9
Home
Bible
Plans
Videos