1
Mar 7:21-23
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
Kubanga mu mitima gy'abantu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu, obwenzi, omululu gw'ebintu, omutima omubi, obulimba, obugwenyufu, eriiso ebbi, okukonjera, olunkulu n'obusirusiru. Ebibi ebyo byonna bifuluma munda ne byonoona omuntu.”
Compare
Explore Mar 7:21-23
2
Mar 7:15
Teri kiva bweru ne kiyingira mu muntu kiyinza kumwonoona; wabula ebifuluma mu muntu bye byonoona omuntu.”
Explore Mar 7:15
3
Mar 7:6
N'abagamba nti: “Yisaaya yalanga bulungi ku mmwe abakuusa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “ ‘Abantu bano bampa ekitiibwa kya ku mumwa bumwa; emitima gyabwe gindi wala.
Explore Mar 7:6
4
Mar 7:7
Okusinza kwe bansinzaamu temuli kantu; enjigiriza gye bayigiriza mateeka g'abantu.’
Explore Mar 7:7
5
Mar 7:8
Kale muleka ekiragiro kya Katonda, ne mukwata empisa z'abantu.”
Explore Mar 7:8
Home
Bible
Plans
Videos