YouVersion Logo
Search Icon

Mar 9

9
1 # Mat 10,23; 24,34. N'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano, abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.”
Yezu afuuka obulala
2 # 2 Pet 1,17-18. Nga wayise #Mat 17,1-9; Luk 9,28-36.ennaku mukaaga, Yezu n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna, n'abambusa ku lusozi oluwanvu ku bbali bokka, n'afuuka mu maaso gaabwe. 3Ebyambalo bye ne bimasamasa, nga byeru nnyo, nga tewali na mwozi mu nsi ayinza kubitukuza bw'atyo. 4Ne balabikirwa Eliya ne Musa; baali boogera ne Yezu. 5Petero n'agamba Yezu nti: “Rabbi, kirungi ffe okubeera wano; ka tukole wano ensiisira ssatu: emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.” 6Yali tamanyi ky'ayogera, kubanga baali batidde nnyo. 7#Mat 3,17; Mar 1,11; Luk 3,22.Ekire ne kijja kibabuutikira; eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, mumuwulirenga.” 8Amangu ago bwe baamagamaga, nga tebakyalaba muntu mulala ali nabo, wabula Yezu yekka.
Bamubuuza ku Eliya
9Bwe baali baserengeta olusozi, n'abakuutira obutabuulirako muntu kye balabye, okutuusa Omwana w'Omuntu ng'amaze okuzuukira mu bafu. 10Ekigambo ne bakyekuumira bokka, naye nga beebuuza 'kiki ng'amaze okuzuukira mu bafu' kye kitegeeza. 11#Mal 3,23-24; Mat 11,14.Ne bamubuuza nti: #Mat 17,10-13.“Lwaki abawandiisi bagamba nti Eliya alina okusooka okujja?” 12N'ayanukula nti: “Kituufu Eliya ajja, atereeze byonna; ate kyawandiikibwa kitya ku Mwana w'Omuntu nti: ‘Wa kulaba ennaku nnyingi n'okujolongebwa’? 13Naye nze mbagamba nti Eliya yajja, wabula ne bamukola kyonna kye baagala nga bwe kyali kimuwandiikiddwako.”
Yezu awonya omwana agwa ensimbu
14 # Mat 17,14-21; Luk 9,37-42. Bwe baatuuka awali abayigirizwa be, n'alaba ekibiina kinene ekibeebunguludde, n'abawandiisi nga bawakana nabo. 15Era amangu ago ekibiina olwalaba Yezu, ne basamaalirira, ne balinnimukira gy'ali, ne bamwaniriza. 16N'ababuuza nti: “Muwakana ki nabo?” 17Omu okuva mu kibiina n'ayanukula nti: “Muyigiriza, nkuleetedde mutabani wange aliko omwoyo gukasiru, 18buli lwe gumukwata, gumukuba ebigwo, n'abimba ejjovu, n'aluma amannyo, n'alambaala. Nasaba abayigirizwa bo bagugobe, ne batayinza.” 19N'abaddamu nti: “Owa, ezzadde lino eritakkiriza! Ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere.” 20Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba, amangu ago ne gumusikaasikanya, n'agwa ku ttaka, ne yeeziribanga, n'abimba ejjovu mu kamwa. 21Awo n'abuuza kitaawe nti: “Yaakamala bbanga ki nga kino kimujjira?” Ye n'agamba nti: “Okuva mu buto; 22ate gumusuula lunye mu muliro ne mu mazzi, gumuzikirize. Naye obanga olina ky'oyinza okukola, tusaasire, otuyambe.” 23Yezu n'amugamba nti: “Obanga osobola! Byonna bisoboka eri oyo akkiriza.” 24Amangu ago kitaawe w'omwana n'agamba nti: “Nzikiriza, yamba obutakkiriza bwange.” 25Yezu bwe yalaba ekibiina nga kikuŋŋaana, n'akabukira omwoyo omubi nti: “Mwoyo ggwe omuggavu gw'amatu, ogutayogera, nze nkulagira, mumaamukeko, ate togezanga kumuddamu.” 26Ne guwowoggana, ne gumusikaasikanya nnyo, ne gumuvaako, n'aba ng'afudde. Bangi ne bagamba nti: “Afudde.” 27Naye Yezu n'amukwata ku mukono, n'amugolokosa, n'asituka. 28Yezu bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugugoba?” 29N'abaddamu nti: “Engeri eno tegobeka, wabula na kwegayirira.”#9,29 Ezimu zongerako: na kusiiba.
Yezu alanga okubonaabona kwe
30 # Mat 17,22lud; Luk 9,36-45. Ne bava eyo, ne basalira mu Galilaaya, nga tayagala wabeerewo akimanya, 31Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa be, ng'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; bw'alimala okuttibwa, nga wayise ennaku ssatu alizuukira.” 32Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, ate baali batya okumubuuza.
Ani asinga obukulu
33 # Mat 18,1-5; Luk 9,46-48. Ne batuuka e Kafarunawumu. Bwe yali mu nnyumba, n'ababuuza nti: “Mu kkubo mubadde mwogera ku ki?” 34#Luk 22,24.Bo ne basirika, kubanga mu kkubo baali bawakana bokka na bokka ku ani asinga obukulu mu bo. 35#Mat 20,26-27; 23,11; Mar 10,43-44; Luk 22,26.N'atuula, n'ayita Ekkumi n'Ababiri, n'abagamba nti: “Buli ayagala okubeera omubereberye, abeere muvannyuma mu bonna, era muweereza wa bonna.” 36Awo n'akwata omwana omuto n'amuyimiriza mu makkati gaabwe, n'amukwata mu mikono gye, n'abagamba nti: 37#Mat 10,40; Yow 13,20.“Buli ayaniriza omwana omuto ng'ono mu linnya lyange, aba ayanirizza nze; na buli annyaniriza, tayaniriza nze, wabula ayaniriza oli eyantuma.”
Eyali agoba Sitaani mu linnya lya Yezu
38 # Luk 9,49lud. Awo Yowanna n'amugamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi mu linnya lyo, ne tumuziyiza, kubanga yali tayita naffe.” 39Yezu n'agamba nti: “Muleke kumuziyiza; kubanga tewali akola kikolwa kya maanyi mu linnya lyange ate ayinza amangu ago okunjogerako obubi. 40#Mat 12,30; Luk 11,23.Kubanga oyo atatuwakanya, aba ku ludda lwaffe.
Okwesittaza
41 # Mat 10,42. “Buli alibawa ekikopo ky'amazzi olw'erinnya nti muli ba Kristu, mazima ka mbabuulire, talibulwa mpeera ye. 42#Mat 18,6-9; Luk 17,1lud.Naye buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo olunene okusibibwa mu bulago bwe n'asuulibwa mu nnyanja. 43#Mat 5,30.Era obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko; waakiri oyingire mu bulamu ng'oli wa kikuggu, n'otosuulibwa mu Geyenna ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira.#9,43 envunyu yaabwe…: Mu kiwonvu Geyenna (Gikoni, Yinnomu) mwayokerwangamu ebitambiro bya Moleki; omuliro ogwokya ebitambiro nga teguzikira, n'envunyu eziva mu bivundu byonna ebisuulibwayo nga teziggwaamu.#9,43 Enny. 44 ne 46 zirekebwa bbali mu Bibuliya ezisinga okwesigika; zifaanagana n'oluny. 48. 45Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; waakiri oyingire mu bulamu obutaggwaawo ng'oli mulema n'otogenda mu Geyenna ng'olina ebigere byombi. 47#Mat 5,29.Era obanga eriiso lyo likwesittaza, linokolemu; waakiri oyingire mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Geyenna ng'olina amaaso gombi, 48#Yis 66,24.eyo envunyu yaabwe mw'etefiira, n'omuliro mwe gutazikira. 49Kubanga buli omu alungwamu omuliro.#9,49 Eby'omu nny. 49 ne 50 byanditegeeza: Ng'ebitambiro bwe birungibwa omunnyo ne byokebwa mu muliro bisanyuse Katonda, n'omuyigirizwa wa Yezu kitambiro, asaanye alungibwe mu ngeri esanyusa Katonda. Oba: Ekibonerezo omubi ky'alibeeramu mu muliro sso nga tafa kyenkana ng'ennyama ensiwe omunnyo etevunda. 50#Mat 5,13; Luk 14,34lud.Omunnyo guba mulungi, naye omunnyo bwe gusaabulukuka, munaagulunga naki? Mubeere n'omunnyo mu mmwe, n'emirembe mubeere nagyo mwekka na mwekka.”
Obufumbo si bwa kusumulula

Currently Selected:

Mar 9: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in