Mar 14
14
1 #
Okuv 12,1-27. Ennaku zaali #Mat 26,3-5; Luk 22,1lud.zisigadde bbiri zokka okutuuka ku Pasika ne ku mbaga enkulu ey'Emigaati Egitazimbulukuse; bakabona abakulu n'abawandiisi baali banoonya engeri y'okumukwata nga bamusoonookereza, bamutte. 2Naye ne bagamba nti: “Kyokka si ku mbaga enkulu, sikulwa nga wabaawo akeegugungo k'abantu.”
Asiigibwa omuzigo e Betaniya
3 #
Mat 26,6-13; Luk 7,36-50; Yow 12,1-8. Bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simoni omugenge, ng'atudde alya, omukazi n'ajja ng'alina n'akasumbi k'alabasiteri ak'omuzigo ogwa narudo omwereere, ogw'omuwendo; n'ayasa akasumbi k'alabasiteri, omuzigo n'agumufuka ku mutwe. 4Ne wabaawo abanyiiga ne bagambagana nti: “Omuzigo ogwo gufudde ki? 5Kubanga omuzigo guno gubadde guyinza okutundibwa ku muwendo gwa dinaari#14,5 Dinaari ye yali omusaala gw'omupakasi ogw'olunaku. ebikumi bisatu n'okusoba, ne zigabirwa abaavu.” Ne banyiigira omukazi. 6Yezu n'agamba nti: “Mumuleke, mumutawaanyiza ki? Ankoledde ekintu kirungi. 7Abaavu muli nabo bulijjo, muyinza okubakolera obulungi buli lwe mwagadde; sso nze temujja kubeeranga nange bulijjo. 8Ye akoze ky'ayinzizza; asiigiddewo omubiri gwange omuzigo olw'okunziika. 9Mazima mbagamba nti wonna Evangili eno gy'eribuulirwa mu nsi yonna, ky'akoze kiryogerwangako okumujjukira.”
Enkwe za Yuda
10 #
Mat 26,14-16; Luk 22,3-6. Awo Yuda Yisikariyoti, omu ku Kkumi n'Ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu, amuweeyo gye bali. 11Bo bwe baawulira, ne basanyuka, ne bamulazaanya okumuwa ensimbi. Ye n'anoonya akakisa amuweeyo.
Embaga eteekebwateekebwa
12 #
Okuv 12,14-20. Ku lunaku olusooka #Mat 26,17-19; Luk 22,7-13.olw'Emigaati Egitazimbulukuse, akaliga ka Pasika lwe kaatambirwa, abayigirizwa ne bamugamba nti: “Oyagala tugende tuteeketeeke wa gy'onooliira Pasika?” 13N'asindika babiri ku bayigirizwa be, n'abagamba nti: “Mugende mu kibuga, omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi anaabasisinkana; mumugoberere; 14wonna w'anaaba ayingidde, mugambe nnannyinimu nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: “Eddiiro liri wa mwe nnaaliira Pasika wamu n'abayigirizwa bange?” ’ 15Ajja kubalaga ekisenge ekya waggulu ekyaliiriddwa, ekiwedde okuteeekateeka; omwo mwe muba mututegekera.” 16Abayigirizwa be ne bagenda, ne batuuka mu kibuga; ne basanga nga bwe yali abagambye, ne bateekateeka Pasika.
Ekyeggulo ekisembayo
17 #
Yow 13,2.21-26. Obudde #Mat 26,20-29; Luk 22,14-23.bwe bwawungeera, n'atuuka n'Ekkumi n'Ababiri. 18#Zab 41,10.Bwe baali batudde nga balya, Yezu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti munnammwe omu, alya nange, ajja kumpaayo.” 19Bo ne basooka okunakuwala, n'okumubuuza kinnoomu nti: “Ye nze?” 20N'abagamba nti: “Omu ku Kkumi n'Ababiri, oyo akoza nange mu kibya. 21Weewaawo Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, kyokka zimusanze oyo anaawaayo Omwana w'Omuntu! Singa omuntu oyo teyazaalibwa, kyandibadde kirungi gy'ali.”
22 #
1 Kor 11,23lud. Bwe baali balya, Yezu n'akwata omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agubawa, ng'agamba nti: “Mukwate, kino mubiri gwange.” 23N'akwata ekikompe, ne yeebaza, n'akibawa, ne banywako bonna. 24#Okuv 24,8; Yer 31,31-34.N'abagamba nti: “Kino musaayi gwange ogw'endagaano,#14,24 Ez'edda zongerako: empya. oguyiibwa ku lw'abangi. 25Mazima ka mbabulire, siriddayo kunywa ate ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa obuggya mu bwakabaka bwa Katonda.”
Alanga Petero bw'ajja okumwegaana
26 #
Mat 26,30-35. Bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma, ne bagenda ku Lusozi olw'Oliva. 27#Zak 13,7.Yezu n'abagamba nti: “Mmwe mwenna ekiro kino mujja kwesittala, kubanga baawandiika nti: ‘Ndikuba omusumba, endiga ne zibuna emiwabo.’ 28#Mat 28,16.Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibeesooka mu Galilaaya.” 29Petero n'amugamba nti: “Abalala bonna ne bwe baneesittala, nze nedda.” 30Yezu n'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti mu kiro kino enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, onooba onneegaanyi emirundi esatu.” 31Naye ye n'ayogera ng'akaalaamuse nti: “Ne bwe nnaaba ndi wa kufa wamu naawe, sijja kukwegaana.” Na bonna ne boogera bwe batyo.
Yezu akabirirwa mu Getisemani
32 #
Mat 26,36-46; Luk 22,39-46. Ne bagenda mu kifo ekiyitibwa Getisemani; n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano, nze nga bwe neegayirira.” 33N'atoolako Petero, Yakobo ne Yowanna, n'agenda nabo. N'asooka okutya n'okukabirirwa. 34N'abagamba nti: “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi ezaagala n'okunzita; mubeere wano, mutunule.” 35Ne yeeyongerayo akabanga, n'agwa ku ttaka ne yeegayirira, oba kiyinzika, akadde ako kamuyiteko. 36N'agamba nti: “Abba, Taata, anti byonna ku ggwe bisoboka; ekikompe kino kimpiteko; naye si nze kye njagala, wabula ggwe ky'oyagala.” 37N'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Petero nti: “Simoni, weebase, toyinzizza kutunula yadde essaawa emu eti? 38Mutunule, mwegayirire, muleme kugwa mu kukemebwa; kubanga omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.” 39Era n'agenda, ne yeegayirira ng'ayogera ebigambo bye bimu. 40N'ajja era, n'abasanga nga beebase; kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga; ne batalaba kye bamuddamu. 41N'ajja ogwokusatu, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummuddeko? Kimala, akadde katuuse; Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi. 42Musituke, tugende; anampaayo wuuyo ali kumpi.”
Yezu akwatibwa
43 #
Mat 26,47-56; Luk 22,47-53; Yow 18,3-12. Amangu ago, yali akyayogera, Yuda Yisikariyoti, omu ku Kkumi n'Ababiri, n'atuuka n'ekibiina kinene eky'abakutte ebitala n'emiggo okuva mu bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde. 44Eyamuwaayo yali abawadde akabonero, ng'agambye nti: “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumukuuma.” 45Bwe yatuuka, amangu ago n'amusemberera, n'agamba nti: “Rabbi!” n'amunywegera. 46Awo bali ne bamussaako engalo, ne bamukwata. 47Omu ku baali bayimiridde awo, n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona omukulu, n'amusalako okutu. 48Yezu n'abagamba nti: “Muvuddeyo n'ebitala n'emiggo okunkwata ng'abajjirira omunyazi? 49#Luk 19,47; 21,37.Buli lunaku nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Kiggwa, naye temwankwata. Kale, ebiwandiiko ka bituukirizibwe.” 50Awo bonna ne bamwabulira, ne badduka. 51Waaliwo omulenzi eyali amugoberera nga ku mubiri gwe omwereere yeezingiriddeko ssuuka, ne bamukwata; 52naye ye n'abalekera essuuka, n'adduka bwereere.
Yezu awozesebwa Abayudaaya
53 #
Mat 26,68; Luk 22,54-55.66-71; Yow 18,13-24. Awo ne batwala Yezu ewa kabona omukulu; bakabona abakulu bonna, abawandiisi n'abakadde ne bakuŋŋaana. 54Petero n'amugoberera ng'ayima walako okutuukira ddala mu luggya lwa kabona omukulu, n'atuula n'abakuumi ng'ayota omuliro. 55Bakabona abakulu n'Olukiiko lwonna ne banoonya obujulizi obulumiriza Yezu kwe banaasinziira okumutta, naye ne batabuzuula. 56Bangi ne bamuleetako obujulizi obw'obulimba, naye obujulizi bwabwe nga tebukwanagana. 57Abalala ne bayimirira, ne bamulumiriza n'obujulizi obw'obulimba nga bagamba nti: 58#Yow 2,19.“Ffe twamuwulira ng'agamba nti: ‘Nnyinza okumenyawo Ekiggwa kino ekyakolebwa n'emikono, mu nnaku ssatu ne nzizaawo ekirala ekitakoleddwa na mikono.’ ” 59Naye ng'obujulizi bwabwe nabwo tebukwanagana.
60Awo kabona omukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yezu nti: “Tolina ky'oyanukula? Kiki kino abantu bano kye bakulumiriza?” 61Ye n'asirika busirisi, n'atabaako ky'addamu. Kabona omukulu n'amubuuza ogwokubiri nti: “Ggwe Kristu, Omwana w'Eyaweebwa Omukisa?” 62#Dan 7,13.N'amugamba nti: “Ye nze! Era muliraba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'Obuyinza era ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu.” 63Awo kabona omukulu n'ayuza ekkanzu ye n'agamba nti: “Tukyetaagira ki abajulizi? 64#Abal 24,16.Anti mwewuliridde ekivumo kye. Mmwe mukiraba mutya?” Bonna ne bamusalira omusango nti asaanidde kufa. 65Abamu ne basooka okumufujjira amalusu, ne bamubikka mu maaso, ne bamukuba, ne bagamba nti: “Lagula!” N'abaweereza ne bamukuba empi.
Petero yeegaana Omukama
66 #
Mat 26,69-75; Luk 22,56-62; Yow 18,17.25-27. Petero bwe yali wansi mu luggya, omuzaana wa kabona omukulu n'ajja; 67bwe yalaba Petero ng'ayota, n'amutunuulira, n'agamba nti: “Naawe wali ne Yezu ow'e Nazareti.” 68Ye ne yeegaana, n'agamba nti: “Simanyi, n'okutegeera sitegeera ky'ogamba.” N'afuluma, n'agenda mu luggya olw'omu maaso. Awo enkoko n'ekookolima. 69Naye omuzaana bwe yamulaba, n'addamu n'agamba abaali bayimiridde awo nti: “Ono, omu ku bo.” 70Ne yeegaana nate. Ate nga wayiseewo akabanga, abaali bayimiridde awo ne bagamba Petero nti: “Kya mazima oli omu ku bo, kubanga oli Mugalilaaya.” 71Naye ye n'asooka okuvumirira n'okulayira nti: “Omuntu oyo gwe mwogerako simumanyi.” 72#14,30.Amangu ago enkoko n'ekookolima ogwokubiri. Awo Petero n'ajjukira ekigambo Yezu kye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooba onneegaanye emirundi esatu.” N'atulika n'akaaba.
Yezu ewa Pilato
Currently Selected:
Mar 14: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.