YouVersion Logo
Search Icon

Mar 13

13
1 # Mat 24,1lud; Luk 21,5lud. Bwe yali afuluma mu Kiggwa, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Muyigiriza, laba amayinja amakula! Laba ebizimbe amakula!” 2Yezu n'ayanukula, n'amugamba nti: “Olaba ebizimbe bino gaggadde? Wano tewalisigala jjinja liri ku linnaalyo litalisuulibwa wansi.” 3#Mat 24,3-14; Luk 21,7-19.Bwe yali atudde ku Lusozi lw'Oliva, emitala w'Ekiggwa, Petero, Yakobo, Yowanna ne Andureya ne bamubuuza mu kyama nti: 4“Tubuulire, ebyo birituuka ddi, ate kabonero ki akalyoleka ng'ebyo byonna binaatera okutuukirizibwa?”
Amatandika g'ebibonoobono
5Yezu n'asooka okubagamba nti: “Mwekkaanye, tewabaawo abawubisa; 6Bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze nzuuyo!’ era baliwubisa bangi. 7Kale bwe muwuliranga entalo n'eŋŋambo z'entalo, temwekanganga. Ebyo tebirirema kubaawo; naye yo enkomerero eriba tennatuuka. 8Kubanga eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo; walibaawo musisi mu bifo ebimu, n'enjala erigwa; naye ebyo byonna kwe kusookereza kw'okulumwa. 9#Mat 10,17-20; Luk 12,11-12.Awo nno mwerinde, kubanga balibawaayo mu nkiiko, balibakubira mu sinaagooga; mulisimbibwa mu maaso g'abalamuzi n'aga bakabaka okubeera nze mujulire mu maaso gaabwe. 10Anti Evangili eteekwa okusooka okubuulirwa amawanga gonna. 11Ate bwe babatwalanga ne babawaayo, temweraliikiriranga kye munaagamba. Mwogere kye munaaweebwanga mu kaseera ako, kubanga si mmwe munaabanga mwogera, wabula Mwoyo Mutuukirivu. 12Ow'oluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana, omwana we; abaana balisitukira mu babazaala ne babawaayo battibwe. 13#Mat 10,22.Mulikyayibwa bonna olw'okubeera erinnya lyange. Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero, alirokoka.
Okuzikirizibwa kwa Yeruzaalemu
14 # Dan 9,27; 11,31; 12,11. “Era bwe #Mat 24,15-28; Luk 21,20-24; 17,23.muliraba ekyenyinyalwa ekizikiriza nga kiri we kitasaanidde kubeera, asoma bino ategeere, olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi, 15#Luk 17,31.aliba ku kasolya waggulu takkanga kuyingira mu nnyumba ye kuggyamu kantu; 16n'alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala munagiro gwe. 17Zibasanze abo abaliba embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! 18Kyokka mwegayirire ebyo bireme kubaawo mu budde bwa butiti. 19#Dan 12,1; Okub 7,14.Kubanga mu nnaku ezo mulibaamu ebibonoobono bingi, ebitabangawo okuva mu masooka g'okutondebwa Katonda lwe yatonda n'okutuusa kati, era tebiribaawo nate. 20Era singa Omukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonye muntu n'omu; naye olw'okubeera abalondemu abo be yeeroboza, ennaku ezo yazikendezaako.
21“Awo nno bwe wabangawo abagamba nti: ‘Laba, Kristu wuuno wano,’ oba nti: ‘Laba, wuuli wali!’ temukkirizanga. 22Kubanga Bakristu ab'obulimba n'abalanzi ab'obulimba bagenda kusituka; balikola obubonero n'ebyewuunyisa okuwubisa newandibadde abalondemu, singa kiyinzika. 23Mmwe nno mwerinde; byonna mbibabuuliriddewo.
Amatuuka g'Omwana w'Omuntu
24 # Yis 13,10; Ez 32,7; Yowel 2,10.31; Okub 6,2.12. “Mu nnaku ezo, #Mat 24,29-31; Luk 21,25-28.ebibonoobono bwe biriba byakaggwa, enjuba eriddugala, omwezi gulirekayo okwaka, 25emmunyeenye ez'omu ggulu zirigwa okuva ku ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa. 26#Dan 7,13; Okub 1,7.Awo baliraba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi mangi n'ekitiibwa. 27Alituma bamalayika be ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva mu njuyi ennya, okuva ensi gy'ekoma okutuuka eggulu gye likoma.
28 # Mat 24,32-36; Luk 21,29-33. “Mulabire ku mukunyu: ettabi lyagwo bwe lidda obuto, ne lissaako amakoola, mutegeera ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka. 29Nammwe nno bwe mulabanga ebyo byonna bibaawo, mumanyanga nti ali kumpi, ku miryango kwennyini. 30Mazima mbagamba nti ezzadde lino teririggwaawo ebyo byonna nga tebinnatuukirira. 31Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Okutunula n'okwegayirira
32 # Mat 24,36. “Kyokka olunaku lwennyini oba akadde tewali abimanyi, newandibadde bamalayika mu ggulu, yadde Mwana, wabula Taata yekka. 33#Mat 24,32-36; Luk 21,29-33.Mubeere bulindaala, mutunule, kubanga temumanyi kaseera. 34#Luk 12,36-38.Kiri ng'omuntu eyali agenda olugendo, bwe yali ava awaka, obuvunaanyizibwa n'abukwasa abaweereza be, buli omu omulimu gwe, n'omuggazi n'amulagira okutunula. 35Mutunule nno, kubanga temumanyi nnannyinimu w'alituukira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba mu nkoko, oba ku makya; 36bw'alibagwako, aleme kusanga nga mwebase. 37Kye ŋŋamba mmwe, nkigamba bonna: Mutunule.”
V. OKUBONAABONA N'OKUZUUKIRA
A. YEZU AKWATIBWA N'ATTIBWA
Olukwe lw'okutta Yezu

Currently Selected:

Mar 13: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in