YouVersion Logo
Search Icon

Mar 12

12
1 # Yis 5,1-2. Awo n'atandika#Mat 21,33-46; Luk 20,9-19. okwogera nabo mu ngero nti: “Omuntu omu yasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agisibako olukomera, n'asimamu ekinnya ky'essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agikwasa abalimi, n'agenda ku ggwanga. 2Obudde bwe bwatuuka, n'atumira abakozi omuweereza anone ku bakozi ebibala by'ennimiro ye ey'emizabbibu. 3Bo ne bamukwata, ne bamukuba, ne bamugoba ngalo nsa. 4N'abatumira ate omuweereza omulala; n'oyo ne bamukuba olubale, ne bamuvumaavuma. 5Era n'atuma omulala; ne bamutta; n'abalala bangi, abamu ne babaweweenyula, abandi ne babattira ddala. 6Naye nno yalinayo omulala, mutabani we omu omwagalwa, n'amubatumira ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamutya.’ 7Naye abakozi ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika; mugire tumutte, obusika butuddire.’ 8Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu. 9Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu alikola ki? Alijja n'azikiriza abalimi abo n'ennimiro ye ey'emizabbibu n'agiwa abalala. 10#Zab 118,22-23.Ekyawandiikibwa kino temukisomanga nti:
“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lyafuuka lukulwe mu nsonda;
11ekyo Omukama ye yakikola;
kya kyewuunyo mu maaso gaffe’?”
12Baali banoonya okumukwata, naye ne batya ekibiina; kubanga baategeera ng'olugero aluyisizza ku bo bennyini; ne bamuleka, ne bagenda.
Omusolo gwa Kayisari
13 # Mat 22,15-22; Luk 20,20-26. Ne bamutumira abamu ku Bafarisaayo n'abamu ku b'ekibiina kya Erode, bamukwate mu bigambo. 14Ne bajja, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, nga teweeguya muntu; obukulu bw'omuntu si bw'otunuulira, wabula ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda. Kale nno, kisaanye okuwa Kayisari omusolo, nandiki tekisaanye? 15Tuwe oba tetuwa?” N'ategeera enkwe zaabwe, n'abagamba nti: “Munkemera ki? Mundeetere dinaari ndabe.” 16Ne bagireeta. N'abagamba nti: “Ekifaananyi kino n'ekiwandiiko ebiriko by'ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisari.” 17Yezu n'abagamba nti: “Ebya Kayisari mubiddize Kayisari; n'ebya Katonda mubiddize Katonda.” Ne bamwewuunya.
Yezu alimbulula Abasaddukaayo
18 # Ebik 23,8. Abasaddukaayo, #Mat 22,23-33; Luk 20,27-38.abo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti: 19#Et 25,5.“Muyigiriza, Musa yaleka atuwandiikidde nti singa muganda w'omuntu afanga n'aleka omukazi, naye n'ataleka baana, muganda we awasanga omukazi oyo n'asibusiza muganda we ezzadde. 20Waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa omukazi, n'afa nga talese mwana. 21N'owookubiri n'amuwasa, era naye n'afa nga talese mwana. N'owookusatu bw'atyo. 22Bonna omusanvu ne bataleka baana. N'oluvannyuma lwa bonna omukazi n'afa. 23Kale mu mazuukira, aliba muka ani? Anti bonna omusanvu baamuwasaako.” 24Awo Yezu n'abaanukula nti: “Si kyemuva musobya olw'obutamanya Biwandiiko yadde obuyinza bwa Katonda? 25Kubanga bwe balimala okuzuukira mu bafu, tebagenda kuwasa yadde okufumbirwa, wabula baliba nga bamalayika mu ggulu. 26#Okuv 3,6.Okumanya ng'abafu balizuukizibwa, temusomangako mu kitabo kya Musa, we boogerera ku kisaka, Katonda nga bwe yamugamba nti: ‘Nze Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, ne Katonda wa Yakobo’? 27Katonda taba wa bafu, wabula wa balamu. Musobya nnyo.”
Ekiragiro ekisinga obukulu
28 # Luk 10,25-28. Awo omu ku bawandiisi eyali awulidde bwe bawakana, bwe yalaba abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti: “Kiragiro ki ekisooka mu byonna?” 29#Et 6,4-5.Yezu n'amuddamu nti: “Ekiragiro ekisooka kye kino: ‘Wulira Yisirayeli, Omukama Katonda waffe yekka ye Mukama. 30Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.’ 31#Abal 19,18.Ate ekyokubiri kye kino: ‘Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.’ Teri kiragiro kirala kikira ebyo.” 32#Et 4,35.Omuwandiisi n'amugamba nti: “Ky'ekyo, Muyigiriza; oyogedde mazima, nti ali omu, teri mulala okuggyako ye; 33#Oz 6,6.ate nti okumwagala n'omutima gwonna, n'amagezi gonna, n'amaanyi gonna, era nti n'oli okwagala munne nga bwe yeeyagala yennyini, kye kisinga ebitambiro byonna ebyokye n'ebyonziira.” 34Yezu bwe yalaba ng'azzeemu na magezi, n'amugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tobuli wala.” Era tewali n'omu yageza nate kumubuuza kibuuzo kirala.
Kristu mwana sso ate Mukama wa Dawudi
35 # Mat 22,41-45; Luk 20,41-44. Bwe yali ayigiriza mu Kiggwa, Yezu n'agamba nti: “Abawandiisi basobola batya okugamba nti: Kristu mwana wa Dawudi? 36#Zab 110,1.Kubanga Dawudi yennyini, ku bwa Mwoyo Mutuukirivu agamba nti:
“ ‘Omukama yagamba Mukama wange,
nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa abalabe bo lwe ndibassa wansi w'ebigere byo.” ’
37 # Mat 23,1.5-7.14; Luk 20,45-47; 11,43. Dawudi yennyini amuyita Mukama, ate abeera atya omwana we?” Ekibiina ekinene ne kimuwulira n'essanyu.
Ky'agamba ku bawandiisi
38Era mu njigiriza ye n'abagamba nti: “Mwekengere abawandiisi, abaagala okukumbira mu matanvuuwa, n'okulamusibwa mu mbuga, 39n'entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga, n'ebifo ebisinga ekitiibwa ku bijjulo; 40abakaliza ennyumba za bannamwandu, ne beefukuutiriza essaala empanvu. Balifuna ekibonerezo ekisingako obukambwe.”
Obusimbi bwa nnamwandu
41 # Luk 21,1-4. Yezu yali atudde mu maaso g'eggwanika ng'atunuulide ekibiina bwe kisuula ensimbi mu ggwanika; abagagga bangi nga basuulamu nnyingi. 42Ne wajjawo nnamwandu omwavu, n'asuulamu obusente bubiri obuweza ekyokuna ky'ennusu. 43Awo n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu asuddemu kingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika, 44kubanga bonna basuddemu nga baggya ku bibafikkiridde, sso ng'ono mu bwavu bwe ataddemu kyonna ky'abadde nakyo, kyonna ekibadde eky'okumuliisa.”
B. OKUYIGIRIZA KU BYOLUVANNYUMA
Alanga okuzikirizibwa kwa Yeruzaalemu

Currently Selected:

Mar 12: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in