Yezu n'amuddamu nti: “Ekiragiro ekisooka kye kino: ‘Wulira Yisirayeli, Omukama Katonda waffe yekka ye Mukama. Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.’ Ate ekyokubiri kye kino: ‘Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.’ Teri kiragiro kirala kikira ebyo.”