1
Mar 13:13
BIBULIYA ENTUKUVU
Mulikyayibwa bonna olw'okubeera erinnya lyange. Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero, alirokoka.
Compare
Explore Mar 13:13
2
Mar 13:33
Mubeere bulindaala, mutunule, kubanga temumanyi kaseera.
Explore Mar 13:33
3
Mar 13:11
Ate bwe babatwalanga ne babawaayo, temweraliikiriranga kye munaagamba. Mwogere kye munaaweebwanga mu kaseera ako, kubanga si mmwe munaabanga mwogera, wabula Mwoyo Mutuukirivu.
Explore Mar 13:11
4
Mar 13:31
Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Explore Mar 13:31
5
Mar 13:32
“Kyokka olunaku lwennyini oba akadde tewali abimanyi, newandibadde bamalayika mu ggulu, yadde Mwana, wabula Taata yekka.
Explore Mar 13:32
6
Mar 13:7
Kale bwe muwuliranga entalo n'eŋŋambo z'entalo, temwekanganga. Ebyo tebirirema kubaawo; naye yo enkomerero eriba tennatuuka.
Explore Mar 13:7
7
Mar 13:35-37
Mutunule nno, kubanga temumanyi nnannyinimu w'alituukira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba mu nkoko, oba ku makya; bw'alibagwako, aleme kusanga nga mwebase. Kye ŋŋamba mmwe, nkigamba bonna: Mutunule.”
Explore Mar 13:35-37
8
Mar 13:8
Kubanga eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo; walibaawo musisi mu bifo ebimu, n'enjala erigwa; naye ebyo byonna kwe kusookereza kw'okulumwa.
Explore Mar 13:8
9
Mar 13:10
Anti Evangili eteekwa okusooka okubuulirwa amawanga gonna.
Explore Mar 13:10
10
Mar 13:6
Bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze nzuuyo!’ era baliwubisa bangi.
Explore Mar 13:6
11
Mar 13:9
Awo nno mwerinde, kubanga balibawaayo mu nkiiko, balibakubira mu sinaagooga; mulisimbibwa mu maaso g'abalamuzi n'aga bakabaka okubeera nze mujulire mu maaso gaabwe.
Explore Mar 13:9
12
Mar 13:22
Kubanga Bakristu ab'obulimba n'abalanzi ab'obulimba bagenda kusituka; balikola obubonero n'ebyewuunyisa okuwubisa newandibadde abalondemu, singa kiyinzika.
Explore Mar 13:22
13
Mar 13:24-25
“Mu nnaku ezo, ebibonoobono bwe biriba byakaggwa, enjuba eriddugala, omwezi gulirekayo okwaka, emmunyeenye ez'omu ggulu zirigwa okuva ku ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa.
Explore Mar 13:24-25
Home
Bible
Plans
Videos