YouVersion Logo
Search Icon

Mar 11

11
1 # Mat 21,1-10; Luk 19,28-38; Yow 2,11-19. Bwe baasemberera Yeruzaalemu, nga batuuse e Betifage ne Betaniya, kumpi n'Olusozi lw'Oliva, n'atuma babiri ku bayigirizwa be, 2n'abagamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso; mangu awo nga mwakayingira, mujja kusanga akalogoyi akasibiddwa, akateebagalwangako muntu n'omu, mukayimbule mukaleete. 3Bwe wabaawo abagamba nti: ‘Mukola ki?’ mugamba nti: ‘Omukama akeetaaga; ajja kukasindika wano mangu.’ ” 4Awo ne bagenda, ne basanga akalogoyi nga kasibiddwa ebweru ku mulyango mu masaŋŋanzira, ne bakasumulula. 5Abamu ku baali bayimiridde awo ne babagamba nti: “Mukola ki, abasumulula akalogoyi?” 6Bo ne babagamba nga Yezu bwe yali abagambye; bali ne babaleka. 7Ne batwalira Yezu akalogoyi, ne bakasuulako ebyambalo byabwe; n'akeebagala. 8Awo bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo, n'abalala amatabi okuli amakoola ge baali bamenye ku ttale. 9#Zab 118,26-29.Abaali bakulembeddemu n'abaali bagoberera ne bakuba emizira nga bagamba nti:
“Hosanna!
Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama!
10Obwakabaka bwa kitaffe Dawudi obujja bugulumizibwe omukisa.
Hosanna waggulu ddala eyo!”
11Bwe yayingira mu Yeruzaalemu, n'agenda mu Kiggwa; bwe yamala byonna okubyebunguluza amaaso; obudde nga bwe bwali buwungedde, n'afuluma n'agenda e Betaniya wamu n'Ekkumi n'Ababiri.
Omukunyu ogwakala
12 # Yis 56,7; Yer 7,11. Ku lunaku olwaddako, bwe baali bava e Betaniya, enjala n'emuluma. 13Bwe yalengera omukunyu ewalako, ogwaliko amakoola, n'alaga gye guli ng'asuubira okusangako akantu; naye bwe yagutuukako, n'atasangako kantu wabula amakoola gokka, kubanga tebwali budde bwa mikunyu. 14N'agugamba nti: “Tewabanga akulyako kibala emirembe gyonna!” Abayigirizwa be ne bakiwulira.
Agoba abatundira mu Kiggwa
15 # Mat 21,12lud; Luk 19,45-48; Yow 2,13-16. Ne batuuka e Yeruzaalemu. Bwe yayingira mu Kiggwa, n'atandika okugobamu abatunda n'abagulira mu Kiggwa; n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi n'entebe z'abatunda enjiibwa. 16N'ataganya muntu kuyisa mu Kiggwa kantu na kamu. 17#Yis 56,7; Yer 7,11.N'abayigiriza ng'abagamba nti: “Tekyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kwegayiririramu eri amawanga gonna?’ Sso mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.” 18Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baawulira, ne banoonya amagezi ag'okumuzikiriza, kubanga baali bamutya, kubanga ekibiina kyonna kyali kiwuniikirira olw'enjigiriza ye. 19Ate bwe bwawungeera, n'ava mu kibuga.
Ekiyigirwa ku mukunyu ogwakala
20 # Mat 21,20-22. Bwe baali bayitawo enkeera, ne balaba omukunyu nga gukaze okutuuka ku mirandira. 21Petero n'ajjukira, n'amugamba nti: “Rabbi, omukunyu gwe wavumiridde guugwo gukaze.” 22Yezu n'abaanukula nti: “Mube n'okukkiriza mu Katonda. 23#Mat 1,20; 1 Kor 13,2.Mazima mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka, weesuule mu nnyanja,’ nga tabuusabuusa mu mutima gwe, wabula ng'akkiriza nga kyonna ky'anaagamba kinaatuukirira, kirimukolerwa. 24Kyenva mbagamba nti byonna bye munaasabanga nga mwegayirira, mukkirizenga nga mujja kubifuna; era mulibifuna. 25#Mat 6,14-15.Bwe muyimiriranga okwegayirira, oba waliwo gwe mulinako ekigambo, mumusonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ensobi zammwe.”#11,25 Ez'edda zongerako: 26 Bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu tagenda kubasonyiwa nsobi zammwe.
Yezu asirisa abamuwakanya
27 # Mat 21,23-27; Luk 20,1-8. Ne batuuka ate mu Yeruzaalemu. Bwe yali atambula mu Kiggwa, bakabona abakulu, abawandiisi n'abakadde ne basembera w'ali, 28ne bamugamba nti: “Ebyo obikozesa buyinza ki? Ani yakuwa obuyinza obw'okukola ebyo by'okola?” 29Yezu n'abagamba nti: “Nzija kubabuuzaayo ekigambo kimu; munziremu, nange ndyoke mbabuulire obuyinza obunkoza ebyo. 30Kale, batismu ya Yowanna yava mu ggulu, nandiki mu bantu?” 31Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti: “Bwe tugamba nti: ‘Yava mu ggulu,’ ajja kubuuza nti: ‘Awo nno lwaki temwamukkiriza?’ 32Tugambe nti: ‘Yava mu bantu?’ ” Naye nno baali batya abantu, kubanga bonna baali bakkiriza nga Yowanna yali mulanzi ddala. 33Kwe kuddamu Yezu nti: “Tetumanyi.” Ne Yezu n'abagamba nti: “Nange siibabuulire buyinza bunkoza ebyo.”
Olugero lw'abakozi mu nnimiro y'emizabbibu

Currently Selected:

Mar 11: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in