YouVersion Logo
Search Icon

Mar 15

15
1 # Mat 27,1-2.11-26; Luk 22,66; 23,1-4.17-25; Yow 18,29-19,1. Amangu ago obudde nga bwakakya, bakabona abakulu, abakadde, abawandiisi n'olukiiko lwonna ne bateesa, ne basiba Yezu, ne bamutwala, ne bamukwasa Pilato. 2Awo Pilato n'amubuuza nti: “Ggwe kabaka w'Abayudaaya?” N'addamu nti: “Oyogedde.” 3Awo bakabona abakulu ne bamuwawaabira ebintu bingi. 4Pilato n'amubuuza ogwokubiri nti: “Toliiko ky'oddamu? Laba bye bakulumiriza nga bwe biri ebingi!” 5Naye Yezu era teyamwanukula kigambo; Pilato ne yeewuunya.
6Naye ku mbaga enkulu yabateeranga omu ku basibe gwe baasabanga. 7Waaliwo omu eyali ayitibwa Barabba, ng'asibiddwa mu kkomera wamu n'abajeemu abaali batemudde abantu mu kasambattuko. 8Ekibiina bwe kyamala okwambuka, ne basaba abakolere nga bw'abakolera bulijjo. 9Awo Pilato n'addamu n'abagamba nti: “Kale, mwagala mbateere kabaka w'Abayudaaya?” 10Kubanga yali amanyi nga bakabona abakulu baali bamuleesezza buggya. 11Naye bakabona abakulu ne bavujjuula ekibiina waakiri abateere Barabba.
12Pilato n'addamu okubagamba nti: “Kale, ono gwe muyita kabaka w'Abayudaaya mmukole ntya?” 13Bo ne bayoogaana buggya nti: “Mukomerere ku musaalaba.” 14Pilato n'agamba nti: “Ddala yakola kibi ki?” Bo ne beeyongera okukaalaama nti: “Mukomerere ku musaalaba.” 15Awo Pilato olw'okwagala okusanyusa ekibiina, n'abateera Barabba. Yezu n'amukuba enkoba, n'amuwaayo akomererwe ku musaalaba.
Abaserikale bajolonga Yezu
16 # Mat 27,27-31a; Yow 19,2lud. Awo abaserikale ne bamutwala mu lubiri munda, ye Purayitoriyo, ne bakuŋŋaanyizaayo ekibinja ky'abaserikale kyonna, 17ne bamwambaza omunagiro ogwa kakobe, ne bazinga omuge ogw'amaggwa, ne bagumussaako; 18ne batandika okumulamusa nti: “Mirembe, kabaka w'Abayudaaya.” 19Ne bamukuba mu mutwe n'olumuli, ne bamufujjira amalusu, ne bamufukaamirira ne bamusinza. 20Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu omunagiro ogwa kakobe, ne bamwambaza engoye ze, ne bamufulumya bamutwale okumukomerera ku musaalaba.
Yezu akomererwa ku musaalaba
21 # Rom 16,13. Ne bawaliriza #Mat 27,31b-44; Luk 23,26-38; Yow 19,16b-27.omusajja omuyise, Simoni ow'e Kureni, eyali ava mu kyalo, ye kitaawe wa Alekisanduro ne Rufo, ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwe. 22Ne bamuleeta mu kifo ekiyitibwa Golugota, ekitegeeza 'ekifo ky'akawanga'. 23Ne bamuwa evviini okunywa ng'etabuddwamu mirra; naye n'atanywa. 24#Zab 22,18.Ne bamukomerera ku musaalaba, ne bagabanyaamu ebyambalo bye nga babikubako akalulu balabe buli omu ky'anaatwala. 25Essaawa yali ya kusatu we baamukomererera ku musaalaba; 26n'ekiwandiiko ky'omusango gwe ne kiwandiikibwa nti: KABAKA W'ABAYUDAAYA. 27Ne bamukomerera n'abanyazi babiri omu ku ddyo, omulala ku kkono.#15,27 Ez'edda zongerako: 28 Ekiwandiiko ekitukuvu ne kituukirira, ekigamba nti: “N'abalirwa mu babi.” Laba ne Yis 53,12; Luk 22,37.
Ku musaalaba; bamujolonga
29 # Zab 22,7; 109,25; Mar 14,58; Yow 2,19. Abayise ne bamusekerera, ne bamunyeenyeza omutwe nga bagamba nti: “Ha, ggwe amenya Ekiggwa kya Katonda n'okizimba mu nnaku ssatu? 30Weewonye! kka ove ku musaalaba.” 31Ne bakabona abakulu n'abawandiisi nabo ne bamuduulira nga bagamba nti: “Yawonyanga balala; ye tayinza kwewonya. 32Kristu Kabaka wa Yisirayeli, akke ave ku musaalaba tulyoke tumukkirize.” N'abanyazi abaali bakomereddwa naye, ne bamuvuma.
Yezu afiira ku musaalaba
33 # Mat 27,45-56; Luk 23,44-49; Yow 19,28-30. Essaawa bwe zaawera mukaaga, enzikiza n'ebikka ensi yonna okutuusa ku ssaawa eyoomwenda. 34Ku ssaawa eyoomwenda, Yezu n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Eloyi, Eloyi, lama sabakitani?” ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” 35Abamu ku baali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Wulira ayita Eliya.” 36#Zab 69,21.Awo omu n'adduka, n'annyika ekyangwe mu nkaatu, n'akitunga ku lumuli, n'amuwa anywe, nga bw'agamba nti: “Muleke, ka tulabe oba Eliya anajja okumuwanulayo.” 37Naye Yezu n'akoowoola n'eddoboozi ddene, n'assa omukka omuvannyuma.
Ebyaddirira okufa
38 # Okuv 26,31-33. Awo olutimbe lw'omu Kiggwa ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. 39Senturiyo eyali ayimiridde awo mu maaso bwe yalaba bw'akoowodde atyo ng'assa omukka omuvannyuma, n'agamba nti: “Omuntu ono mazima abadde Mwana wa Katonda!”
40 # Luk 8,2-3. Era waaliwo n'abakazi abaali balengera nga bayima walako; mu bo mwalimu Mariya ow'e Magudalena ne Mariya nnyina Yakobo omuto ne Yoze, ne Salome, 41abaayitanga naye ng'akyali mu Galilaaya, nga bamuweereza. Waaliwo n'abakazi abalala bangi abaali bambuse naye e Yeruzaalemu.
Amaziika
42 # Mat 27,57-61; Luk 23,50-56; Yow 19,38-42. Bwe bwawungeera, ate olunaku olwo nga lwe lw'Okuteekateeka, kwe kugamba, olunaku olukulembera Sabbaato, 43ne wajjawo Yozefu ow'e Arimateya, omukiise mu Lukiiko assibwamu ekitiibwa, era naye yali alindirira obwakabaka bwa Katonda, n'aguma, n'agenda eri Pilato, n'asaba omubiri gwa Yezu. 44Pilato ne yeewuunya okulaba nga yafudde dda; n'ayita Senturiyo n'amubuuza obanga yafudde dda. 45Senturiyo bwe yamala okukakasa, omulambo n'aguwa Yozefu. 46Yozefu n'agula essuuka, n'amuwanulayo, n'amuzinga mu ssuuka, n'amuteeka mu ntaana eyali ensime mu lwazi, n'ayiringisiza ejjinja ku mulyango gw'entaana. 47Mariya Magudalena ne Mariya owa Yoze baalaba we yali ateekeddwa.
B. OKUZUUKIRA
Entaana enkalu

Currently Selected:

Mar 15: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in