Luk 3
3
1Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obufuzi bwa Tiberiyo Kayisari, Ponsiyo Pilato nga ye wessaza ly'e Buyudaaya, Erode nga ye mufuzi atwala ekitundu ky'e Galilaaya, Filippo muganda we nga ye mufuzi atwala ekitundu ky'e Yitureya ne Turakoniti, Lisaniya nga ye mufuzi atwala ekitundu ky'e Abilene, 2Anna ne Kayafa we baabeerera bakabona abakulu, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Yowanna mutabani wa Zakariya mu ddungu. 3#Mat 3,1-6; Mar 1,2-6.N'ayitanga mu nsi yonna ekoota Yorudani ng'ayigiriza batismu ey'okubonerera olw'okusonyiyibwa ebibi, 4#Yis 40,3-5.nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'ebigambo bya Yisaaya omulanzi nti:
“Eddoboozi ery'oyo aleekaana mu ddungu nti:
‘Mutegeke ekkubo ly'Omukama,
muluŋŋamye obukubo bwe.
5Buli kawonvu kajjuzibwe,
buli lusozi na kasozi biseeteezebwe;
amakubo ageenyooleza galuŋŋamizibwe,
6n'agalimu ebisirikko gatandaazibwe;
olwo buli muntu aliraba obulokozi bwa Katonda.’ ”
7 #
Mat 12,34; 23,3. N'agamba #Mat 3,7-10.ebibiina by'abantu abajjanga gy'ali okubatizibwa nti: “Mmwe abaana b'amasalambwa, ani abalabudde okudduka obusungu obugenda okujja? 8#Yow 8,33.Kale nno mulage ebibala ebiva mu kubonerera kwammwe; temutandika kwegamba nti: ‘Tulina kitaffe Yiburayimu,’ kubanga, ka mbabuulire, mu mayinja gano gennyini Katonda ayinza okuggyiramu Yiburayimu abaana. 9#Mat 7,19.Na kati embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti. Buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa gusuulibwe mu muliro.”
10Ebibiina ne bimubuuza nti: “Awo ffe tukole ki?” 11Okubaddamu n'abagamba nti: “Alina ekkanzu ebbiri aweeko atalina; alina emmere naye akole bw'atyo.” 12#7,29.Abasolooza b'omusolo nabo ne bajja okubatizibwa; ne bamugamba nti: “Muyigiriza ffe tukole ki?” 13N'abagamba nti: “Temusukkirizanga ku ebyo ebyabalagirwa.” 14N'abaserikale nabo ne bamubuuza, ne bagamba nti: “Naffe tukole ki?” Ye n'abagamba nti: “Temulyazaamaanya muntu n'omu era temuwaayiriza; mubeere bamativu n'empeera yammwe.” 15#Mat 3,11lud; Mar 1,7lud.Eggwanga lyali lirindirira na bonna nga beebuuza muli munda ku Yowanna nti: “Teyandiba Kristu?” 16Yowanna n'ayanukula bonna n'abagamba nti: “Weewaawo nze mbatiza na mazzi, naye wajja kujjayo ansinga amaanyi; gwe sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze; oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutuukirivu n'omuliro. 17Olugali lwe lumuli mu ngalo okulongoosa egguuliro lye, eŋŋano ye agikuŋŋaanyize mu byagi bye, ebisusunku ajja kubyokya n'omuliro ogutayinza kuzikira.” 18N'abuuliranga bw'atyo abantu amawulire amalungi n'abakubiriza n'ebirala bingi.
19 #
Mat 14,3-4; Mar 6,17-18. Naye Erode omufuzi atwala ekitundu, oluvannyuma lw'okugambwako Yowanna olwa Erodiya muka muganda we, n'olw'ebibi byonna Erode bye yali akoze, 20ku ebyo byonna yayongerako na kino, yaggalira Yowanna mu kkomera.
Yezu abatizibwa
21 #
Mat 3,13-17; Mar 1,9-11. Awo abantu bonna bwe baamala okubatizibwa, Yezu naye ng'abatiziddwa, nga yeegayirira, eggulu ne libikkuka, 22#Amas 22,2; Zab 2,7; Yis 43,1; Mat 3,17; Mar 1,11; Luk 9,35.Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku ye mu kifaananyi ekirabika, ng'ali ng'enjiibwa. Eddoboozi ne liva mu ggulu nti: “Ggwe mwana wange omwagalwa, nkwesiimiramu.”
Olulyo lwa Yezu
23Yezu bwe yatandika okuyigiriza yali nga wa myaka asatu egy'obukulu, nga mutabani wa Yozefu (nga bwe baalowoozanga), mutabani wa Eli, 24mutabani wa Mattati, mutabani wa Leevi, mutabani wa Meluki, mutabani wa Yannayi, mutabani wa Yozefu, 25mutabani wa Mattatiya, mutabani wa Amosi, mutabani wa Nakumu, mutabani wa Esuli, mutabani wa Naggayi, 26mutabani wa Maati, mutabani wa Mattatiya, mutabani wa Semeyini, mutabani wa Yoseki, mutabani wa Yoda, 27mutabani wa Yokanani, mutabani wa Resa, mutabani wa Zerubabbeli, mutabani wa Seyalutyeli, mutabani wa Neri, 28mutabani wa Meluki, mutabani wa Addi, mutabani wa Kosamu, mutabani wa Elumadamu, mutabani wa Eri, 29mutabani wa Yoswa, mutabani wa Eliyezeri, mutabani wa Yorimu, mutabani wa Mattati, mutabani wa Leevi, 30mutabani wa Simewoni, mutabani wa Yuda, mutabani wa Yozefu, mutabani wa Yonamu, mutabani wa Eliyakimu, 31mutabani wa Meleya, mutabani wa Menna, mutabani wa Mattata, mutabani wa Natani, mutabani wa Dawudi, 32mutabani wa Yesse, mutabani wa Obedi, mutabani wa Bowazi, mutabani wa Sala, mutabani wa Nakusoni, 33mutabani wa Amminadabu, mutabani wa Adumini, mutabani wa Aruni, mutabani wa Kezuroni, mutabani wa Perezi, mutabani wa Yuda, 34mutabani wa Yakobo, mutabani wa Yizaake, mutabani wa Yiburayimu, mutabani wa Tera, mutabani wa Nakori, 35mutabani wa Serugi, mutabani wa Ragawu, mutabani wa Pelegi, mutabani wa Eberi, mutabani wa Sala, 36mutabani wa Kayinamu, mutabani wa Arupakusadi, mutabani wa Semu, mutabani wa Nowa, mutabani wa Lameki, 37mutabani wa Metusela, mutabani wa Enoki, mutabani wa Yaredi, mutabani wa Maalaleeli, mutabani wa Kayinamu, 38mutabani wa Enosi, mutabani wa Seti, mutabani wa Adamu, mutabani wa Katonda.
Yezu asiiba n'akemebwa mu ddungu
Currently Selected:
Luk 3: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.