Awo abantu bonna bwe baamala okubatizibwa, Yezu naye ng'abatiziddwa, nga yeegayirira, eggulu ne libikkuka, Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku ye mu kifaananyi ekirabika, ng'ali ng'enjiibwa. Eddoboozi ne liva mu ggulu nti: “Ggwe mwana wange omwagalwa, nkwesiimiramu.”