YouVersion Logo
Search Icon

Luk 3:4-6

Luk 3:4-6 BIBU1

nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'ebigambo bya Yisaaya omulanzi nti: “Eddoboozi ery'oyo aleekaana mu ddungu nti: ‘Mutegeke ekkubo ly'Omukama, muluŋŋamye obukubo bwe. Buli kawonvu kajjuzibwe, buli lusozi na kasozi biseeteezebwe; amakubo ageenyooleza galuŋŋamizibwe, n'agalimu ebisirikko gatandaazibwe; olwo buli muntu aliraba obulokozi bwa Katonda.’ ”