YouVersion Logo
Search Icon

Luk 2

2
1Awo mu nnaku ezo ekiragiro ne kiva ewa Kayisari Agusto, okuwandiisa abantu ab'ensi yonna. 2Kuno kwe kwali okuwandiisa okubereberye, Kwiriniyo bwe yali nga ye wessaza lya Siriya. 3Bonna ne bagenda okwewandiisa buli muntu mu kibuga kyaboobwe. 4Ne Yozefu n'ava e Galilaaya, mu kibuga ky'e Nazareti, n'ayambuka mu Buyudaaya, mu kibuga kya Dawudi kye bayita Beteleemu, kubanga yali wa mu nnyumba ya Dawudi na wa mu lunyiriri lwe; 5alyoke awandiikibwe wamu ne Mariya gwe yali ayogerezza eyali olubuto. 6Bwe baali bali eyo, ennaku ez'okuzaala kwe ne zituuka. 7N'azaala omwana we omuggulanda wa bulenzi, n'amuzingazinga mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu; kubanga baali tebafunye kifo mu nnyumba y'abatambuze.
8Mu kitundu ekyo mwalimu abasumba nga bali eyo ku ttale, nga bakuuma eggana lyabwe ekiro. 9Awo malayika w'Omukama n'abalabikira; ekitangaala kya Katonda ne kibabuna, ne bajjula okutya. 10Malayika n'abagamba nti: “Muleke kutya, kubanga anti mbaleetera amawulire amalungi ag'essanyu eringi erinaakwata abantu bonna; 11Kubanga olwa leero, Omulokozi, ye Kristu Omukama, abazaaliddwa mu kibuga kya Dawudi. 12Kano ke kanaaba akabonero gye muli: munaasanga omwana omuwere, azingiddwazingiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu.” 13Amangu ago awaali malayika oyo ne wajjawo ekibiina kinene eky'eggye ery'omu ggulu, nga batendereza Katonda, nga bagamba nti:
14“Ekitiibwa kibeere eri Katonda waggulu ddala eyo,
n'emirembe gibeere ku nsi mu bantu ab'omwoyo omulungi.”
15Bamalayika bwe baamala okubaawukanako ne baddayo mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti: “Tugende e Beteleemu, tulabe ekigambo ekyo ekifuddeyo Omukama ky'atumanyisizzaako.” 16Ne bagendayo bunnambiro, ne basanga Mariya ne Yozefu n'Omwana omuwere azazikiddwa mu mmanvu. 17Bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baali babuuliddwa ku mwana oyo. 18Na bonna abaawulira ne beewuunya ebigambo abasumba bye baabanyumizanga. 19Mariya ye ebigambo ebyo byonna yabitereka, ng'abirowoozalowooza mu mutima gwe. 20Abasumba ne baddayo nga bagulumiza n'okutendereza Katonda olw'ebyo byonna bye baali balabye ne bye baali bawulidde nga bwe byali bibagambiddwa.
Okutayirirwa n'okusingirwa mu Kiggwa
21 # Abal 12,3; Luk 1,31. Oluvannyuma lw'ennaku omunaana, bwe yatayirirwa, n'ayitibwa erinnya Yezu, malayika lye yamuwa nga tannaba kugwa mu lubuto.
22 # Abal 12,6-8. Ennaku ez'okutukuzibwa kwabwe bwe zaatuuka, nga bwe kiri mu tteeka lya Musa, ne bamutwala e Yeruzaalemu okumusingira Omukama, 23#Okuv 13,2.12.nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka ly'Omukama nti: “Buli kiggulanda ekisajja kinaayitibwanga kitukuvu eri Omukama,” 24n'okuwaayo ekitambiro, nga bwe kiri mu tteeka ly'Omukama: amayiba abiri oba obuyiibwa bubiri.
25Mu Yeruzaalemu mwalimu omusajja erinnya lye Simewoni, omuntu oyo nga mutuukirivu era nga musomi; yali alindirira okukubagizibwa kwa Yisirayeli, ne Mwoyo Mutuukirivu yabanga naye. 26Mwoyo Mutuukirivu yali amubikkuliddeko nti yali tagenda kufa nga talabye ku Musiige wa Mukama.#2,26 Oba: ku Kristu w'Omukama. 27N'ajja mu Kiggwa ng'afuuyiriddwa Mwoyo Mutuukirivu. Abazadde bwe baali bayingiza omwana mu Kiggwa, balyoke bamukole ng'empisa ey'etteeka bwe yali, 28n'amukwata mu mikono gye, n'agulumiza Katonda, n'agamba nti:
Oluyimba lwa Simewoni: Nunc Dimittis
29“Kati leka omuweereza wo, ayi Mukama, agende mirembe,
nga bwe wayogera;
30kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo,
31bwe wategekera mu maaso g'amawanga gonna;
32 # Yis 42,6; 49,6; 52,10. ekitangaala eky'okumulisa amawanga,
n'ekitiibwa ky'abantu bo Abayisirayeli.”
33Kitaawe ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebimwogeddwako. 34Simewoni n'abaagaliza omukisa; ate n'agamba Mariya nnyina nti: “Ono ateekeddwawo ku lw'okuzikirira ne ku lw'okuzuukira kw'abangi mu Yisirayeli; era aliba akabonero ke banaawakanyanga; 35naawe ekitala kirisoya omutima gwo, ebirowoozo by'emitima gy'abangi byerulwe.”
Anna omulanzi bye yayogera
36Era waaliwo ne Anna omulanzi omukazi, muwala wa Fanuweli, ow'omu kika kya Aseri; yali ayise mu myaka. Yamala ne bba emyaka musanvu okuva ku bubeererevu bwe, 37n'aba nnamwandu okutuusa ku myaka kinaana mu ena. Teyavanga mu Kiggwa, ng'asiiba, yeegayirira n'okuweereza emisana n'ekiro. 38Naye n'atuukira ddala mu kaseera ako kennyini, ne yeebaza Katonda, n'ayogera ku mwana oyo eri abantu bonna abaali basuubira okununulibwa kwa Yeruzaalemu.
39 # Mat 2,23. Bwe baamala okutuukiriza byonna nga bwe biri mu tteeka ly'Omukama, ne baddayo e Galilaaya mu kibuga kyabwe Nazareti. 40Awo omwana n'agenda ng'asuumuka, ng'akakata, ng'ajjudde amagezi n'ekisa kya Katonda nga kimuliko.
Yezu abulira mu Kiggwa
41 # Okuv 12,1-27; Et 16,1-8. Buli mwaka bakadde be baagendanga e Yeruzaalemu ku mbaga enkulu eya Pasika. 42Bwe yaweza emyaka ekkumi n'ebiri, ne bambuka naye e Yeruzaalemu ng'empisa bwe yali. 43Embaga enkulu bwe yaggwa, bwe baali baddayo, omwana Yezu n'asigala mu Yeruzaalemu; bakadde be ne batamanya. 44Baalowoozanga nti bali naye mu kisinde; ne batambula olugendo lwa lunaku lulamba; ne bamumagamaga mu beŋŋanda ne mu bamanyi. 45Bwe baalaba ababuze, ne baddayo e Yeruzaalemu, nga bamunoonyanoonya. 46Nga wayiseewo ennaku ssatu, ne bamuggukako mu Kiggwa ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza ate ng'ababuuza ebibuuzo. 47Bonna abaali bamuwulira bawuniikirira olw'amagezi ge n'okwanukula kwe.
48Bwe baamulaba, ne bawuniikirira; nnyina n'amugamba nti: “Mwana wange, ekyatukoza otyo kiki? Kale laba kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tuli beeraliikirivu.” 49Ye n'abagamba nti: “Kira munnoonyeza ki? Mubadde temumanyi nga nteekwa okubeera ku bya Kitange?”#2,49 Oba: okubeera mu nnyumba ya Kitange? (Laba Abeeb 3,2-6). 50Bo ne batategeera kigambo kye yabagamba. 51N'aserengeta nabo, n'agenda e Nazareti, n'abawuliranga. Nnyina ebigambo ebyo n'abitereka mu mutima gwe. 52#1 Sam 2,26; Eng 3,4.Yezu ne yeeyongeranga amagezi n'okukula era n'okuganja eri Katonda ne mu bantu.
II. EBYAKULEMBERA OKUYIGIRIZA KWA YEZU
Yowanna Batista ayigiriza

Currently Selected:

Luk 2: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in