Luk 1
1
Ennyanjula
1Nga bangi bwe bagezezzaako okuwandiika ekyafaayo ky'ebyo byonna ebyagwawo ebyatuukirizibwa mu ffe, 2nga bwe byatuweebwa abo okuva mu masooka abaabirabirako ddala era abaali abaweereza b'ekigambo, 3nange nno, ayi Omutiibwa Tewofilo, oluvannyuma lw'okwekenneenya obulungi ebintu byonna nga nviira ddala ku ntandikwa, njagadde mbikuwandiikire nga mbisengese, 4olyoke onnyonnyoke bulungi obutuufu obuli mu bigambo bye wasomesebwa.
I. OBUTO BWA YEZU NE YOWANNA BATISTA
Malayika abuulira okuzaalibwa kwa Yowanna Batista
5 #
1 Ebyaf 24,10. Mu mirembe gya Erode kabaka w'e Buyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zakariya, ow'omu kisanja kya Abiya, mukazi we erinnya lye nga ye Elizabeti, nga wa mu bawala ba Aroni. 6Bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga tebaliiko kibavunaanibwa, nga batambulira mu biragiro by'Omukama byonna ne mu mateeka ge. 7Baali tebalina mwana, kubanga Elizabeti yali mugumba, ate bombi nga bayise mu myaka. 8Olumu Zakariya bwe yali ng'akola omulimu gw'obwakabona mu maaso ga Katonda, mu kisanja kye, 9#Okuv 30,7lud.ng'empisa ey'obwakabona bwe yali, akalulu ne kagwa ku ye, n'ayingira mu Kiggwa ky'Omukama okunyookeza obubaani. 10Mu budde obw'okunyookeza obubaani, ekibiina ky'abantu kyali bweru, ng'abantu beegayirira. 11Awo malayika w'Omukama n'amulabikira; yali ayimiridde ku ludda olwa ddyo olw'omwaliiro gw'obubaani. 12Zakariya bwe yamulaba n'asoberwa, ensisi n'emukwata. 13Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga essaala zo ziwuliddwa, ne Elizabeti mukazi wo ajja kukuzaalira omwana ow'obulenzi n'omutuuma erinnya lye Yowanna. 14Olisanyuka n'ojaguza, era bangi balisanyuka olw'okuzaalibwa kwe. 15#Emiw 6,3.Kubanga aliba mukulu mu maaso g'Omukama; talinywa vviini, newandibadde buli ekitamiiza kyonna, era alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu ng'akyali na mu lubuto lwa nnyina. 16Alizza bangi mu baana ba Yisirayeli eri Omukama Katonda waabwe; 17#Mal 3,23.era y'alimukulemberamu mu mwoyo ne mu maanyi ebya Eliya, emitima gya bakitaabwe alyoke agizze ku baana baabwe, n'abatawulira abazze mu magezi g'abatuukirivu, bw'atyo Omukama amussizeewo abantu abeetegefu.”
18Zakariya n'agamba malayika nti: “Ekyo nnaakitegeerera ku ki? Anti ndi mukadde, ne mukazi wange ayise mu myaka.” 19#Dan 8,16; 9,21.Malayika n'ayanukula nti: “Nze Gaburyeli, ayimirira mu maaso ga Katonda; nsindikiddwa njogere naawe, nkubuulire amawulire amalungi ago. 20Kale nno ojja kusirika nga tosobola kwogera, okutuusa ku lunaku ebyo lwe birituukirira, kubanga tokkirizza bigambo byange ebirituukirira mu budde bwabyo.”
21Bo abantu baali balindirira Zakariya nga beewuunya nga bw'aludde mu Kiggwa. 22Bwe yafuluma, n'alemwa okwogera gye bali; ne bategeera nga waliwo ekimulabikidde mu Kiggwa; n'aye yennyini yagezaako okukibategeeza mu bubonero, n'asigala atyo nga kasiru. 23Ennaku ez'omulimu bwe zaggwaako, n'addayo ewaabwe. 24Oluvannyuma lw'ennaku ezo Elizabeti mukazi we, n'abeera olubuto; ne yeekisiza emyezi etaano ng'agamba nti: 25“Omukama bw'ankoze ati mu nnaku ze yantekerako eriiso okunzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.”
Malayika abuulira okuzaalibwa kwa Yezu
26Mu mwezi ogwomukaaga, malayika Gaburyeli Katonda n'amutuma mu kibuga ky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazareti, 27#Mat 1,18.ew'omuwala embeerera eyali ayogerezeddwa omusajja ow'omu kika kya Dawudi, erinnya lye Yozefu, ate erinnya ly'omuwala embeerera nga ye Mariya. 28Malayika bwe yayingira gy'ali, n'amugamba nti: “Mirembe, ggwe eyagirirwa ekisa, Omukama ali naawe.”#1,28 Ez'edda zongerako: Oli wa mukisa mu bakazi. 29Bwe yawulira, n'asoberwa nnyo olw'ebigambo ebyo, n'alowooza ennamusa eyo bw'ebadde. 30Malayika n'amugamba nti: “Mariya, leka kutya, kubanga osanze ekisa ewa Katonda. 31#Mat 1,21.Laba, onoofuna olubuto n'ozaala omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye Yezu. 32#2 Sam 7,12.13.16; Yis 9,7.Aliba wa kitiibwa era aliyitibwa Mwana w'Oli Ali Waggulu Ddala; n'Omukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, 33n'ennyumba ya Yakobo aligifuga emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.” 34Awo Mariya n'agamba malayika nti: “Kinaaba kitya ekyo, anti simanyi musajja?” 35Malayika n'amuddamu nti: “Mwoyo Mutuukirivu anajja ku ggwe, n'amaanyi g'Oli Ali Waggulu Ddala ganaakubikkirira. Omwana alizaalibwa kyaliva ayitibwa omutukuvu, Omwana wa Katonda. 36Kale laba, Elizabeti muganda wo ali lubuto lwa mwana mulenzi, sso nga mukadde; era guno gwe mwezi ogwomukaaga ogw'oyo gwe baayitanga omugumba, 37#Amas 18,14.Kubanga tewali kintu kitayinzika eri Katonda.” 38Awo Mariya n'agamba nti: “Nzuuno Omuzaana w'Omukama, kinkolebwe nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava w'ali.
Mariya akyalira Elizabeti
39Mu nnaku ezo, Mariya n'asituka n'agenda bunnambiro mu nsi ey'ensozi, mu kibuga ky'omu Buyudaaya; 40n'ayingira mu nnyumba ya Zakariya n'alamusa Elizabeti. 41Elizabeti olwawulira ng'amulamusa, omwana n'asambagala mu lubuto lwe; Elizabeti n'ajjula Mwoyo mutuukirivu, 42n'akoowoola n'eddoboozi ddene nti: “Oli wa mukisa mu bakazi, n'omwana w'olubuto lwo wa mukisa. 43Kale kinvudde ku ki nnyina mukama wange okujja gye ndi? 44Kubanga oluwulidde eddoboozi lyo ng'onnamusa, omwana n'asambagala mu lubuto lwange olw'essanyu. 45Wamma wa mukisa oyo eyakkiririzaawo nti ebyamugambibwa okuva ew'Omukama birituukirira.” 46#1 Sam 2,1-10.Mariya n'agamba nti:
Oluyimba lwa Mariya : Magnificat
“Emmeeme yange egulumiza Omukama,
47n'omwoyo gwange gujaguliza mu Katonda mulokozi wange.
48 #
1 Sam 1,11. Kubanga yatunuulira obutene bw'omuzaana we.
Laba, n'okuva kati amazadde gonna ganampitanga wa mukisa.
49Kubanga Omuyinza yankolera ebinene, n'erinnya lye ttukuvu.
50Ekisa kye kiri ku bamutya mu mazadde n'amazadde.
51Akoze eby'amaanyi n'omukono gwe;
abaali beekuza mu mitima gyabwe yabasaasaanya.
52 #
Yob 5,11; 12,19. Ab'obuyinza yabaggya ku ntebe zaabwe,
n'agulumiza abatene.
53Abayala yabajjuza ebirungi,
abagagga n'abagobera eri ngalo nsa.
54Yalyowa Yisirayeli omuweereza we, ng'ajjukira ekisa kye,
55 #
Amas 17,7. nga bwe yagamba bajjajjaffe
okukigirira Yiburayimu n'ezzadde lye emirembe gyonna.”
56Mariya n'amala emyezi ng'esatu ng'ali ne Elizabeti, oluvannyuma naddayo ewaabwe.
Amazaalibwa ga Yowanna Batista
57Ennaku za Elizabeti ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala omwana wa bulenzi. 58Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira ng'Omukama amugiridde ekisa, ne bamusanyukirako.
59 #
Abal 12,3. Olunaku olwomunaana ne bajja okutayirira omwana. Baali ba kumuyita erinnya lya kitaawe Zakariya, 60naye nnyina n'agamba nti: “Nedda, ajja kuyitibwa Yowanna.” 61Ne bamugamba nti: “Nga mu kika kyo temuli ayitibwa linnya eryo?” 62Ne bakolera kitaawe obubonero nga bamubuuza bw'ayagala bamuyite. 63Ye n'asaba ekipande, n'awandiika nti: “Erinnya lye ye Yowanna.” Bonna ne beewuunya. 64Amangu ago akamwa ke ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera ng'agulumiza Katonda. 65Baliraanwa baabwe ne bajjula okutya; ebigambo ebyo byonna ne byogerwako mu nsozi zonna ez'omu Buyudaaya. 66Bonna abaabiwulira, ne babirowoozalowooza mu mitima gyabwe nga bagamba nti: “Omwana ono aliba atya?” kubanga omukono gwa Katonda gwamuliko. 67Ne Zakariya kitaawe, Mwoyo Mutuukirivu n'amujjula, n'alanga, n'agamba nti:
Oluyimba lwa Zakariya: Benedictus
68“Omukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe;
kubanga alambudde abantu be n'abanunula.
69Atusitulidde Omulokozi ow'obuyinza,
mu nnyumba ya Dawudi omuweereza we,
70nga bwe yayogera mu kamwa k'abatuukirivu be,
abalanzi be okuva mu mirembe egy'edda,
71nti tujja kuwonyezebwa abalabe baffe
ne mu mikono gya bonna abatukyawa,
72agirire ekisa bajjajjaffe,
ajjukire n'endagaano ye entukuvu;
73okulayira kwe yalayiriramu Yiburayimu jjajjaffe,
74ng'ajja kutuwa, nga tumaze okuwonyezebwa
mu mikono gy'abalabe baffe,
tumuweereze awatali kutya,
75mu butuukirivu ne mu butuufu
mu maaso ge ennaku zaffe zonna.
76 #
Mal 3,1. Naawe omwana oliyitibwa mulanzi w'Oli Ali Waggulu Ddala,
kubanga olikulemberamu Omukama okumutegekera amakubo ge;
77n'abantu be obamanyise obulokofu,
basonyiyibwe ebibi byabwe,
78olw'okusaasira okunene okwa Katonda waffe,
enjuba lw'erivaayo waggulu eyo n'ejja etulambula,
79 #
Yis 9,2. emulise abatudde mu nzikiza ne mu kisiikirize eky'olumbe,
erambike ebigere byaffe mu kkubo ery'eddembe.”
80Omwana n'agenda ng'asuumuka, nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abeeranga mu ddungu okutuusa olunaku lwe yeeyoleka Yisirayeli.
Yezu azaalibwa e Beteleemu
Currently Selected:
Luk 1: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.