Luk OKWANJULA EKITABO
OKWANJULA EKITABO
Ebyafaayo by'Ekitabo: Evangili ya Luka yawandiikibwa Luka, enzaalwa y'omu Antiyokiya, munywanyi wa Pawulo Omutume bwe baatambulanga mu ŋŋendo z'okubunyisa amawulire amalungi. Era ye yawandiika n'Ebikolwa by'Abatume. Evangili eno yandiba nga yawandiikibwa nga Pawulo tannava mu kkomera e Roma awo nga mu AD 63, kubanga Ebikolwa by'Abatume kikomekkerezebwa nga Pawulo tannava mu kkomera. Abalala bagamba nti kyawandiikibwa mu 80-90 AD. Evangili eno yagiwandiika ng'agenderera okumatiza omukungu Omuroma, Tewofilo, nti bye yali ayigiriziddwa ku Kristu n'ebyali biguddewo byali bya mazima (1,1-4). Ekitundu ekiwerako eky'Evangili ye Luka yakiggya mu Mariko (obunyiriri nga 350), ate ekirala n'akiggya Matayo naye we yaggya ebibye (obunyiriri nga 235). Evangili zino essatu kyeziva zifaanagana mu bingi.
Entereeza y'ekitabo: Luka ayogerwako ng'omunoonyereza w'ebyafaayo; bw'atyo abyeyambisa naddala ebyawandiikibwa abalala, n'ebyo ebyamunyumizibwa abaaliwo mu budde bwa Yezu wamu n'ababuulizi b'amawulire amalungi (1,1-3), okusengeka n'okulambulula mu ngeri ennyuunyuntuvu ebikwata ku Yezu. Ekitabo kino kigabanyiziddwamu bwe kiti: I. Ennyanjula (1,1-4); II. Obuzaale bwa Yezu (1,5–2,52); III. Yezu yeetegekera omulimu gwe (3,1–4,13); IV. Yezu ayigiriza mu Galilaaya (4,14–9,50); V. Olugendo lwa Yezu ng'alaga e Yeruzaalemu (9,51–19,27); VI. Yezu mu Yeruzaalemu (19,28–21,38); VII. Okubonaabona, okufa, okuzuukira, n'okulinnya kwe mu ggulu (22,1–24,53).
Enjigiriza y'ekitabo: Newandibadde Luka alaga nti awandiikira Tewofilo omukungu omuroma, naye alina ekibiina ekinene ky'atuusaako amawulire amalungi, n'ab'amawanga abataali Bayudaaya. Essira alissa ku badooba, abaabuliddwa, abanaku, abaavu, abayongobevu, bamuzibe, aboonoonyi n'abanyoomebwa (6,20-23; 14,12-14). Buli muntu gy'ali Omukama amunoonya okumununula. Ekigendererwa ky'ekitabo kino kwe kulangirira amawulire amalungi nti entegeka ya Katonda ey'okulokola omuntu etuuse ku kujjuulirizibwa. Katonda teyakoma ku kununula Bayudaaya n'okubasindikira abalanzi kyokka, naye ate yabasibusaamu n'Omwana we Yezu Kristu nga ye w'okutuukiriza ebyasuubizibwa eri abantu bonna. Yezu Kristu musuubize, mulanzi, alangirira kwagala, kusaasira, n'ekisa kya Katonda eri abantu bonna. (6,16-21). Okuzaalibwa kwa Yezu Kristu, obulamu bwe, ate n'okusingira ddala eky'amagero eky'okubonaabona, okufa, n'okuzuukira kwe byoleka okutuukirizibwa kw'okununula n'obulokofu. Omulimu guno Kristu yaguwa Abatume (9,1-6; 10,1-2; Ebik 15,11; 28,28) ate n'Ekleziya okutwalira awamu nga balambikibwa Mwoyo Mutuukirivu. Na buli kati omulimu gw'obulokofu gukyeyongera okutuuka ku buli mutonde, buli ggwanga na buli kitonde okutuusa ensi gy'ekoma ne lw'eriggwaawo.
Omugaso gw'Ekitabo mu nsangi zino: Ebimu ku birungi Luka by'atuwa mu Vangili ye ze nnyimba enfuuyirire Mwoyo abamu ze bayita 'Zabbuli z'omu Ndagaano Empya': 'Emmeeme yange egulumiza Omukama' (Magnificat), 'Omukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe' (Benedictus) ne 'Kati leka Omuweereza wo agende mirembe' (Nunc Dimittis). Evangili eno eggyayo bulungi ekifaananyi kya Bikira Mariya ng'omuzadde w'Omulokozi, era essa nnyo ku mwanjo abakazi mu buto, mu mirimu ne mu kubonaabona ebya Yezu. Abakazi bangi b'etunyumizaako, abamu kwe kugiyita 'Vangili y'abakyala'. Ye Vangili ya Yezu Omusaasizi, ye Vangili y'abakabiriddwa n'abatulugunyizibwa.
LUKA
Currently Selected:
Luk OKWANJULA EKITABO: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.