Luk 4
4
1 #
Mat 4,1-11; Mar 1,12lud. Yezu ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'adda okuva ku Yorudani, n'atwalibwa Mwoyo mu ddungu 2ennaku amakumi ana, n'akemebwa Sitaani. Mu nnaku ezo teyaliiko k'alya; bwe zaggwaako, enjala n'emuluma. 3Sitaani n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke omugaati.” 4#Et 8,3.Yezu n'amwanukula nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mugaati gwokka.’ ” 5Sitaani n'amutwala waggulu, n'amwoleka amawanga gonna ag'ensi mu kabanga bubanga. 6Sitaani n'amugamba nti: “Obuyinza bwonna n'ekitiibwa kyago nnaabikuwa, kubanga byampeebwa, gwe njagala gwe mbiwa. 7Kale nno ggwe omala onsinza, ebyo byonna binaaba bibyo.” 8#Et 6,13.Yezu n'ayanukula nti: “Kyawandiikibwa nti:
“ ‘Osinzanga Omukama Katonda wo, era yekka gw'oweerezanga.’ ”
9Era n'amutwala e Yeruzaalemu, n'amussa ku kitikkiro ky'Ekiggwa, n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi okuva wano; kubanga kyawandiikibwa nti:
10 #
Zab 91,11-12. “ ‘Aliragira bamalayika be ku ggwe bakukuume;’
11Era nti:
“ ‘Balikutwalira mu mikono gyabwe,
oleme kukoona kigere kyo ku jjinja.’ ”
12 #
Et 6,19. Yezu n'ayanukula n'amugamba nti: “Baagamba nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” 13Sitaani ng'amaze okumukema mu buli ngeri, n'amusegulira okutuusa ku kadde.
III. YEZU AYIGIRIZA MU GALILAAYA
A. OKUYIGIRIZA N'EBYEWUUNYO EBYASOOKA
Yezu atandika okuyigiriza
14 #
Mat 4,12.17; Mar 1,14lud. Awo Yezu n'addayo mu Galilaaya ng'ajjudde amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. Amawulire ku ye ne gabuna wonna mu nsi eyeetoolodde awo. 15N'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe, bonna nga bamutendereza.
Yezu adda e Nazareti
16 #
Mat 13,54-58; Mar 6,1-6a. Awo n'ajja e Nazareti, gye yakulira; ku lunaku lwa Sabbaato n'ayingira mu sinaagooga nga bwe yali amanyidde, n'asituka okusoma. 17Ne bamukwasa ekitabo kya Yisaaya omulanzi, n'abikkula ekitabo, n'asanga ekifo awaawandiikibwa bino nti:
18 #
Yis 61,1-2. “Omwoyo gw'Omukama gundiko,
kubanga yansiiga omuzigo,
yantuma okubuulira abaavu amawulire amalungi,
okulangirira okuteebwa eri abasibe,
n'eri bamuzibe nti ba kulaba;
n'okuleka abatulugunyizibwa bagende mu ddembe,
19n'okulangirira omwaka gw'ekisa ky'Omukama.”
20Bwe yamala okubikakko ekitabo, n'akiddiza omuweereza, n'atuula. Bonna abaali mu sinaagooga ne bamwegeka amaaso. 21Ye n'atandika okubagamba nti: “Olwa leero ekyawandiikibwa ekyo kye muwulidde mu matu gammwe, kituukiridde.” 22Bonna ne bamwogerako bulungi, ne beewuunya ebigambo ebiwoomerevu ebyali biva mu kamwa ke; ne bagamba nti: “Ono si ye mutabani wa Yozefu?” 23Ye n'abagamba nti: “Mazima mujja kungerera olugero luno nti: ‘Musawo weewonye! Bye twawulira bye wakola e Kafarunawumu, bikole na wano ewaabommwe.’ ” 24#Yow 4,44.N'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti tewali mulanzi n'omu akkirizibwa kwa boobwe. 25#1 Bak 17,1.Mazima mbagamba nti mu mirembe gya Eliya, bannamwandu baali bangi mu nsi ya Yisirayeli, eggulu lwe lyesibira emyaka esatu n'emyezi omukaaga, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo yonna; 26#1 Bak 5,1-14.naye ku bo tewali n'omu Eliya gye yasindikibwa, wabula ew'omukazi nnamwandu ow'e Sareputa ekya Sidoni. 27#2 Bak 17,8-16.Era mu mirembe gya Elisa omulanzi abagenge baali bangi mu nsi ya Yisirayeli, sso tewali mu bo yalongoosebwa, wabula Naamani Omusiriya.” 28Bonna abaali mu sinaagooga, bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bajjula obusungu. 29Ne basituka, ne bamufulumya mu kibuga, ne bamutwala okutuuka ku ntikko y'olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusulinke mu lukonko; 30naye ye n'abayitamu wakati, n'agenda.
Yezu awonya abalwadde
31 #
Mar 1,21-28. Awo n'aserengeta e Kafarunawumu, ekibuga ky'omu Galilaaya, n'abayigiriza ku Sabbaato. 32#Mat 7,28-29.Ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza. 33Mu sinaagooga mwalimu omuntu aliko omwoyo omubi omugwagwa, n'aleekaana n'eddoboozi eddene nti: 34“Owa! otwagaza ki, ggwe Yezu ow'e Nazareti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi ggwe ani, Omutuukirivu wa Katonda.” 35Naye Yezu n'amukomako, n'agamba nti: “Sirika, ate muveemu.” Awo omwoyo omubi ne gumulindiggula wakati, ne gumuvaamu nga tegumukoze kabi. 36Bonna ne batya, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kigambo ki kino! Kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi emyoyo emigwagwa ne givaamu.” 37Amawulire ku ye ne gatuuka mu buli kifo mu nsi eyetooloddewo.
38 #
Mat 8,14lud; Mar 1,29-31. Awo Yezu naasituka, n'ava mu sinaagooga, n'ayingira mu nnyumba ya Simoni. Nnyina muka Simoni Petero yali alwadde omusujja mungi; ne bamwegayirira ku lulwe. 39N'ayimirira w'ali, n'akoma ku musujja, ne gumuta; amangu ago n'agolokoka n'abaweereza.
40 #
Mat 8,16; Mar 1,32-34. Enjuba bwe yali egwa, bonna abaali balina abalwadde aba buli nkenyera, ne babaleeta w'ali. N'abassaako emikono kinnoomu, n'abawonya. 41Emyoyo emibi ne giva mu bangi nga gireekaana nti: “Oli Mwana wa Katonda!” Ye n'agikomako, n'atagiganya kwogera; kubanga gyali gimanyi nga ye Kristu.
42 #
Mar 1,35-39. Bwe bwakya enkya, n'afuluma, n'agenda mu kifo ekyesudde; abantu ne bamunoonya ne bamuggukako; ne bamusibaasiba aleme kubavaako. 43Ye n'abagamba nti: “Ne mu bibuga ebirala nteekwa okuyigirizaayo amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda, anti ekyo kye natumirwa.” 44Yayigirizanga mu sinaagooga z'omu Buyudaaya.#4,44 Ezimu zikigolola: z'omu Galilaaya.
Abatume abana abaasooka bayitibwa
Currently Selected:
Luk 4: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.