Luk 5
5
1Ekibiina bwe kyali kirinnimukira gy'ali nga kyagala okuwulira ekigambo kya Katonda, ye yali ayimiridde ku nnyanja y'e Gennesareti, 2n'alaba amaato abiri nga gali ku nnyanja; abavubi baali bavuddemu nga banaaza obutimba bwabwe. 3N'asaabala mu lyato erimu, erya Simoni, n'amusaba asembezeeyo katono eryato okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiriza ng'ayima mu lyato. 4Bwe yasirissa enjigiriza ye, n'agamba Simoni nti: “Twala mu buziba, musuule obutimba bwammwe mukwase.” 5Simoni n'ayanukula n'amugamba nti: “Muyigiriza, twamaze ekiro kyonna nga tutegana, tetwakwasizza kantu. Naye olw'ekigambo kyo, nnaasuula akatimba.”
6Bwe baakola ekyo, ne bakwasa ebyennyanja kafukunya, n'akatimba kaabwe nga kajula kuyulika. 7Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato eddala bajje babayambe. Ne bajja, ne bajjuza amaato gombi, ne gajula okusaana. 8Simoni Petero bwe yalaba ekyo, n'agwa ku maviivi ga Yezu, n'amugamba nti: “Ndeka, ayi Mukama, kubanga nze ndi muntu mwonoonyi.” 9Anti yali mu kusamaalirira, ye na bonna abaali naye, ku lw'ebyennyanja bye baali bakwasizza, 10kye kimu ne Yakobo ne Yowanna batabani ba Zebedaayo abaali banne ba Simoni. Yezu n'agamba Simoni nti: “Leka kutya, n'okuva kati ojjanga kukwasanga bantu.” 11Bwe baamala okugolomola amaato gaabwe ku ttale, ne baleka byonna, ne bamugoberera.
Omugenge awonyezebwa
12 #
Mat 8,2-4; Mar 1,40-45. Bwe yali mu kimu ku bibuga, ne wajjayo omusajja abunye ebigenge; bwe yalaba Yezu, ne yeeyala wansi ku maaso ge, n'amwegayirira nti: “Mukama, bw'oyagala osobola okunnongoosa.” 13Ye n'agolola omukono, n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, longooka.” Amangu ago ebigenge ne bimuta. 14#Abal 14,1-32.N'amukomereza obutabuulira muntu; n'amugamba nti: “Genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone olw'okulongoosebwa kwo, nga Musa bwe yalagira, ng'obukakafu gye bali.” 15Naye amawulire ku ye ne geeyongera okubuna, n'ebibiina bingi ne byesombera w'ali bawulirize era bawonyezebwe n'endwadde zaabwe. 16Ye ne yeewungula n'alaga mu ddungu, ne yeegayirira.
Ow'olukonvuba awonyezebwa
17 #
Mat 9,1-18; Mar 2,1-12. Awo olumu mu nnaku ezo, yali ayigiriza, Abafarisaayo n'abayigiriza b'amateeka nabo nga batudde awo; baali bavudde mu buli kyalo kyonna eky'e Galilaaya, Buyudaaya, ne mu Yeruzaalemu. Amaanyi g'Omukama gaamuliko okuwonya. 18Awo ne wajja abasajja nga beetisse ku lunnyo omulwadde akonzibye; ne banoonyereza aw'okumuyingiriza bamuteeke mu maaso ga Yezu. 19Olw'ekibiina, Ne babulwa we bayita okumuyingiza olw'ekibiina. Awo ne balinnya ku kasolya waggulu, ne bamuyisa mu mategula wamu n'olunnyo ne bamukkiriza mu makkati mu maaso ga Yezu. 20Bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba nti: “Musajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 21Abawandiisi n'Abafarisaayo ne batandika okwebuuza nga bagamba nti: “Ani ono ayogera ebivuma Katonda? Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?” 22Yezu bwe yategeera bye beebuuza, n'abagamba nti: “Mwebuuza ki mu mitima gyammwe? 23Ekisinga obwangu kiruwa, okugamba nti: ‘Ebibi byo bikusonyiyiddwa?’ nandiki okugamba nti: ‘Situka otambule?’ 24Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba eyali akonzibye nti: “Nkugamba: situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.” 25Amangu ago n'asituka mu maaso gaabwe, n'akwata kye yali agalamiddeko, n'agenda ewaabwe ng'agulumiza Katonda. 26Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda; ne bajjula okutya, ne bagamba nti: “Olwa leero tulabye ebikuuno.”
Okuyitibwa kwa Leevi
27 #
Mat 9,9-13; Mar 2,13-17. Oluvannyuma, n'afuluma; n'alaba omusolooza w'omusolo erinnya lye Leevi ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti: “Ngoberera.” 28N'aleka byonna, n'asituka n'amugoberera.
29Awo Leevi n'amufumbira embaga nnene mu nnyumba ye; waaliwo ekibinja kinene eky'abasolooza b'omusolo n'abalala bwe baali naye ku mbaga nga balya. 30Abafarisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be nti: “Lwaki mmwe mulya ne munywa n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?” 31Yezu n'ayanukula n'abagamba nti: “Abalamu si be beetaaga omusawo, wabula abalwadde. 32Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi, beenenye.” 33#Mat 9,14-17; Mar 2,18-22.Bo ne bamugamba nti: “Abayigirizwa ba Yowanna basiiba emirundi mingi era beegayirira, era n'abayigirizwa b'Abafarisaayo bakola kye kimu, sso ng'ababo balya ne banywa.” 34Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole muyinza okubasiibya ng'awasizza akyali nabo? 35Ennaku zirituuka, awasizza n'abaggyibwako; olwo nno mu nnaku ezo balisiiba.”
36Era n'abaleetera olugero nti: “Tewali muntu ayuza kiwero ku kyambalo kiggya n'akissa ku kyambalo kikadde; bw'akola atyo, ekiggya akiyuza, n'ekiwero ekiggyiddwa ku kiggya tekigendana na kikadde. 37Era tewali muntu addira vviini nsu n'agifuka mu nsawo nkadde; bw'akola atyo, evviini ensu eyabya ensawo, n'eyiika, n'ensawo ne zifa. 38Evviini ensu efukibwa mu nsawo mpya. 39Era tewali anywa ku vviini nkadde, ate n'addayo n'ayagala ensu; kubanga agamba nti: ‘Enkadde nnungi.’ ”#5,39 Oba: “Empolu y'ekira obulungi.”
Okukunya ebirimba
Currently Selected:
Luk 5: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.