YouVersion Logo
Search Icon

Luk 6

6
1 # Et 23,25. Awo olumu ku#Mat 12,1-8; Mar 2,23-28. Sabbaato bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋano, abayigirizwa be ne bagenda nga banuula ebirimba by'eŋŋano, ne babikunya mu ngalo, ne balya. 2Abafarisaayo abamu ne babagamba nti: “Lwaki mukola ekitakkirizibwa kukola ku Sabbaato?” 3#1 Sam 21,1-6.Yezu n'abaanukula nti: “Temusomanga Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala, ye n'abaali naye: 4#Abal 24,9.nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'atoola Emigaati gy'Okwolesebwa, n'alya, n'awaako n'abo abaali naye, egyali gizira okuliibwa omuntu omulala yenna, wabula bakabona bokka?” 5Era n'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu ye mukama wa Sabbaato.”
Ow'omukono omukalu
6 # Mat 12,9-14; Mar 3,1-6. Ate ku Sabbaato endala, n'ayingira mu sinaagooga, n'ayigiriza. Omwo mwalimu omuntu omukono gwe ogwa ddyo nga mukalu. 7Abawandiisi n'Abafarisaayo ne bamwekaliriza balabe oba anaamuwonya ku Sabbaato, bafune ensonga okumuwaawabira. 8Yezu n'amanya ebirowoozo byabwe, n'agamba oli eyalina omukono omukalu nti: “Situka oyimirire wakati.” N'asituka n'ayimirira. 9Yezu n'abagamba nti: “Mbuuza, ku Sabbaato kisaanye kukolera bubi oba kukolera bulungi? Kuwonya bulamu oba kubuzikiriza?” 10N'abeebunguluza amaaso bonna, n'agamba oli nti: “Golola omukono gwo.” N'akikola, omukono gwe ne guddirawo ddala. 11Bo bali ne bajjula empiiga, ne beebuuzaganya kye banaakola Yezu.
Abatume ekkumi n'ababiri balondebwa
12 # Mat 10,1-4; Mar 3,13-19. Mu nnaku ezo, n'alaga ku lusozi okwegayirira, n'akeesa obudde ng'ali mu kwegayirira Katonda. 13Bwe bwakya, n'ayita abayigirizwa be, n'alondamu kkumi na babiri, be yayita Abatume: 14Simoni gwe yatuuma Petero, ne Andureya muganda we; Yakobo ne Yowanna, Filippo ne Barutolomaawo, 15Matayo ne Toma, Yakobo mutabani wa Alufayo ne Simoni ayitibwa Omutakabanyi; 16ne Yuda owa Yakobo, ne Yuda Yisikariyoti eyamulyamu olukwe.
Abantu nkumu bamugoberera
17 # Mat 4,23-25; 12,15lud; Mar 3,7-12. N'aserengeta nabo, n'ayimirira ku museetwe, wamu n'ekibiina kinene eky'abayigirizwa be, n'abantu abalala nkumu abaava mu Buyudaaya yonna n'e Yeruzaalemu, ne ku lubalama lw'ennyanja y'e Tiiro ne Sidoni, abaali bazze okumuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 18Abajeezebwajeezebwa emyoyo emigwagwa ne bawonyezebwa. 19Ekibiina kyonna kyafubanga okumukwatako, kubanga amaanyi gaamuvangamu ne gawonya bonna.
B. ENJIGIRIZA YA YEZU KU MUSEETWE
Emikisa
20 # Mat 5,3-12. Awo n'asitulira amaaso ge eri abayigirizwa be, n'abagamba nti:
“Mwesiimye, mmwe abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
21“Mwesiimye, mmwe abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkuta.
“Mwesiimye, mmwe abakaaba kaakano, kubanga muliseka.
22 # 1 Pet 4,14. “Mwesiimye, bwe banaabakyawanga, bwe banaabagobaganyanga, bwe banaabavumanga, bwe banaasambajjanga erinnya lyammwe nga baliyita ebbi olw'okubeera Omwana w'Omuntu. 23#2 Ebyaf 36,16; Ebik 7,52.Musanyukanga ku lunaku olwo ne mwebuukiza olw'essanyu, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene; anti bajjajjaabwe bwe batyo bwe baakola abalanzi.
Ebikolimo
24“Kyokka zibasanze, mmwe abagagga, kubanga mmwe mufunye ekikubagizo kyammwe kyonna.
25“Zibasanze, mmwe abakkufu kaakano, kubanga mulirumwa enjala.
“Zibasanze, mmwe abaseka kaakano, kubanga muliwooba, mulikaaba.
26“Zibasanze, abantu bonna bwe banaaboogerangako obulungi, kubanga bajjajjaabwe bwe baakolanga batyo abalanzi ab'obulimba.
Okwagala abatatwagala
27 # Mat 5,38-48. “Naye nze mbagamba mmwe abawuliriza: Mwagalenga abalabe bammwe; mukolerenga bulungi ababakyaye. 28Mwagalizenga bulungi ababavumirira; musabirenga ababavuma. 29Oli akukubanga ku ttama erimu, mukyusize n'eddala; n'oli atwalanga omunagiro gwo, mulekere n'ekkanzu. 30Buli akusabanga, omuwanga; n'oli akututteko ebibyo, tobimusabanga. 31#Mat 7,12.Nga bwe mwagalanga abantu babakolere, nammwe bwe mubanga mubakolera. 32Obanga mwagala babaagala, ekinaabasiimisa kiruwa? Anti n'aboonoonyi baagala ababaagala. 33Obanga mukolera bulungi ababakolera obulungi, ekinaabasiimisa kiruwa! Kubanga n'aboonoonyi bwe bakola batyo. 34Obanga muwola abo bokka be musuubira okufunako, ekinaabasiimisa kiruwa! Kubanga n'aboonoonyi nabo bawola boonoonyi bannaabwe, balyoke baddizibwe kyenkana. 35Naye mmwe mwagalenga ababakyaye; mukolerenga bulungi; muwolenga nga temulina kye musuubirayo, olwo empeera yammwe eriba nnene; mulibeera baana b'Oli Ali Waggulu Ddala, kubanga agirira ekisa entasiima n'ababi. 36Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw'ali ow'ekisa.
Okulamula abalala
37 # Mat 7,1-5. “Temulamulanga, nammwe lwe mutaliramulibwa. Temusaliranga bantu misango, nammwe lwe gitalibasalirwa kubasinga. Musonyiwenga, nammwe lwe munaasonyiyibwanga. 38Mugabenga, nammwe lwe muligabirwa; ekipimo ekituufu, ekikkaatiriziddwa, ne kisuukundwa, ne kibooga, balikibayiwa mu kikondoolo. Kubanga ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.”
39 # Mat 15,14. Era n'abagerera olugero nti: “Kale, muzibe ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebagwa mu bunnya? 40#Mat 10,24-25; Yow 13,16; 15,20.Omuyigirizwa takira muyigiriza; wabula buli aba ayigiriziddwa obulungi afaanana n'omuyigiriza we. 41Lwaki olaba akasubi akali mu liiso lya muganda wo, ggwe n'otolaba kisiki kiri mu liryo? 42Oba kale, ogamba otya muganda wo nti: ‘Muganda wange, ka nkuggye akasubi mu liiso lyo,’ sso nga tolaba kisiki kiri mu liiso lyo? Mukuusa ggwe, sooka weggye ekisiki mu liiso lyo, awo lw'onoolaba obulungi, n'oggya akasubi mu liiso lya muganda wo.
Obutuukirivu obwa nnamaddala
43 # Mat 7,16-21; 12,33-35. “Anti tewali muti mulungi gubala bibala bibi; oba omuti omubi ogubala ebibala ebirungi. 44#Mat 12,33.Buli muti nno gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga entontogolo z'omukunyu tezinogebwa ku maggwa; n'emizabbibu teginogebwa ku kirobo. 45#Mat 12,34.Omuntu omulungi ku birungi by'aterese mu mutima gwe kw'aggya ebirungi; n'omuntu omubi ku bibi by'aterese kw'aggya ebibi; anti ku bijjudde mu mutima akamwa ke kwe kaggya bye koogera.
Okufundikira enjigiriza
46“Lwaki mumpita Mukama, Mukama, sso ga temukola bye ŋŋamba? 47#Mat 7,24-27.Buli ajja gye ndi n'awulira ebigambo byange, n'abissa mu nkola, nzija kubalaga gw'afaanana. 48Afaanana omuntu mu kuzimba ennyumba, eyasima n'akka wansi, omusingi n'agutandikira ku lwazi; omujjuzi bwe gwajja, mukoka n'akuluggukira ku nnyumba eyo, naye n'atayinza kugimenya, kubanga yazimbibwa bulungi. 49Naye buli awulira n'atassa mu nkola, afaanana omuntu eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimyewo musingi; mukoka bwe yagikuluggukirako, amangu ago n'egwa, n'ekigwo kyayo ne kiba kinene.”
C. OKUYIGIRIZA N'EBYEWUUNYO OMULUNDI OMULALA
Omuweereza wa Senturiyo awonyezebwa

Currently Selected:

Luk 6: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in