1
Luk 6:38
BIBULIYA ENTUKUVU
Mugabenga, nammwe lwe muligabirwa; ekipimo ekituufu, ekikkaatiriziddwa, ne kisuukundwa, ne kibooga, balikibayiwa mu kikondoolo. Kubanga ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.”
Compare
Explore Luk 6:38
2
Luk 6:45
Omuntu omulungi ku birungi by'aterese mu mutima gwe kw'aggya ebirungi; n'omuntu omubi ku bibi by'aterese kw'aggya ebibi; anti ku bijjudde mu mutima akamwa ke kwe kaggya bye koogera.
Explore Luk 6:45
3
Luk 6:35
Naye mmwe mwagalenga ababakyaye; mukolerenga bulungi; muwolenga nga temulina kye musuubirayo, olwo empeera yammwe eriba nnene; mulibeera baana b'Oli Ali Waggulu Ddala, kubanga agirira ekisa entasiima n'ababi.
Explore Luk 6:35
4
Luk 6:36
Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw'ali ow'ekisa.
Explore Luk 6:36
5
Luk 6:37
“Temulamulanga, nammwe lwe mutaliramulibwa. Temusaliranga bantu misango, nammwe lwe gitalibasalirwa kubasinga. Musonyiwenga, nammwe lwe munaasonyiyibwanga.
Explore Luk 6:37
6
Luk 6:27-28
“Naye nze mbagamba mmwe abawuliriza: Mwagalenga abalabe bammwe; mukolerenga bulungi ababakyaye. Mwagalizenga bulungi ababavumirira; musabirenga ababavuma.
Explore Luk 6:27-28
7
Luk 6:31
Nga bwe mwagalanga abantu babakolere, nammwe bwe mubanga mubakolera.
Explore Luk 6:31
8
Luk 6:29-30
Oli akukubanga ku ttama erimu, mukyusize n'eddala; n'oli atwalanga omunagiro gwo, mulekere n'ekkanzu. Buli akusabanga, omuwanga; n'oli akututteko ebibyo, tobimusabanga.
Explore Luk 6:29-30
9
Luk 6:43
“Anti tewali muti mulungi gubala bibala bibi; oba omuti omubi ogubala ebibala ebirungi.
Explore Luk 6:43
10
Luk 6:44
Buli muti nno gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga entontogolo z'omukunyu tezinogebwa ku maggwa; n'emizabbibu teginogebwa ku kirobo.
Explore Luk 6:44
Home
Bible
Plans
Videos