Yow 21
21
1Oluvannyuma, Yezu era n'alabikira abayigirizwa ku nnyanja y'e Tiberiya. Yabalabikira bw'ati: 2Simoni Petero, Toma ayitibwa Omulongo, Natanayeli ow'e Kana mu Galilaaya, batabani ba Zebedaayo ko n'abalala babiri ku bayigirizwa be baali wamu; 3#Luk 5,5.Simoni Petero n'abagamba nti: “Ŋŋenda kuvubako.” Ne bamugamba nti: “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda ne basaabala eryato; naye ekiro ekyo tebaakwasa kantu.
4Obudde bwe bwali bukya, Yezu n'ayimirira ku lubalama; naye abayigirizwa nga tebamanyi nga ye Yezu. 5Yezu n'abagamba nti: “Abaana, mulinawo ku byennyanja?” Ne baddamu nti: “Nedda.” 6#Luk 5,6.N'agamba nti: “Musuule akatimba ku ludda olwa ddyo olw'eryato, mujja kukwasa.” Ne bakasuula; olwo nga tebakyayinza na kukawalula olw'obungi bw'ebyennyanja. 7Omuyigirizwa oli Yezu gwe yayagalanga n'agamba Petero nti: “Ye Mukama.” Simoni Petero bwe yawulira nti ye Mukama, ne yeebagika ekikanzu kye, kubanga yali bwereere, ne yeesuula mu nnyanja. 8Abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato nga bawalula akatimba akaalimu ebyennyanja, kubanga tebaali wala n'olukalu, mpozzi emikono ng'ebikumi bibiri.
9Bwe baagoba ku lukalu, ne balaba amanda, nga kuliko ebyennyanja, ko n'omugaati. 10Yezu n'abagamba nti: “Muleete ku byennyanja bye mwakakwasa kati.” 11Simoni Petero n'asaabala mu lyato, n'awalula akatimba n'akakuba ettale. Kaali kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Nandibadde byali nkumu bityo, akatimba tekaayulika. 12Yezu n'abagamba nti: “Mujje mulyeko.” Naye ku bayigirizwa ne kubula ageza okumubuuza nti: “Ggwe ani?” Baali bategedde nga ye Mukama. 13Yezu n'ajja, n'akwata omugaati n'abawa, era n'ebyennyanja. 14Ogwo gwe gwali omulundi ogwokusatu Yezu gwe yalabikira abayigirizwa ng'amaze okuzuukira mu bafu.
Petero akwasibwa okulunda obuliga n'endiga
15Bwe baamala okulya, Yezu n'agamba Simoni Petero nti: “Simoni mutabani wa Yowanna, onjagala okusinga bano?” N'amugamba nti: “Yee, Mukama; omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti: “Liisa obuliga bwange.” 16Era n'amugamba ogwokubiri nti: “Simoni, mutabani wa Yowanna, onjagala?” N'amugamba nti: “Yee, Mukama; omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti: “Lunda endiga zange.” 17Era n'amugamba ogwokusatu nti: “Simoni, mutabani wa Yowanna, onjagala?” Simoni Petero n'anakuwala olw'okumubuuza ogwokusatu nti: “Onjagala?”; n'amugamba nti: “Mukama, ggwe omanyi byonna; omanyi nga nkwagala.” Yezu n'amugamba nti: “Liisa endiga zange. 18Nkugambira ddala mazima nti bwe wali okyali muto, weesibanga n'olaga gye wayagalanga; naye ng'okaddiye, oligolola emikono gyo, omulala n'akusiba n'akutwala gy'otoyagala.” 19Ekyo yakimugamba okutegeeza enfa gy'aligulumizaamu Katonda. Bwe yamala okwogera ebyo, n'amugamba nti: “Ngoberera.”
20 #
13,25. Petero n'akebuka, n'alaba omuyigirizwa oli Yezu gwe yali ayagala ng'ajja agoberera, ye oli eyeewunzika ku kifuba kye ku mbaga eri enkulu n'amugamba nti: “Mukama, ani agenda okukuwaayo?” 21Petero bwe yamulaba, n'agamba Yezu nti: “Mukama, ng'ono aliba atya?” 22Yezu n'amugamba nti: “Obanga nze njagala abeerewo okutuusa lwe ndijja, ofaayo ki? Ggwe ngoberera.” 23We waava olugambo okubuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo teyali wa kufa. Sso Yezu teyamugamba nti teyali wa kufa, wabula nti: “Obanga nze njagala abeerewo okutuusa lwe ndijja, ofaayo ki?”
B. OKUFUNDIKIRA OKWOKUBIRI
24Omuyigirizwa oyo ye wuuyo ayogera bino, era awandiise bino, era tumanyi ng'okujulira kwe kwa mazima.
25Eriyo ate n'ebirala bingi Yezu bye yakola; nabyo singa byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza ng'ensi teyandisobodde kuggweeramu bitabo byandiwandiikiddwa.
Currently Selected:
Yow 21: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.