YouVersion Logo
Search Icon

Ebik OKWANJULA EKITABO

OKWANJULA EKITABO
Ebyafaayo by'Ekitabo: Ekitabo ky'Ebikolwa by'Abatume kyawandiikibwa Luka, era ng'ono ye muwandiisi w'Evangili ya Luka (Luk 1,1-4; Ebik 1,1-2). Luka ono yali mukwano gwa Pawulo, nga musawo eyamuyambanga mu mawanga Pawulo gye yayigirizanga Evangili, era eno ye emu ku nsonga ezaamusobozesa okuwandiika ebitabo bino byombi; kyokka ye yali talabye ku Yezu Kristu. Luka yali nzaalibwa ya mu Siriya naye nga yabeeranga mu Antiyokiya. Yakiwandiika mu mwaka gwa AD 70 oba, ng'abalala bwe bagamba, wakati wa AD 80 ne 100.
Entereeza y'ekitabo: Ekitundu ekisinga eky'ekitabo kino kyefugiddwa enjigiriza n'ebikolwa bya Petero (1-15) era ne Pawulo (9-28), era kiraga ebyafaayo n'ebyewuunyisa Katonda bye yakozesa abantu ab'enjawulo mu kubunyisa era n'okulangirira Evangili ya Kristu. Evangili yasooka kubunyisibwa mu Yeruzaalemu ne mu Buyudaaya, n'oluvannyuma mu b'amawanga nga Yezu bwe yali abalagidde (Luk 24,47). Luka kwe kulambika bw'ati ekifaayo kino: I. Ebisooka, omuli ekiragiro ky'okulangirira Evangili (1,1-11); II. Evangili erangirirwa mu Yeruzaalemu (1,12–8,3); III. Evangili etuuka mu Buyudaaya ne Samariya (8,4–12,24); IV. Evangili etuuka mu b'amawanga; eŋŋendo za Pawulo mu b'amawanga (13,1–21,26), ne IV. Evangili etuuka e Roma; obusibe bwa Pawulo (21,27–28,31).
Enjigiriza y'ekitabo: Abatume ba Mukama waffe Yezu Kristu baakola ebyamagero bingi mu linnya lye era nga ne Mwoyo Mutuukirivu yabeeranga nabo okuviira ddala ku lunaku lwa Pentekooti. Mwoyo Mutuukirivu ye yali amaanyi, eyasindika Abatume, ye yabawanguzanga, okubaluŋŋamya n'okubalagirira eby'okukola. Ye yalondanga ab'okugenda mu buminsani. Luka alaga nti ekyali kitandikiddwa Abatume kyali tekiva mu bantu buntu, wabula gaali maanyi ga Katonda era nga tekiziyizika (5, 34-39). Mu kitabo kino tulabamu okweweerayo ddala kw'Abatume mu kuyigiriza Evangili okubuna amawanga gonna nga Yezu bwe yabatuma (1,8). Era nabo tebaasikattiramu n'akatono, ne beewaayo nga bayambibwako Mwoyo Mutuukirivu ne bayigiriza Evangili mu mawanga, n'ab'amawanga ne basobola okutuuka ku kulokoka, newandibadde nga mu kukola kino Abatume baasanga ebizibu bingi (7,55; 8,1-3; 12,1-21; 26,27).
Omugaso gw'Ekitabo mu nsangi zino: Ekitabo kino kiyinza okwesigamizibwako okuyigiriza ebyafaayo by'amatandika g'Ekleziya mu myaka egya AD 40 okutuusa ku 70. Kiyamba okunnyonnyola Ekleziya nga bwe yazimbirwa ku Batume. Tusobola okugoba emirandira gy'ayo okutuusa ku Pentekooti. Kyokka okukiyita ekitabo ky'ebyafaayo tukyogera tulekamu, kubanga Luka ky'agenderera si kuwa buwi byafaayo, naye okulaga omukono gwa Katonda mu mulimu gw'Ekleziya ogw'obuminsane, n'alaga bw'atyo entegeka ya Katonda ey'okutuusa ensi yonna ku kulokoka nga Katonda yennyini bwe yagirambika n'aginywezaawo. Ekitabo kino abamu bakiyita 'Evangili ya Mwoyo Mutuukirivu', abandi 'Evangili ey'Okutaano'. Kino kye kitabo mu Ndagaano Empya ekiraga emirimo gya Mwoyo Mutuukirivu mu butume bw'Ekleziya. Ekleziya eyimiriddewo ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.
EBIKOLWA BY'ABATUME

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in