Bwe baamala okulya, Yezu n'agamba Simoni Petero nti: “Simoni mutabani wa Yowanna, onjagala okusinga bano?” N'amugamba nti: “Yee, Mukama; omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti: “Liisa obuliga bwange.” Era n'amugamba ogwokubiri nti: “Simoni, mutabani wa Yowanna, onjagala?” N'amugamba nti: “Yee, Mukama; omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti: “Lunda endiga zange.” Era n'amugamba ogwokusatu nti: “Simoni, mutabani wa Yowanna, onjagala?” Simoni Petero n'anakuwala olw'okumubuuza ogwokusatu nti: “Onjagala?”; n'amugamba nti: “Mukama, ggwe omanyi byonna; omanyi nga nkwagala.” Yezu n'amugamba nti: “Liisa endiga zange.