Yow 20
20
1Ku lusooka mu wiiki, Mariya Magudalena n'ajja ku ntaana mu matulutulu, enzikiza ng'ekyakutte, n'alaba ng'ejjinja liggyiddwawo ku ntaana; 2n'adduka, n'agenda eri Simoni Petero n'eri omuyigirizwa oli omulala Yezu gwe yali ayagala, n'abagamba nti: “Omukama mu ntaana bamuggyeemu, tetumanyi gye bamutadde.” 3Awo Petero n'afuluma n'omuyigirizwa oli omulala, ne balaga ku ntaana. 4Bombi baagenda badduka, naye omuyigirizwa oli omulala n'asinza Petero embiro, n'amusooka okutuuka ku ntaana. 5N'akutama alingizeemu, n'alaba essuuka nga ziri awo, naye n'atayingira. 6Simoni Petero n'atuuka ng'ajja amugoberera; n'ayingira mu ntaana; n'alaba essuuka nga ziri awo; 7n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe, nga tekiri na ssuuka, wabula nga kizingiddwa ne kiteekebwa waakyo. 8N'omuyigirizwa oli omulala eyali asoose okutuuka ku ntaana, n'ayingira, n'alaba, n'akkiriza; 9kubanga baali tebannamanya Kiwandiiko ekigamba nti yali wa kuzuukira mu bafu. 10Abayigirizwa ne baddayo ewaabwe.
Yezu alabikira Mariya Magudalena
11Naye Mariya yali ayimiridde ku ntaana wabweru ng'akaaba. Bwe yali akaaba, n'akutama alingize mu ntaana; 12n'alabamu bamalayika babiri abaali mu ngoye enjeru, nga batudde, omu emitwetwe n'omulala emirannamiro, mu kifo omubiri gwa Yezu mwe gwali guteekeddwa. 13Ne bamugamba nti: “Mukazi, okaabira ki?” N'abagamba nti: “Kubanga Mukama wange bamututte, simanyi na gye bamutadde.” 14Bwe yamala okwogera ebyo, n'akebuka, n'alaba Yezu ng'ayimiridde, naye n'atamanya nti ye Yezu. 15Yezu n'amugamba nti: “Mukazi, okaabira ki? Onoonya ani?” Ye n'alowooza nti ye nnannyini nnimiro, n'amugamba nti: “Ssebo, oba wamuggyemu, mbuulira gye wamutadde, nze mmuggyeyo.” 16Yezu n'amugamba nti: “Mariya.” N'akebuka, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbuni!”, kwe kugamba nti Muyigiriza. 17Yezu n'amugamba nti: “Tonneekwatako, kubanga sinnalinnya eri Taata; naye genda eri baganda bange obagambe nti: ‘Nninnya eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.’ ” 18Mariya Magudalena n'agenda n'agamba abayigirizwa be nti: “Omukama mmulabye.” N'abagamba nti yali amugambye ebintu ebyo.
Yezu alabikira abayigirizwa
19 #
Mar 16,14-18; Luk 24,36-39. Obudde bwe bwali buwungedde, ku olwo oluddirira Sabbaato, abayigirizwa we baali enzigi nga nsibe olw'okutya Abayudaaya, Yezu n'ajja n'abayimiriramu wakati, n'abagamba nti: “Emirembe gibeere ku mmwe.” 20Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'embiriizi. Awo abayigirizwa ne basanyuka okulaba Omukama. 21Ye n'addamu okubagamba nti: “Emirembe gibeere ku mmwe; nga Taata bwe yantuma, nange bwe mbatuma.” 22Bwe yasirissa ebyo, n'abafuuwako omukka, n'abagamba nti: “Mufune Mwoyo Mutuukirivu. 23#Mat 16,19; 18,18.Yenna ebibi bye bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa; yenna ebibi bye bye munaasibanga, nga bisibiddwa.”
24Toma, omu ku Kkumi n'Ababiri ayitibwa Omulongo, teyali na banne Yezu lwe yajja. 25Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Omukama tumulabye.” Ye n'abagamba nti: “Wabula nga ndabye mu bibatu bye obubonero bw'enninga, ne nzisa olunwe lwange mu nkovu z'enninga, ne nzisa n'omukono mu lubiriizi lwe, sijja kukkiriza.”
26Nga wayise ennaku munaana, era abayigirizwa be baali mu nnyumba, ne Toma nga mw'ali nabo. Enzigi zaali nzigale; Yezu n'ajja, n'abayimiriramu wakati, n'abagamba nti: “Emirembe gibeere nammwe.” 27Awo n'agamba Toma nti: “Olunwe lwo luyingize wano, laba n'ebibatu byange; leeta n'omukono gwo oguteeke mu lubiriizi lwange; leka butakkiriza, naye kkiriza.” 28Toma n'addamu nti: “Mukama wange, Katonda wange.” 29Yezu n'amugamba nti: “Toma, okkirizza kubanga ondabyeko? Beesiimye abakkiriza nga tebalabyeko.”
C. OKUFUNDIKIRA OKUSOOKA
30Era waaliwo n'obubonero obulala bungi Yezu bwe yakola mu maaso g'abayigirizwa be obutawandiikiddwa mu kitabo kino. 31Buno buwandiikiddwa mulyoke mukkirize Yezu nga ye Kristu Omwana wa Katonda, ate olw'okukkiriza mufune obulamu mu linnya lye.
ENNYONGEREZA
A. YEZU ALABIKIRA E TIBERIYA
Currently Selected:
Yow 20: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.