Yow 19
19
1 #
Mat 27,27-31; Mar 15,16-20. Awo Pilato n'akwata Yezu n'amuswanyuula. 2Ate abaserikale ne bazinga omuge ogw'amaggwa ne bagumutikkira ku mutwe, ne bamwambaza omunagiro ogwa kakobe; 3ne bajja gy'ali nga bagamba nti: “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya.” Ne bamukuba empi. 4Awo Pilato n'afuluma nate, n'abagamba nti: “Wuuno mmubaleetedde, mulyoke mutegeere nga simulabamu nsonga n'emu.” 5Yezu n'afuluma bw'atyo ng'alina omuge gw'amaggwa, n'omunagiro ogwa kakobe. Pilato n'abagamba nti: “Omuntu wuuno!” 6Bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba ne baleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.” Pilato n'abagamba nti: “Mumutwale mmwe mmwennyini mumukomerere kubanga nze simusanzeeko musango.” 7Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tulina etteeka, okulabira ku tteeka eryo ateekwa okufa, kubanga yeefudde Mwana wa Katonda.” 8Pilato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya; 9n'adda ate mu Purayitoriyo n'agamba Yezu nti: “Oli waawa?” Naye Yezu n'atawuuna. 10Pilato kwe kumugamba nti: “Tonnyega kantu? Tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta era nga nnina n'obuyinza obw'okukukomerera ku musaalaba?” 11Yezu n'amuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza ku nze singa tebwakuweebwa kuva waggulu; olw'ekyo nno ampadde gy'oli y'alina omusango ogusinga.”
12Okuva olwo Pilato n'ateganira ddala okumuta, naye Abayudaaya ne baleekaana nti: “Oyo bw'omuta nga tokyali mukwano gwa Kayisari; buli eyeeyita kabaka, aba ajeemedde Kayisari.” 13Pilato bwe yawulira ebigambo ebyo, n'afulumya Yezu, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi eyali mu kifo ekiyitibwa Lisosituroto,#19,13 Oba: Omwaliiro ogwa mayinja. ate mu Lwebureeyi Gabbata. 14Lwe lwali Olunaku olw'Okuteekateeka Pasika; essaawa yali nga ya mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti: “Kabaka wammwe wuuno!” 15Bo ne baleekaana nti: “Ggyawo, ggyawo, mukomerere ku musaalaba.” Pilato n'abagamba nti: “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera ku musaalaba?” Bakabona abakulu ne baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala wabula Kayisari.” 16Awo n'amuwaayo gye bali bamukomerere ku musaalaba.
Yezu akomererwa ku musaalaba
#
Mat 27,31.33.37-38; Mar 15,20.22.25-27; Luk 23,33.38. Ne bakwata Yezu ne bamutwala. 17N'avaayo nga yeetisse omusaalaba gwe, n'alaga ku kifo ky'Akawanga, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Golugota.#19,17 Akawanga: Calvarius mu Vulg; ey'OlugerNT. egamba Kranion, mu Lwebureeyi Golgotha, byombi ebitegeeza akawanga. 18Eyo gye baamukomerera, era n'abalala babiri wamu naye, omu ku buli ludda, Yezu ng'ali wakati. 19Pilato era n'awandiika ekipande n'akiteeka ku musaalaba. Kyali kiwandiikiddwako nti: YEZU OW'E NAZARETI, KABAKA W'ABAYUDAAYA. 20Abayudaaya bangi ne basoma ekipande ekyo, kubanga ekifo Yezu we yakomererwa kyali kumpi n'ekibuga; ate kyali kiwandiikiddwa mu Lwebureeyi, mu Lulatini ne mu Lugereeki. 21Bakabona abakulu ab'Abayudaaya ne bagamba Pilato nti: “Leka kuwandiika nti: ‘Kabaka w'Abayudaaya’ wabula nti: ‘Eyeeyita nti nze kabaka w'Abayudaaya.’ ” 22Pilato n'addamu nti: “Kye mpandiise, nkiwandiise.”
23 #
Mat 27,35; Mar 15,24; Luk 23,49. Naye abaserikale bwe baamala okukomerera Yezu ku musaalaba, ne bakwata ebyambalo bye ne babyawuzaamu emiteeko ena; buli muserikale omuteeko, ate n'ekkanzu ye. Ekkanzu ye teyalina lukindo, yali nduke bulusi yonna okuviira ddala waggulu. 24#Zab 22,19.Ne bagambagana nti: “Tuleme kugiyuzaamu, wabula tugikubeko akalulu, tulabe eneeba y'ani.” Ekiwandiiko kiryoke kituukirire ekigamba nti:
“Ebyambalo byange baabigabana;
olugoye lwange ne balukubako akalulu.”
Ekyo abaserikale kye baakola.
Yezu alaamira Yowanna nnyina
25Okumpi n'omusaalaba gwa Yezu waali wayimiriddewo nnyina ne muganda wa nnyina, Mariya muka Kulopa, ne Mariya Magudalena. 26Yezu bwe yalaba nnyina n'omuyigirizwa gwe yali aganzizza ng'ayimiridde awo kumpi, n'agamba nnyina nti: “Mukazi, omwana wo wuuno!” 27Ate n'agamba omuyigirizwa nti: “Nnyoko wuuno!” Okuva mu kaseera ako omuyigirizwa n'amutwala ewuwe.
Yezu afiira ku musaalaba
28 #
Zab 69,21; 22,15. Oluvannyuma #Mat 27,48-50; Mar 15,36; 15,40; Luk 23,44-49.lw'ebyo, Yezu ng'ategedde nga byonna biwedde, olw'okutuukiriza Ebiwandiiko, n'agamba nti: “Ennyonta ennuma.” 29Awo waaliwo ebbakuli ejjudde enkaatu; ne batunga ekyangwe ekijjudde enkaatu ku lumuli,#19,29 Oba: ku yissopo. ne bakisembeza ku mumwa gwe. 30Yezu bwe yamala okufuna enkaatu, n'agamba nti: “Kituukiridde;” n'awunzika omutwe n'awaayo omwoyo gwe.
Ebyaddirira okufa kwa Yezu
31Naye kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, emirambo obutasigala ku musaalaba ku Sabbaato, kubanga Sabbaato eyo lwali lunaku lukulu, Abayudaaya ne basaba Pilato abakomerere babamenye amagulu, babaggyewo. 32Abaserikale ne bajja, ne bamenya amagulu ag'omubereberye n'ag'omulala eyali akomereddwa naye. 33Bwe baatuuka ku Yezu, ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu; 34naye omu ku baserikale n'amufumita effumu mu lubiriizi, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi. 35Eyalabirako ddala y'ayogera bino, n'okujulira kwe kwa mazima, era amanyi ng'ayogera mazima nammwe mulyoke mukkirize. 36#Okuv 12,46; Emiw 9,12; Zab 34,20.Kubanga ebyo byabaawo Ebiwandiiko biryoke bituukirire nti: “Talimenyebwa ggumba lye na limu;” 37#Zak 12,10; Okub 1,7.era n'Ekiwandiiko ekirala kigamba nti: “Balitunula kw'oyo gwe baafumita.”
Amaziika
38 #
Mat 27,57-60; Mar 15,42-46; Luk 23,50-54. Ebyo bwe byaggwa, Yozefu ow'e Arimateya, naye yali muyigirizwa wa Yezu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, n'asaba Pilato amukkirize aggyewo omubiri gwa Yezu. Pilato n'akkiriza. Awo n'ajja n'aggyawo omubiri gwe. 39#3,1-2.Ne Nikodemo, eyagenda olumu gy'ali ekiro, n'ajja ng'aleese ebyakaloosa ebitabule ebya mirra n'ekigaji, laatiri nga kikumi.#19,39 Ze Kiloguraamu ng'amakumi ana. 40Ne baddira omubiri gwa Yezu ne baguzinga mu ssuuka awamu n'ebyakaloosa ng'empisa y'Abayudaaya mu kuziika bwe yali. 41Mu kifo we yakomererwa waaliwo ennimiro, ate mu nnimiro nga mulimu entaana empya eyali teteekebwangamu muntu. 42Omwo nno, olw'ensonga y'Olunaku lw'Abayudaaya olw'Okuteekateeka, ate ng'entaana yali awo kumpi, mwe baateeka Yezu.
B. AMAZUUKIRA
Entaana enkalu
Currently Selected:
Yow 19: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.