YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 9

9
1 # 22,4-16; 26,9-18; Gal 1,11-24. Sawulo yali akyaswakidde ng'atiisaatiisa okutta abayigirizwa b'Omukama, n'agenda eri kabona omukulu, 2n'amusaba ebbaluwa ez'okumwanjula mu sinaagooga mu Damasiko, ng'abadde asanzeeyo abasajja n'abakazi ab'Ekkubo, abaleete e Yeruzaalemu nga basibe. 3Bwe yali akyali mu kkubo, ng'asemberera Damasiko, amangu ago ekitangaala okuva mu ggulu ne kimyansa okumwebungulula; 4n'agwa wansi, n'awulira eddoboozi erimugamba nti: “Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?” 5Ye n'agamba nti: “Ggwe ani, Mukama?” N'amugamba nti: “Nze Yezu gw'oyigganya. 6Naye yimuka oyingire mu kibuga, ojja kubuulirwa eky'okukola.” 7Abasajja abaali batambula naye, baali bayimiridde nga bawuniikiridde; eddoboozi baali baliwulira, naye nga tebaliiko gwe balaba. 8Sawulo n'agolokoka wansi; naye bwe yazibula amaaso, nga takyalaba kantu. Ne bamukwata ku mukono ne bamuyingiza mu Damasiko. 9N'amala ennaku ssatu nga talaba, nga talya wadde okunywa.
10Mu Damasiko waaliyo omuyigirizwa, erinnya lye Ananiya; Omukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Ananiya.” N'addamu nti: “Nzuuno, Mukama.” 11Omukama n'amugamba nti: “Situka, olage ku luguudo oluyitibwa Olugolokofu, obuuze mu nnyumba ya Yuda omusajja ayitibwa Sawulo ow'e Taruso; kati ali mu kwegayirira. 12Era alabye omusajja erinnya lye Ananiya ng'ayingira, n'amussaako emikono addemu okulaba.” 13Naye Ananiya n'addamu nti: “Mukama, mpulidde bangi nga boogera ku muntu oyo obubi bwonna bw'akoledde abatuukirivu bo mu Yeruzaalemu; 14ate kati alina obuyinza okuva eri bakabona abakulu okusiba bonna abakoowoola erinnya lyo.” 15Omukama n'amugamba nti: “Genda, kubanga oyo mukutu gwange gwe neerondedde okutuusa erinnya lyange mu b'amawanga ne mu bakabaka ne mu baana ba Yisirayeli. 16Nange nzija kumulaga ebyo by'ateekwa okubonaabonamu olw'okubeera erinnya lyange.” 17Awo Ananiya n'agenda, n'ayingira mu nnyumba, n'amussaako emikono ng'agamba nti: “Sawulo owooluganda, Omukama Yezu eyakulabikira bwe wali mu kkubo ng'ojja, antumye gy'oli oddemu okulaba, era ojjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.” 18Amangu ago ku maaso ge ne kuvaako ebiri ng'amagamba, ne bigwa; n'addamu okulaba, n'asituka, n'abatizibwa, 19n'alya ku mmere, n'addamu amaanyi.
Sawulo ayigiriza mu Damasiko
N'amala ennaku nga ziizo ng'ali n'abayigirizwa mu Damasiko. 20Teyalwa, n'alangirira Yezu mu sinaagooga ng'agamba nti: “Yezu Mwana wa Katonda.” 21Abaali bamuwulira bonna ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyali asaanyaawo ab'omu Yeruzaalemu abaali bakoowoola erinnya eryo? Era si kye kyamuleeta n'eno alyoke abatwalire bakabona abakulu nga basibe?” 22Naye Sawulo ye ne yeeyongera amaanyi, Abayudaaya ab'omu Damasiko n'abaleetera okusamaalirira olw'engeri gye yakakasangamu nti Yezu ye Kristu.
23Nga wayiseewo ennaku nnyingi, Abayudaaya ne beekoba okumutta. 24#2 Kor 11,32-33.Sawulo n'ategeera ku lukwe lwabwe. Beetegerezanga emiryango emisana n'ekiro, bamutte. 25Naye ekiro abayigirizwa ne bamuddira ne bamuyisa ku bbugwe ne bamussa nga bamukkiririza mu kisero.
Sawulo e Yeruzaalemu
26Bwe baatuuka e Yeruzaalemu, n'agezaako okwegatta n'abayigirizwa, naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nga naye muyigirizwa. 27Barunaba n'amuddira n'amutwala eri Abatume; n'abanyumiza nga bwe yalaba Omukama n'ayogera naye, era nga bwe yayigiriza n'obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yezu. 28N'ayingira era n'afulumanga nabo mu Yeruzaalemu, 29ng'ayigiriza n'obuvumu mu linnya ly'Omukama. Yayogeranga n'awakananga n'Abagereeki; naye ne banoonya okumutta. 30Abooluganda bwe baakitegeera, ne bamukkiriza e Kayisariya, na bamusindika e Taruso.
31Awo Ekleziya n'afuna emirembe wonna mu Buyudaaya, mu Galilaaya ne mu Samariya; ne yeezimba, ng'atambulira mu kutya Omukama ne mu kikubagizo kya Mwoyo Mutuukirivu.
Ebyewuunyo bya Petero e Lidda n'e Yoppa
32Olumu Petero bwe yali ng'abayitaayitamu bonna, n'atuuka mu batuukirivu abaabeeranga mu Lidda. 33N'asangayo omuntu erinnya lye Eneya, eyali akonzibidde emyaka munaana ku ndiri. 34Petero n'amugamba nti: “Eneya, Omukama Yezu Kristu akuwonya; situka oyale obuliri bwo.” Amangu ago n'asituka. 35Bonna abatuuze b'omu Lidda ne mu Saroni ne bamulaba, ne badda eri Omukama.
36Ne mu Yoppa mwalimu omuyigirizwa omu omukazi erinnya lye Tabita,#9,36 Tabita (Doruka): kitegeeza Ngabi. ekivvuunulwa nti Doruka. Yali mujjumbize w'ebikolwa ebirungi n'okugabira abaavu. 37Mu nnaku ezo, yalwala n'afa. Bwe baamala okumunaaza, ne bamussa mu kisenge ekya waggulu. 38Kubanga Lidda kyali kumpi ne Yoppa, abayigirizwa ne bawulira nga Petero ali eyo, ne bamutumira abasajja babiri, ne bamwegayirira nti: “Jjangu ewaffe, tolwa.” 39Awo Petero n'asituka n'agenda nabo. Bwe yatuuka, ne bamulinnyisa mu kisenge ekya waggulu. Bannamwandu bonna ne bayimirira w'ali nga bamwebunguludde nga bakaaba; ne bamulaga ebiteeteeyi n'ebyambalo Doruka bye yali akoze ng'akyali nabo. 40Naye Petero bonna n'abafulumya, n'afukamira, ne yeegayirira, n'akyukira omulambo, n'agamba nti: “Tabita, yimuka.” N'azibula amaaso ge; bwe yalaba Petero, n'atuula. 41Petero n'amusuulira omukono, n'amuyimusa, n'ayita abatuukirivu ne bannamwandu, n'abamukwasa nga mulamu. 42Kino ne kimanyibwa wonna mu Yoppa; bangi ne bakkiriza mu Mukama. 43N'amala ennaku nnyingi mu Yoppa ewa Simoni omu omuwazi w'amaliba.
Koruneliyo alabikirwa

Currently Selected:

Ebik 9: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in