Awo Ananiya n'agenda, n'ayingira mu nnyumba, n'amussaako emikono ng'agamba nti: “Sawulo owooluganda, Omukama Yezu eyakulabikira bwe wali mu kkubo ng'ojja, antumye gy'oli oddemu okulaba, era ojjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.” Amangu ago ku maaso ge ne kuvaako ebiri ng'amagamba, ne bigwa; n'addamu okulaba, n'asituka, n'abatizibwa