Ebik 10
10
1 #
11,4-17. Waaliwo omusajja omu mu Kayisariya, erinnya lye Koruneliyo, senturiyo w'ekibinja ekyayitibwanga Ekiyitale, 2nga muntu musomi, ng'atya Katonda, ye n'ennyumba ye yonna, nga yeegayirira butasalako, era ng'agabira nnyo abaavu. 3Olumu n'alabikirwa ddala bulungi emisana nga ku ssaawa eyoomwenda, n'alaba malayika wa Katonda ng'ayingira gy'ali, n'amugamba nti: “Koruneliyo.” 4N'amwekaliriza ng'atidde, n'addamu nti: “Mukama, ate kiki?” Malayika n'amugamba nti: “Essaala zo ne by'ogabira abaavu byambuse mu maaso ga Katonda ng'ekitone eky'ekijjukizo. 5Kale nno kati tuma abasajja mu Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero, 6asula wa Simoni omuwazi w'amaliba, ennyumba ye eri kumpi n'ennyanja.” 7Malayika w'Omukama eyayogera naye bwe yamala okugenda, n'ayita babiri ku b'omu nnyumba ye ko n'omuserikale omusomi omu ku abo be yali atwala. 8Bwe yamala okubanyumiza byonna, n'abatuma mu Yoppa.
Ne Petero alabikirwa
9Olunaku olwaddirira, bwe baali bakyali mu kkubo, nga basemberera ekibuga, Petero n'alinnya waggulu ku nnyumba okwegayirira nga ku ssaawa mukaaga. 10Enjala bwe yamuluma, n'ayagala okubaako k'alya. Baba bakyategeka, n'abulawo mu mwoyo; 11n'alaba eggulu nga libikkuse, n'ekintu ekijja kikka nga kifaanana ng'essuuka ennene gye bakkiririza ku nsonda zaayo ennya. 12Mwalimu ebisolo ebya buli kika, n'ebyewalula ku ttaka, n'ebinyonyi eby'omu bbanga. 13Ne wabaawo eddoboozi erimugamba nti: “Petero, situka; tta, olye.” 14Petero n'addamu nti: “Nedda, Mukama; kubanga nze siryanga ku bibi oba ebitali birongoofu.” 15Eddoboozi ne limuddira ogwokubiri nti: “Katonda kye yatukuza ggwe leka kukiyita kibi.” 16Ekyo kyaddibwamu emirundi esatu; amangu ago ekintu ne kizzibwayo mu ggulu.
17Petero yali akyasobeddwa nga yeebuuza ky'alabye kye kitegeeza, abasajja Koruneliyo be yali atumye ne batuuka ku luggi oluvannyuma lw'okubuuza ewa Simoni. 18Ne bayita okubuuza obanga Simoni ayitibwa Petero omwo mwe yali asula. 19Petero aba akyalowoolereza ku by'alabye, Mwoyo n'amugamba nti: “Laba, abasajja basatu bakunoonya; 20situka okkirire, ogende nabo awatali kulonzalonza, kubanga nze mbatumye.” 21Petero n'akkirira abasajja gye baali, n'abagamba nti: “Nze wuuyo gwe munoonya; nsonga ki ebaleese?” 22Bo ne bagamba nti: “Koruneliyo, senturiyo, omusajja omutuukirivu era atya Katonda, ate ng'ayogerwako bulungi eggwanga lyonna ery'Abayudaaya, malayika omutuukirivu yamubagulizaako okukuyita ogende ewuwe awulire by'ogamba.” 23N'abayingiza, n'abasuza.
Koruneliyo abatizibwa
Ku lunaku olwaddako, n'asitula n'agenda nabo, n'abamu ku booluganda mu Yoppa ne bamuwerekereko. 24Olunaku olwaddako n'atuuka e Kayisariya. Koruneliyo yali abalindiridde, ng'akuŋŋaanyizza eŋŋanda ze ne banywanyi be. 25Petero bwe yayingira, Koruneliyo n'ajja okumwaniriza, n'agwa ku bigere bye n'amusinza. 26Petero n'amuyimusa nga bw'agamba nti: “Situka, nange ndi muntu buntu.” 27Eno nga bw'ayogera naye, nayingira, n'asangamu abantu bangi abakuŋŋaanye, 28n'abagamba nti: “Nammwe mumanyi bwe kitakkirizibwa Omuyudaaya okutabagana ne munnaggwanga, oba okumukyalira, naye Katonda y'andaze nga bwe sandiyise muntu n'omu mubi oba atali mulongoofu. 29Olw'ekyo nange bwe bampise, kwe kujja awatali kulonzalonza. Naye kati mbuuza ensonga empisizza.”
30Koruneliyo n'agamba nti: “Ennaku nnya emabega, mu kabanga kano kennyini, nali mu nnyumba yange nga neegayirira ku ssaawa eyoomwenda, omusajja n'annyimirira mu maaso ng'ayambadde engoye ezitemagana, 31n'agamba nti: ‘Koruneliyo, essaala zo ziwuliddwa, ne by'ogabira abaavu bijjukiddwa mu maaso ga Katonda. 32Tuma nno e Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero, asula mu nnyumba ya Simoni omuwazi w'amaliba okuliraana ennyanja.’ 33Kyennava nno nkutumira amangu. Era naawe okoze bulungi n'ojja. Kaakano tuutuno ffenna mu maaso ga Katonda okuwulira byonna Omukama bye yakulagira.”
34 #
Et 10,17. Petero n'ayasamya akamwa ke, n'agamba nti: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu; 35naye buli ggwanga, buli amutya n'akola ekituufu, amusiima. 36Abayisirayeli Katonda yabatumira ekigambo ng'ababuulira amawulire amalungi ag'emirembe mu Yezu Kristu. Oyo ye Mukama wa byonna. 37Nammwe mumanyi ekyabaawo mu Buyudaaya bwonna, okusookera ddala mu Galilaaya okuva ku batismu ya Yowanna gye yayigiriza, 38nga Yezu ow'e Nazareti Katonda bwe yamusiiga ne Mwoyo Mutuukirivu n'amaanyi, nga bwe yayitaayita ng'agenda akolera bulungi abantu, era ng'awonya bonna Sitaani be yali adoobya, kubanga Katonda yali naye. 39Ffe bajulirwa b'ebyo bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yeruzaalemu. Gwe batta nga bamuwanika ku muti, 40Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu, n'amuwa okulabibwa 41si buli muntu, wabula ffe Katonda be yali alondobyemu ng'abajulirwa; ffe twalya ne tunywa naye ng'amaze okuzuukira mu bafu, 42n'atulagira okuyigiriza abantu n'okutegeeza nti ye y'oyo Katonda gwe yassaawo okulamula abalamu n'abafu. 43Ye wuuyo abalanzi bonna gwe baakakasa nti buli amukkiriza afuna ekisonyiwo ky'ebibi mu linnya lye.”
44Petero yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku bonna abaali bawulira ekigambo. 45Abakkiriza abaava mu batayirire abaali bazze ne Petero ne basamaalirira olw'okulaba ng'ekirabo kya Mwoyo Mutuukirivu kiyiiriddwa ne ku b'amawanga. 46Anti baali bawulira nga boogera ennimi endala, nga bagulumiza Katonda. Petero n'agamba nti: 47“Waliwo ayinza okugaana bano amazzi okubatizibwa, bano abafunye Mwoyo Mutuukirivu nga ffe?” 48N'abalagira okubatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu. Ne bamusaba agira asigala nabo ennaku nga ziizo.
Petero yeetaasa olw'okuyigiriza ab'amawanga
Currently Selected:
Ebik 10: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.