Ebik 8
8
1 #
11,19. Sawulo n'akkirizaganya n'okuttibwa kwe. Ku olwo ekiyigganyizo ekinene ne kisitukira Ekleziya y'e Yeruzaalemu. Bonna, okuggyako Abatume, ne basaasaanira mu bitundu by'e Buyudaaya ne Samariya. 2Abasajja abasomi ne baziika Stefano, ne bamukungubagira nnyo. 3Ye Sawulo n'agezaako okuzikiriza Ekleziya; yayingiranga mu mayumba n'awalaawala abasajja n'abakazi, n'abassa mu kkomera.
II. EKLEZIYA MU BUYUDAAYA NE MU SAMARIYA
Filippo mu Samariya
4Abaali basaasaanye ne bayitaayita nga bayigiriza ekigambo. 5Filippo n'agenda mu kibuga ky'Abasamariya, n'ayigiriza abantu baayo Kristu. 6Ebibiina bwe byalaba obubonero bwe yakolanga, ne biwuliriza n'emmeeme emu ebigambo bya Filippo bye yayigirizanga. 7Kubanga emyoyo emigwagwa gyavanga mu bangi be gyali gikutte nga gireekaana n'eddoboozi ddene; n'abakonzimbye bangi n'abalema ne bawonyezebwa. 8Ne wabaawo essanyu lingi mu kibuga ekyo.
Simoni omufuusa ow'e Samariya
9Waaliwo omusajja, erinnya lye Simoni, emabegako eyali akoze obulaguzi mu kibuga omwo, ng'awuniikiriza ensi ya Samariya, nga yeeyita ow'ekitalo. 10Bonna nga bamuwulira, okuva ku muto okutuuka ku mukadde, nga bagamba nti: “Ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa Amakulu.” 11Ne bamuwulirizanga, kubanga yali abeewuniikirizza ebbanga ddene n'obufuusa bwe. 12Bwe bakkiriza nga Filippo amaze okuyigiriza ku bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yezu Kristu, abasajja n'abakazi ne babatizibwa. 13Mu bbanga eryo ne Simoni naye n'akkiriza. Bwe yamala okubatizibwa, n'asigala ne Filippo. Bwe yalaba obubonero n'ebyewuunyo eby'amaanyi ebikolebwa, n'awuniikirira.
14Abatume abaali mu Yeruzaalemu bwe baawulira nga Samariya akkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Petero ne Yowanna, 15abakkirirayo ne babasabira bafune Mwoyo Mutuukirivu, 16anti mu bo mwali temunnabaamu n'omu gw'azzeeko, kubanga baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama Yezu. 17Ne babassaako emikono, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu. 18Simoni bwe yalaba nga Mwoyo Mutuukirivu aweebwa abatume bwe bassa emikono ku bantu, n'abawa ensimbi, 19n'abagamba nti: “Nange mumpe obuyinza obwo, nange buli gwe nassangako emikono afune Mwoyo Mutuukirivu.” 20Naye Petero n'amugamba nti: “Ensimbi zo zizikirire wamu naawe, kubanga olowoozezza nti ekirabo kya Katonda kigulibwa nsimbi. 21Mu bintu bino tolinaamu kitundu wadde omugabo, kubanga omutima gwo si mutereevu mu maaso ga Katonda. 22Bonerera ekibi kyo kino, weegayirire Katonda, oboolyawo ekirowoozo ekyo ekiri mu mutima gwo ne kikusonyiyibwa. 23#Yis 58,6.Kubanga ndaba ng'oli mu bukaawu bw'endulwe ne mu nvuba z'obugwenyufu.” 24Simoni n'ayanukula nti: “Munsabire ew'Omukama, ku ebyo byonna bye mwogeddeko wabulewo ekintuukirira.”
25Bwe baamala okukakasa n'okubuulira ekigambo ky'Omukama, ne baddayo e Yeruzaalemu nga bagenda bayigiriza Evangili mu byalo bingi eby'Abasamariya.
Filippo abatiza omuwanika Omwesiyopiya
26Awo malayika w'Omukama n'agamba Filippo nti: “Situka odde emaserengeta ng'okutte ekkubo erikkirira okuva e Yeruzaalemu okulaga e Gaza; lino ddungu.” 27N'asituka n'agenda. Kati nno omusajja Omwesiyopiya, omulaawo, omukungu wa nnaabakyala Kandake ow'Abasiyoopiya eyali akuuma enkuluze ze zonna, yali azze mu Yeruzaalemu okusinza. 28Yali addayo ng'atudde mu kigaali kye ng'asoma Yisaaya omulanzi. 29Awo Mwoyo n'agamba Filippo nti: “Weeyongereyo okwatagane n'ekigaali ekyo.” 30Filippo n'addukanako, n'amuwulira ng'asoma Yisaaya omulanzi, n'amubuuza nti: “Olowooza by'osoma obitegeera?” 31Ye n'addamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annambika?” N'asaba Filippo alinnye atuule naye. 32Ekitundu ky'Ekiwandiiko kye yali asoma kye kino:
#
Yis 53,7-8. “Yatwalibwa ng'akaliga akatwalibwa mu bbaagiro,
ng'endiga etanyega mu maaso g'abagisalako ebyoya;
bw'atyo naye teyayasamya kamwa ke.
33Mu bwetoowaze bwe tebaamusalira mu bwenkanya.
Ezzadde lye ani ayinza okulittottola?
Anti obulamu bwe bwakwakkulwa ku nsi.”
34Omulaawo n'agamba Filippo nti: “Nkwegayiridde, ekyo omulanzi akyogera ku ani? Ku ye yennyini, nandiki ku mulala?” 35Awo Filippo n'ayasamya akamwa ke n'asookera ku Kiwandiiko ekyo, n'amubuulira Evangili ya Yezu. 36Bwe baali mu kkubo nga bwe bagenda, ne batuuka ku mazzi, omulaawo n'agamba nti: “Laba amazzi! Ekindobera okubatizibwa kiki?”#8,36 Ez'edda zongerako: 37 Filippo n'agamba nti: “Oba okkiriza n'omutima gwo gwonna, oyinza okubatizibwa.” N'addamu nti: “Nzikiriza nga Yezu Kristu Mwana wa Katonda.” 38N'alagira okuyimiriza ekigaali; bombi, Filippo n'omulaawo, ne bakka mu mazzi, n'amubatiza. 39Bwe baava mu mazzi, Mwoyo w'Omukama n'atwala Filippo; omulaawo teyaddayo kumulabako, n'ayongera olugendo lwe nga musanyufu. 40Filippo n'alabwako mu Azoto; n'ayita ng'ayigiriza mu bibuga byonna okutuusa lwe yatuuka e Kayisariya.
Okukyusibwa kwa Sawulo
Currently Selected:
Ebik 8: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.