YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 7

7
1Kabona omukulu n'amugamba nti: “Bwe biri bityo?” 2#Amas 12,1.Ye#Amas 11,31; 15,7. n'addamu nti: “Basajja abooluganda, bakitange, mumpulirize. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Yiburayimu ng'akyali mu Mezopotamiya, nga tannasenga mu Karani, 3n'amugamba nti: ‘Leka ensi yo n'eŋŋanda zo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’ 4#Amas 11,31; 12,4; 15,7.Awo kwe kuva mu nsi y'Abakaludeya n'abeera mu Karani. Kitaawe bwe yafa, Katonda n'amuggyayo, n'amuleeta mu nsi eno gye mulimu; 5#Amas 12,7; 13,15; 15,18; 17,8; Et 2,5.naye teyamuwaamu busika, newandibadde obuweza ekigere ekimu; kyokka n'amusuubiza okubumuwa bubeerere ddala bubwe n'ezzadde lye eririmuddirira, newandibadde nga mu bbanga eryo teyalina mwana. 6#Amas 15,13-14.Katonda n'amugamba bw'atyo, nti ezzadde lye liriba ggwiira mu nsi eddala eririfugirayo obuddu ne liriyisa bubi emyaka ebikumi bina. 7#Okuv 3,12.Omukama n'agamba nti: ‘Naye eggwanga lye baliweereza mu buddu ndirisalira omusango; oluvannyuma balivaayo, ne bampeereza mu kifo kino.’ 8#Amas 17,10-14; 21,2-4; 25,26; 29,31–35,18.Awo n'amuwa endagaano y'okutayirirwa. Awo Yiburayimu n'azaala Yizaake, n'amutayirira ku lunaku olwomunaana; Yizaake n'azaala Yakobo, ne Yakobo n'azaala Bajjajjaffe Abakulu ekkumi n'ababiri.
9 # Amas 37,11.28; 39,2.21; 45,4. “Bajjajjaffe #Amas 39,2-3.21.Abakulu baakwatirwa Yozefu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda n'abeera naye. 10#Amas 41,39-41; Zab 105,21.Yamuwonya ennaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi eri Faraawo kabaka w'e Misiri; ye n'amufuula mufuzi mu Misiri ne ku nnyumba ye yonna. 11#Amas 42,1-2.Awo enjala n'egwa nnyingi mu nsi y'e Misiri ne mu Kanaani; obuyinike ne buba bungi; bajjajjaffe ne babulwa emmere. 12#Amas 42,2.Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo ku ŋŋano, n'atumayo bajjajjaffe omulundi gwe omubereberye. 13#Amas 1,16.Ku mulundi ogwokubiri Yozefu ne yeeraga eri baganda be n'ekika kya Yozefu ne kimanyika ewa Faraawo. 14#Amas 45,9-18; 46,27.Awo Yozefu n'atuma, n'ayita kitaawe Yakobo n'ab'oluganda lwe bonna; bonna wamu abantu nsanvu mu bataano; 15#Amas 46,1-7; 49,33.Yakobo n'aserengeta mu Misiri; n'afa, ne bajjajjaffe nabo ne bafa. 16#Amas 23,3-16; 33,19; 50,7-13; Yos 24,32.Ne batwalibwa e Sekemu, ne baziikibwa mu ntaana Yiburayimu gye yali aguze n'omuwendo gwa ffeeza ku baana ba Emmori mu Sekemu.
17 # Okuv 1,7-8. “Obudde obw'ekisuubizo Katonda kye yali alazaanyizza Yiburayimu bwe bwatuuka, abantu ne baala, ne babeera bangi mu Misiri, 18okutuusa lwe waasitukawo kabaka omulala mu Misiri ataamanya ku Yozefu. 19#Okuv 1,10-11.15-22.Ono n'asalira eggwanga lyaffe enkwe, n'akaka bajjajjaffe okubasuuza abaana baabwe abawere baleme kulama. 20#Okuv 2,2.Mu budde obwo ne Musa we yazaalirwa, nga mulungi mu maaso ga Katonda, n'alerebwa emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe. 21#Okuv 2,3-10.Bwe yamala okusuulibwa, muwala wa Faraawo n'amwetwalira n'amukuza ng'omwana we. 22Musa n'agunjulwa mu magezi gonna ag'Abamisiri, nga wa maanyi mu bigambo ne mu bikolwa bye.
23 # Okuv 2,11-15. “Bwe yaweza emyaka ana, ekirowoozo ne kimujjira mu mwoyo eky'okulambula baganda be, abaana ba Yisirayeli. 24Bwe yalaba omu ng'akolerwa bubi, n'amutaasa, n'awoolera eggwanga olw'oyo eyali anyigirizibwa, n'atta Omumisiri. 25Ye yali alowooza nti baganda be bategedde nti Katonda anaabanunula n'omukono gwe, naye bo tebaategeera. 26Olunaku olwaddirira, n'ajja gye bali nga balwana, n'agezaako okubatabaganya ng'agamba nti: ‘Basajja battu, muli ba luganda; lwaki mukoleragana obubi?’ 27Naye oli eyali akolera munne obubi n'amusindika eri, n'amugamba nti: ‘Ani yakussaawo ng'omukulu era omulamuzi waffe? 28Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’ 29#Okuv 18,3-4.Musa bwe yawulira ekigambo ekyo, n'adduka, n'awaŋŋangukira mu nsi y'e Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri.
30 # Okuv 3,1-10. “Nga wayise emyaka ana, malayika n'amulabikira mu ddungu ku lusozi Sinayi, mu lulimi lw'omuliro mu kisaka. 31Musa bwe yalaba, ne yeewuunya ekyo kye yali alabye; bwe yasembera okwekkaanya, 32eddoboozi ly'Omukama ne lyogera nti: ‘Nze Katonda wa bajjajjaabo, Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, Katonda wa Yakobo.’ Musa n'ajugumira, n'ataguma na kwetegereza. 33Omukama n'amugamba nti: ‘Naanula engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ttaka ttukuvu. 34Mazima ndabye okubonaabona kw'abantu bange mu Misiri, mpulidde emiranga gyabwe, ne nzikirira mbawonye. Kale nno, genda, nkutuma mu Misiri.’
35 # Okuv 2,13. “Musa oyo gwe baali bagaanyi nga bawoza mbu: ‘Ani yakussaawo ng'omukulu era omulamuzi waffe?’ Katonda gwe yatuma ng'omukulu era omununuzi n'omukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka. 36#Okuv 7,5; 14,21; Emiw 14,33.Yabaggyayo ng'amaze okukola ebyewuunyo n'obubonero mu nsi y'e Misiri ne mu Nnyanja Emmyufu ne mu ddungu okumala emyaka amakumi ana. 37#Et 8,15.18.Ye Musa eyagamba Abayisirayeli nti: ‘Katonda alibasibusiza omulanzi okuva mu baganda bammwe ali nga nze.’ 38#Okuv 19,1–20,17; Et 5,1-33.Ye wuuyo eyabeeranga n'ekibiina mu ddungu wamu ne malayika eyayogeranga naye ku lusozi Sinayi, era eyabeeranga ne bajjajjaffe, eyafuna ebigambo ebiramu okubituwa. 39Bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamusindiikiriza eri, mu mitima gyabwe ne baddayo mu Misiri. 40#Okuv 32,1.Ne bagamba Aroni nti: ‘Tukolere balubaale batukulembere; ono Musa eyatuggya mu nsi y'e Misiri tetumanyi ky'abadde.’ 41#Okuv 32,2-6.Ne bakola akayana mu nnaku ezo, ne batambirira ekifaananyi ekyo, ne basanyukira kye baali bakoze n'emikono gyabwe. 42#Amos 5,25-27.Katonda n'akyuka n'abawaayo mu kusinza nnamunkukumbo w'eggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'abalanzi nti:
“ ‘Si mwampeereza ebitambiro n'ebitone,
emyaka amakumi ana mu ddungu, nnyumba ya Yisirayeli?
43Mwasitula weema ya Moloki,
n'emmunyeenye ya lubaale Romufa,
ebifaananyi bya balubaale bye mwakola mubisinze;
kale nange nzija kubawaŋŋangusa n'okuyisa Babiloni.’
44 # Okuv 25,9.40. “Bajjajjaffe baabeeranga ne Weema y'Obujulirwa#7,44 Oba: Weema ey'Ensisinkano. mu ddungu; ng'oyo eyayogera ne Musa bwe yali amulagidde okugikola ng'agoberera enfaanana gye yali alabye. 45#Yos 3,14-17.Bajjajjaffe baamala okugifuna, ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baamala okulya ensi y'ab'amawanga Katonda be yagoberawo bajjajjaffe. Bwe kityo bwe kyali okutuusa mu biro bya Dawudi. 46#2 Sam 7,1-16; 1 Ebyaf 7,1-14.Ono yaganja mu maaso ga Katonda, n'asaba afunire Ennyumba ya Yakobo#7,46 Oba: Katonda wa Yakobo. ekisulo. 47#1 Bak 6,1-38; 2 Ebyaf 3,1-17.Naye Solomoni ye yamuzimbira ennyumba. 48Kyokka Ali Waggulu Ddala tasula mu nnyumba zizimbiddwa mikono, ng'omulanzi bw'agamba nti:
49 # Yis 66,1-2. “ ‘Eggulu ye nnamulondo yange,
ate ensi ke katebe k'ebigere byange;
nnyumba ki gye munanzimbira, Omukama y'agamba,
Kifo ki mwe nnaawummulira?
50Kazzi bino byonna si mukono gwange gwe gwabikola?’
51 # Okuv 33,3.5; Emiw 27,14; Yis 63,10; Yer 6,10. “Mmwe ab'ensingo enkakanyavu, ab'emitima n'amatu ebitali bitayirire, bulijjo muwaganyalira Mwoyo Mutuukirivu. Nga bajjajjammwe bwe baali, nammwe bwe muli. 52Mu balanzi bajjajjammwe ani gwe bataayigganya? Batta n'abo abaali balanze okujja kw'Omutuukirivu, kati mmwe gwe mwalyamu olukwe ne mumutemula; 53mmwe abaafuna Etteeka nga bwe lyaweebwa bamalayika, naye ne mutalikwata.”
Stefano attibwa
54Olwawulira ebyo, ne batwagga emitima, ne bamulumira obujiji. 55Naye ye ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'atunuulira eggulu enkaliriza, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yezu ng'atudde ku gwa ddyo gwa Katonda; 56n'agamba nti: “Laba, ndaba eggulu libikkuse n'Omwana w'Omuntu ng'atudde ku gwa ddyo gwa Katonda.” 57Bo ne baleekaana n'eddoboozi ddene nga bazibiikiriza amatu gaabwe, bonna wamu ne bamugwira, 58ne bamusuula ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaaliwo ng'abajulirwa ne bassa ebyambalo byabwe ku bigere by'omuvubuka ayitibwa Sawulo. 59Stefano bwe baabanga bamukuba amayinja, eno nga ye yeegayirira, ng'agamba nti: “Ayi Mukama Yezu, twala omwoyo gwange.” 60N'afukamira, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Ayi Mukama, tobassaako musango guno.” Bwe yasirissa ebyo, ne yeebaka.

Currently Selected:

Ebik 7: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in