1
Ebik 7:59-60
BIBULIYA ENTUKUVU
Stefano bwe baabanga bamukuba amayinja, eno nga ye yeegayirira, ng'agamba nti: “Ayi Mukama Yezu, twala omwoyo gwange.” N'afukamira, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Ayi Mukama, tobassaako musango guno.” Bwe yasirissa ebyo, ne yeebaka.
Compare
Explore Ebik 7:59-60
2
Ebik 7:49
“ ‘Eggulu ye nnamulondo yange, ate ensi ke katebe k'ebigere byange; nnyumba ki gye munanzimbira, Omukama y'agamba, Kifo ki mwe nnaawummulira?
Explore Ebik 7:49
3
Ebik 7:57-58
Bo ne baleekaana n'eddoboozi ddene nga bazibiikiriza amatu gaabwe, bonna wamu ne bamugwira, ne bamusuula ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaaliwo ng'abajulirwa ne bassa ebyambalo byabwe ku bigere by'omuvubuka ayitibwa Sawulo.
Explore Ebik 7:57-58
Home
Bible
Plans
Videos