YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 4

4
1Baba bakyayogera eri abantu, ne bajjirwa bakabona n'omukuumi w'Ekiggwa n'Abasaddukaayo, 2nga banyiikaavu nnyo kubanga baali bayigiriza abantu nga balangirira mu linnya lya Yezu okuzuukira kw'abafu. 3Ne babakwata, ne babassa mu kkomera okutuusa enkeera, kubanga obudde bwali kawungeezi. 4Kyokka bangi ku baali bawulidde ku bigambo ne bakkiriza; olwo omuwendo gw'abasajja ne guwera enkumi ttaano.
5Enkeera abakulembeze baabwe, abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaanira mu Yeruzaalemu, 6wamu ne Anna kabona omukulu, ne Kayafa, ne Yowanna ne Alekisanduro, na bonna ab'omu kika kya bakabona abakulu. 7Ne babasimba wakati, ne bababuuza nti: “Kale mmwe ebyo mubikola na maanyi ki, oba mu linnya ly'ani?” 8Petero ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'abagamba nti: “Mmwe abakulembeze b'abantu n'abakadde, 9obanga tuwozesebwa olwa leero olw'ekikolwa ekirungi kye tukoledde omuntu omulwadde, nti yawonye atya, 10mumanye mwenna abantu ba Yisirayeli, nti lwa linnya lya Yezu Kristu ow'e Nazareti, gwe mwakomerera ku musaalaba, naye Katonda gwe yazuukiza mu bafu, olw'okubeera oyo ono kyavudde ayimirira wano mu maaso gammwe nga yenna mulamu. 11#Zab 118,22.Oyo lye jjinja mmwe abazimbi lye mwagaana, naye erifuuse lukulwe mu nsonda. 12Era mpaawo n'omu muva bulokofu, kubanga tewali linnya ddala wansi w'eggulu eryali lituumiddwa mu bantu mwe tulina kulokolerwa.”
13Bwe baalaba obuvumu bwa Petero ne Yowanna, sso nga bamanyi bwe bataali bayigirize, wabula abantu aba bulijjo, ne beewuunya. Ne bamanya nti baayitanga ne Yezu. 14Naye bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo awo, ne babulwa we bakiwakanyiza. 15Ne babalagira okuva mu lukiiko, ne bateesa bokka na bokka, 16ne bagamba nti: “Abantu bano tubakolere ki? Anti akabonero akenkukunala ke bakoze kalabiddwa bonna ab'omu Yeruzaalemu; tetuyinza kukagaana. 17Kyokka kino obuteeyongera kucaakaala mu bantu, ka tubatiisetiise baleme kwongera kuyigiriza muntu n'omu mu linnya eryo.” 18Ne babayita; ne babakomereza obutayongera kuyigiriza mu linnya lya Yezu. 19Petero ne Yowanna ne baddamu nti: “Mmwe muba musalawo oba kisaanye mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda; 20anti tetusobola butayogera bye twalaba ne bye twawulira.” 21Bwe baamala okubatiisatiisa, ne babata, nga babuliddwa amagezi ag'okubabonereza olw'okubeera abantu; anti abantu bonna baali batenda Katonda olw'ekyali kikoleddwa. 22Kubanga omuntu akabonero ak'okuwonya gwe kaali kakoleddwako yali wa myaka ana n'okusoba.
Abakristu beegayirira ne beeyongera obuvumu
23Bwe baabata, ne bagenda mu bannaabwe ne babanyumiza byonna bakabona abakulu bye baali babagambye. 24#Okuv 20,11; Nek 9,6; Zab 146,6.Bannaabwe olwabiwulira, ne basitulira kumu eddoboozi lyabwe eri Katonda, ne bagamba nti: “Ayi Mukama, ggwe wuuyo eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja na byonna ebizirimu, 25#Zab 2,1-2.ggwe wuuyo eyayogerera mu Mwoyo Mutuukirivu mu kamwa ka Dawudi omuweereza wo nti:
“ ‘Lwaki ab'amawanga beejuumuula,
n'abantu bakola enkwe omutali nsa?
26Bakabaka b'ensi batala,
n'abafuzi b'ensi bakuŋŋaana,
okulwanyisa Omukama n'Omusiige we.’
27 # Mat 27,1-2; Mar 15,1; Luk 23,1.7-11; Yow 18,28-29. “Ggwe wamma, bombi Erode ne Ponsiyo Pilato beegatta wamu n'ab'amawanga n'Abayudaaya mu kibuga kino okulwanyisa Omuweereza wo Omutuukirivu Yezu, gwe wasiiga, 28ne batuukiriza ebyo omukono gwo n'enteesa yo bye byali bitegese okubaawo. 29Kaakano nno, ayi Mukama, tunuulira okutiisatiisa kwabwe, abaweereza bo obawe okwogera ekigambo kyo n'obuvumu bwonna, 30#Et 21,22-23.ng'ogolola omukono gwo okuwonya n'okukola obubonero n'ebyewuunyo mu linnya ly'Omuweereza wo Omutuukirivu Yezu Kristu.” 31Bwe baamala okwegayirira, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kikankana; bonna ne bajjula Mwoyo Mutuukirivu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
Abakristu abasooka nga bwe bassanga ekimu
32 # 2,44-45. Ekibiina ky'abo abakkiriza kyali kya mutima gumu n'emmeeme emu; mpaawo n'omu yatwalanga by'alina ng'ebibye ku bubwe, wabula buli kintu nga bakitwala ng'ekya bonna. 33Okuzuukira kwa Mukama waffe Yezu Kristu Abatume ne bakukakasa n'amaanyi mangi, era nga bonna eneema nkumu ezibaliko. 34Mu bo temwali awamma n'omu, kubanga bonna abaalina ebibanja oba amayumba baabitundanga, ne baleeta omuwendo oguvuddemu, 35ne bagussa ku bigere by'Abatume, ne bigabirwa buli omu nga bwe yeetaaganga. 36Ne Yozefu, Abatume gwe baakazaako erya Barunaba, erivvuunulwa nti Omwana w'Ekikubagizo, eyali Omuleevi, omuzaaliranwa w'omu Kupuro, 37n'atunda ennimiro gye yalina, omuwendo ogwavaamu n'aguleeta n'agussa ku bigere by'Abatume.
Obukumpanya bwa Ananiya ne Saffira

Currently Selected:

Ebik 4: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in