YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 5

5
1Omusajja omu erinnya lye Ananiya, wamu ne mukazi we Saffira, yatunda ekibanja, 2naye ne yeesigalizaako ku muwendo ogwatundibwamu, nga ne mukazi we akimanyiiko. N'addira ekitundu ekimu n'akissa ku bigere by'Abatume. 3Petero n'amugamba nti: “Ananiya, Sitaani lwaki ajjuzizza omutima gwo okulimba Mwoyo Mutuukirivu ne weesigalizaako ekitundu ku muwendo ogutundiddwa mu nnimiro? 4Bw'ebadde tennatundibwa, tebadde yiyo? Bw'emaze okutundibwa, tebadde mu buyinza bwo? Lwaki nno olowoozezza ekigambo ekyo mu mutima gwo? Tolimbye bantu, wabula Katonda.” 5#Rom 8,4-16; Gal 4,4-6.Ananiya olwawulira ebigambo ebyo, n'agwa wansi, n'akalirawo. Ensisi ey'amaanyi n'ekwata bonna abaakiwulira. 6Abavubuka ne bayimuka ne bamuggyawo, ne bamufulumya ne bamuziika.
7Waali waakayita ebbanga nga lya ssaawa ssatu, ne mukazi we n'ayingira, nga tamanyi bifuddeyo. 8Petero n'amugamba nti: “Mbuulira obanga ennimiro ogwo gwe muwendo gwe mwagitunze.” N'addamu nti: “Yee, gwe guugwo.” 9Petero n'amugamba nti: “Lwaki mwetabye wamu okukema Mwoyo w'Omukama? Wulira ebigere by'abo abaziise balo biri ku mulyango; naawe bajja kukufulumya.” 10Amangu ago omukazi n'agwa ku bigere bye, n'akalirawo. Abavubuka bwe baayingira, ne bamusanga ng'afudde, ne bamufulumya ne bamuziika kumpi ne bba. 11Ensisi ey'amaanyi n'ekwata Ekleziya yenna ne bonna abaawulira ebintu bino.
Ebyabangawo
12Abatume ne bakola obubonero n'ebyewuunyo bingi mu bantu. Bonna nga babeera wamu ku kisasi kya Solomoni. 13Naye mu balala nga temuli aguma kubeegattako, kyokka ng'abantu babagulumiza. 14Bangi abakkiriza, ebibiina by'abasajja n'abakazi, ne beegatta ku Mukama. 15Baaleetanga n'abalwadde baabwe ku makubo, ne babagalamiza ku bitanda ne ku nnyinyo, Petero ng'abadde ayita, waakiri ekisiikirize kye kibatuukeko. 16Era abantu bangi ne beesomba okuva mu bibuga ebyetoolodde Yeruzaalemu, nga baleeta abalwadde n'abakwatiddwa emyoyo emigwagwa, bonna ne bawonyezebwa.
Abatume basibwa mu kkomera naye ne bawonyezebwayo
17Naye kabona omukulu n'ayimuka na bonna abaali naye, kwe kugamba nti ekibiina ky'Abasaddukaayo, 18obuggya nga bubakutte, ne bakwata Abatume ne babasuula mu kkomera ery'olukale. 19Naye malayika w'Omukama n'ajja ekiro n'aggula enzigi z'ekkomera, n'abafulumya, n'abagamba nti: 20“Mugende muyimirire mu Kiggwa muyigirize abantu ebigambo byonna eby'Obulamu buno.” 21Nabo olwawulira ebyo, ne bagenda mu Kiggwa mu matulutulu, ne bayigiriza.
Abatume bawozesebwa olukiiko olukulu
Awo kabona omukulu n'ajja n'abo abaali naye, ne bayita olukiiko olukulu n'olukiiko lwonna olw'abakadde olwa Yisirayeli, ne batumya mu kkomera baleetebwe. 22Naye abaserikale bwe baatuukayo, ne batabasangamu mu kkomera, ne baddayo, ne bagamba nti: 23“Ekkomera tusanze lisibiddwa bulungi, n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi, naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.” 24Omukuumi w'Ekiggwa ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne basoberwa ku bantu bano ne ku kinaava mu bino. 25Awo omu we yajjira, n'ababuulira nti: “Abasajja be mwatadde mu kkomera baabali mu Kiggwa, bayimiridde bayigiriza abantu.” 26Omukuumi n'abaserikale ne bagenda, ne babaleeta, naye nga si na kukaka, anti baali batya abantu okubakuba amayinja.
27Bwe baabatuusa, ne babayimiriza mu lukiiko. Kabona omukulu n'ababuuza, 28#Mat 27,25.n'abagamba nti: “Twabakuutira obutageza kuyigiriza mu linnya eryo, sso laba kati Yeruzaalemu kyonna mukibunyizza enjigiriza yammwe, ate mwagala n'okussaako omusaayi gw'omuntu oyo.” 29Petero n'abatume ne babaddamu nti: “Tuteekwa okuwulira Katonda okusinga abantu. 30Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yezu gwe mwatta nga mumuwanika ku muti. 31Oyo Katonda yamugulumiza ku mukono gwe ogwa ddyo ng'Omufuzi era Omulokozi, alyoke awe Yisirayeli okubonerera n'okusonyiyibwa ebibi. 32Naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, ko ne Mwoyo Mutuukirivu Katonda gw'agabidde bonna abamuwulira.”
33Bwe baawulira ebigambo ebyo, obusungu ne batwagga, ne balowooza okubatta. 34Naye Omufarisaayo omukiise mu lukiiko, erinnya lye Gamalyeli, omuyigiriza w'amateeka, assibwamu abantu ekitiibwa, n'ayimirira mu lukiiko, n'alagira abasajja bafulumizibweko akabanga. 35N'abagamba nti: “Basajja Abayisirayeli, mulowooze ku kye mugenda okukolera abantu bano. 36Ebbanga si ddene emabega, waagenda ne wasitukawo Tewuda, eyeeyitanga omuntu ow'ekitalo, abasajja ng'ebikumi bina ne bamwegattako; naye yattibwa, na bonna abaali bamugoberera ne babuna emiwabo; temuli kyavaamu. 37Oyo bwe yavaawo, ne wasitukawo Yuda Omugalilaaya, mu budde obw'okwewandiisa, n'asika abamu okumugoberera; n'oyo n'azikirira, na bonna abaali bamugoberera ne basaasaana. 38Kale nno kyenva mbagamba nti abantu bano mubaveeko, mubaleke, kubanga entegeka eno n'omulimu guno obanga bya bantu, bijja kuzikirira. 39Naye obanga biva wa Katonda, temujja kusobola kubizikiriza; ate mpozzi mujja kwesanga nga mulwanyisa Katonda.” 40Awo nabo ne bamukkiriza.
Abatume ne babayita munda, ne babaswanyuula, ne babakuutira obutayogera n'akatono mu linnya lya Yezu, ne babata. 41Ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyufu olw'okusaanira okutoowazibwa okubeera erinnya. 42Ate buli lunaku mu Kiggwa n'awaka nga tebayosa kuyigiriza n'okulangirira Kristu Yezu.
Omusanvu balondebwa

Currently Selected:

Ebik 5: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in