Petero n'amugamba nti: “Ananiya, Sitaani lwaki ajjuzizza omutima gwo okulimba Mwoyo Mutuukirivu ne weesigalizaako ekitundu ku muwendo ogutundiddwa mu nnimiro? Bw'ebadde tennatundibwa, tebadde yiyo? Bw'emaze okutundibwa, tebadde mu buyinza bwo? Lwaki nno olowoozezza ekigambo ekyo mu mutima gwo? Tolimbye bantu, wabula Katonda.” Ananiya olwawulira ebigambo ebyo, n'agwa wansi, n'akalirawo. Ensisi ey'amaanyi n'ekwata bonna abaakiwulira.